Essomero lya Kibuli Sekendule
Essomero lya Kibuli sekendule
Essomero lya Kibuli Sekendule (KSS) Ssomero lya kisulo nga ly'abawala n'abalenzi litandikira (S1-S4) nesiniya (S5-S6) somero mu Uganda.
Werisangibwa
kyusaKSS linsangibwa ku kasozi ka Kibuli mu divizoni ya Makindye, mu bukiika ddyo bw'amasekkati g'ekibuga Kampala, Ekibuga kya Uganda ekikulu era ekisingayo obunene. Esomero lya Kibuli Secondary lisangibwa mu bupime buno ku mapu:0°18'38.0"N, 32°35'51.0"E (obugazi:0.310556; Obuwanvu:32.597500).[1]
Ebirikwatako
kyusaEssomero likwatagana n'enzikiriza ey'ekiyisiraamu, naye ebifo bigabibwa kusinziira ku bubonero era lyaniriza buli muyizi alyagala awatali kufa ku nzikiriza. Essomero liyina erinnya eryokukulembera mu by'amagezi n'ebyafaayo mu kuwangula eby'emizannyo.[2]
Ebyafaayo
kyusaOmulangira Badru Kakungulu, omukungu wa Buganda, eyawangaalira mu kyasa kya 20, yagaba yiika z'ettaka 80 (32 ha) ku kasozi Kibuli, essomero we lyazimbibwa. Essomero lyatandikawo mu 959.[3]
Abayiseeyo ab'amaanyi
kyusaBano wammanga be bamu ku bantu abatutumufu abayise mu ssomero lino.
- Nancy Kacungira - Munnamawulire, Musasi era musomi ku BBC on Focus on Africa and World Business Report
- Hakim Sendagire - Musawo era y'akuulira eby'enjigiriza nga kati ye ddiini wa Habib Medical School
- John Ssebaana Kizito - Eyaliko meeya w'ekibuga Kampala.
- Moses Matovu, muyimbi
- Henry Tumukunde - Eyaliko omukulu w'ekitongole ky'ebyokwerinda mu ggwanga (ISO)
- Muhammad Nsereko - Mubaka w'akakiiko akateeseza eggwanga akiikirira amasekkati ga Kampala.
- Moses Muhangi - Ssenkulu w'ekibiina ekifuga omuzannyo gw'ebikonde mu Uganda.
- Sarah Kanyike - Minisita w'abakadde n'abaliko obulemu okuva mu gw'omusanvu 2020.[4]