Henry Tumukunde Kakurugu munnabyabufuzi era nga yali munamaje mu Uganda People's Defence Forces (UPDF) eyawumula. [1] Yeesimbawo okuvuganya ku bwa pulezidenti bwa Uganda mu kulonda kwa bonna okwa 2021 .

Tumukunde era yaliko minisita avunaanyizibwa ku nsonga z'obutebenkevu mu Kabineti ya Uganda era yalondebwa ku kifo kino nga 6 Ogwomukaaga 2016. [2] Wabula mu ngeri eyewuunyisa abanji Tumukunde yagobwa kubwa minisita nga 4 Ogwokusatu 2018 mu nkyukakyuka ezakolebwa omukulembeze wa Uganda mu bukulembeze bwe.Enkyukakyuka z'ezimu zaalimu n'okugoba eyali ssaabadduumizi wa poliisi ya Uganda Gen. Kale Kayihura.[3][4] [5]

Tumukunde puliida omutendeke alina obusobozi okuwoza emisango mu kkooti enkulu mu Uganda . Mu maje ga Uganda aga Uganda Peoples Defence Forces, Tumukunde yaliko avunaanyizibwa ku kutekateeka, ensonga zabakozi, kwossa n'enzirukanya y'emirimu mu maje, yakulirako ekitongole kyamaje ekikesi ekiyitibwa CMI, Ono era yaliko omudduumizi w'ekibinja kyamaje ekyokuna mu maje nga kino kisangibwa mu kibuga Gulu mu mambuka ga Uganda. Tumukunde yakulirako ekitongole ekikettera munda mu ggwanga ekya ISO. Tumukunde era yali mubaka wa Palamenti akiikirira amaje mu Palamenti ya Uganda wakati wa 1995 ne 2005. [6]

Ensibuko n’obuyigirize

kyusa

Yazaalibwa nga 28 Ogwokubiri 1959 mu Disitulikiti y’e Rukungiri mu bugwanjuba bwa Uganda. Yasomera mu ssomero lya Bishop Stuart College Demonstration School e Mbarara okusoma pulayimale gyeyava okugenda ku Kigezi College Butobere (Siniya) ne Kibuli Secondary School okusoma emisomo gya siniya. Tumukunde yatikkirwa diguli mubyamateeka eya Bachelor of Laws mu 1981 mu yunivasite e Makerere . Oluvannyuma mu mwaka 2010 yatikkirwa dipulooma mu by’amateeka gyeyasomera ku ttendekero lya Law Development Center . Ono era alina diguli mu byamafuta ne gaasi eyitibwa Executive Masters in Oil and Gas management, gyeyafuna okuva mu Graduate Institute of International and Development Studies mu kibuga Geneva e Switzerland mu mwaka 2013. [7] [8]

Okwegatta ku bayeekera ba NRA

kyusa

Mu biseera bye yamala nga muyizi ku yunivasite e Makerere, Tumukunde yeenyigira nnyo mu byobufuzi nga awakanya gavumenti, oluvannyuma ekyamuviirako okwegatta ku bayeekera mu kiseera ekyo, abayina eje nga liyitibwa National Resistance Army, nga likulemberwa Pulezidenti wa Uganda mu budde buno Yoweri Museveni. Tumukunde olwebirowoozo bye mu byobufuzi yayigganyizibwa nnyo ab’ebyokwerinda mu gavumenti naddala mu mwaka gwe ogwasemba ku yunivasite era bwe yamala okusoma, yasalawo okwegatta ku lutalo lw'omunsiko, wamu ne mikwano gye babiri mu nga bano ye Mugisha Muntu ne Colonel Jet Mwebaze. [9]

Ab’ebyokwerinda mu gavumenti ya Obote mu kiseera ekyo baagezako okubakwata bwebalumba edduuka eryakolanga nga ensisikano yabayeekera mu kibuga Kampala wabula tebasobola kubakwata. Kigambibwa nti Tumukunde ne Muntu mu lulumba luno gavumenti lweyakola beefuula abasuubuzi ku kizimbe kino, era bwebatyo nebawona okukwatibwa okwandibaviiriddemu okutulugunyizibwa, si nakindi okufa. Mu ntandikwa y’olutalo, Tumukunde yali mukubi wa mmundu luwandula masasi era kyokka gyebyagwera nga afuuse omu ku baserikale abakulu mu ggye ly’abayeekera.Mu NRA Tumukunde ennamba ye yali RA 0111.

Mu mwaka 1984, mu lulwana wakati wamaje ga Uganda mu kiseera ekyo wamu n'abayeekerea ba NRA mu Disitulikiti y’e Luweero, Tumukunde yakubwa amasasi mu magulu. Ebisago bye yafuna byali bya maanyi nnyo nebyeraliikiriza banne nti yali ayinza obutawona. Wabula ono yamala nakukusibwa okuva mu ggwanga n’atwalibwa e Nairobi mu Kenya gyeyava okutwalibwa e London mu Bungereza nalongosebwa. [10]

Okwegwanyiza obwa Pulezidenti

kyusa

Nga 3 Ogwokusatu 2020, Tumukunde yalangirira nga bw’agenda okuvuganya eyali mukama we Yoweri Kaguta Museveni ku kifo ky’obwapulezidenti mu kulonda kwa bonna mu mwaka 2021. Mu lukung’aana lwa bannamawulire Tumukunde lweyakuba yategeeza nti yali asazeewo okwesimbawo oluvannyuma lwokulaba nti ekibiina kya NRM ne Yoweri Kaguta Museveni nga pulezidenti tebaali beetegefu kuteesa ku ky’okukyusa obuyinza mu mirembe . [11] Nga 7 Ogwomukaaga 2020, oluvannyuma lw'okulonda kwa pulezidenti okwali mu ggwanga lya Malawi ab'oludda oluvuganya gyebawangula akululu k'obwa pulezidenti, Tumukunde yasaba ebibiina ku ludda oluvuganya gavumenti mu Uganda okwegatta bisimbewo omuntu omu avuganye ku bwapulezidenti mu 2021 nga bannaabwe e Malawi bwebasimbawo Lazarus Chakwera . [12] Tumukunde yatuukiriza kyeyasuubiza era mu kulonda kwa bonna okwa 2021 mu Uganda ku bwa Pulezidenti.

Obuweereza bwe oluvannyuma lwolutalo

kyusa

Oluvannyuma lwabayeekera ba NRA okuwamba obuyinza mu mwaka 1986, Tumukunde yakuzibwa n’atuuka ku ddaala lya Major era nasindikibwa ku kitebe kya Uganda mu Bungereza nga avunaanyizibwa ku nsonga zeby'ekijaasi. Oluvannyuma Tumukunde yasindikibwa oweyongerayo okusoma ensonga z'ekijaasi ku ttendekero eriyitibwa Armed Forces Command and Staff College, Jaji, e Kaduna mu ggwanga lyaNigeria,era nayitira waggulu ddala. Bwe yakomawo e Uganda yalondebwa okukulira ekitongole ekitekateekera amaje. Tumukunde yaweereza mu kifo kino okumala emyaka mingi era nayamba nnyo okuzimba ebitongole mu maje ga UPDF n'okulifuula ejje eryekikugu okulijja ku ndabika eyekiyeekera.

Mu 1994, Uganda yagenda mu kulonda okwavamu olukiiko olwabaga Ssemateeka wa Uganda owa 1995. Mu kulonda okwo, Tumukunde yeesimbawo okukiikirira Rubabo mu disitulikiti y’e Rukungiri. Mu kulonda okwo Tumukunde yavuganya ne minisita era omuntu omugundiivu mu gavumenti Mondo Kagonyera . Tumukunde mu biseera ebyo eyali atemera mu myaka asatu yalabibwa nga omunafu era nga banji baalowooza nti yali amala biseera okwesimba ku muntu omugundiivu nga Kagonyera. Yadde nga gwali bwegutyo, Tumukunde yakola kakuyege owamaanyi era akalulu nakawangulira waggulu ddala bwatyo ne yeegatta ku CA. Tumukunde yamanyibwa mu lukiiko olwobaga ssemateeka olwokwewangayo okukubaganya ebirowoozo ku buli nsonga n'okwetaba mu ntuula obutayosa.

Oluvanyuma lw’okuyisa ssemateeka, Uganda yagenda mu kulonda era Tumukunde nakomawo mu palamenti nga omubaka omu ku abo abakiikirira amaje. Mu palamenti yaliyo okutuusa omwaka 2005. Mu biseera byebimu Tumukunde yali aweereza butereevu mu maje era n’akuzibwa okutuuka ku ddaala lya Lieutenant colonel era n’alondebwa okukulira abakozi n’enzirukanya y’emirimu. Ono era ajjukirwa olw’okutandika enkola y’okutuula ebigezo (PROMEX) eri abaserikale mu maje nga tebannakuzibwa era nga nabuli kati enkola eno ekyagobererwa. Mu mwaka 1998, Tumukunde yakuzibwa okutuuka ku ddala lya Colonel era nalondebwa okukulira ekitongole kyamaje ekikesi. Ekiseera kye nga ssabakesi kyogerwako nga ekiseera ekyalimu okutuuka ku buwanguzi obwamanyi. Mu buwanguzi buno mwalimu okulemesa obulumbaganyi bwabanalukalala ba Al-Qaeda okutegulula bbomu ku kitebe kya Amerika mu kibuga Kampala. Tumukunde era yateekawo obukiiko bwekikkesi mu Kampala obwagonjoola ekizibu kyokutegulula bbomu mu kibuga Kampala n'ebikolwa by'obutujju okutwalira ewamu. Tumukunde mu ngeri y'emu yazimba enkolagana n'obukulembeze bw'obusiramu banji bwebali batebeereza okukola obulumbaganyi ekyamwanguyiza okufuna amawulire ag'ekikessi mu bwangu.Okutwaliza awamu mu kiseera kye nga ssabakessi, ebitongole ebikessi mu Uganda byakolera ddala bulunji.[13]

Tumukunde yakuzibwa okutuuka kuddaala lya brigadier general n'akyusibwa n'aduumira ekibinja kya UPDF eky'okuna nga kisangibwa e Gulu . Mu kiseera ekyo, olutalo n'abayeekera ba Lord's Resistance Army (LRA) abakulirwa Joseph Kony lwali lugenda mu maaso era Tumukunde ng’aduumira ekibinja kyamaje ekyokuna yayongera nnyo okunafuya Lords Resistance Army . Tumukunde era yakola kinene mu kutandikawo enteeseganya z’emirembe n’abayeekera era ye nekibinja kyamaje kyeyali aduumira nebetaaba butereevu kulwanyisa ekirwadde kya Ebola ekyali kitawaanya amambuka ga Uganda mu kiseera ekyo.

Mu 2000, Tumukunde yalondebwa okukulira ekitongole ekikettera munda mu Uganda ekya Internal Security Organization. [14]Mu kiseera kye yamala mu ISO, Tumukunde yayongera okutereeza enkola y'emirimu mu kitongoel kino awamu n'okukiwa embavu n'obusobozi okukola obukessi nga bwe yali akoze mu CMI. ISO mu budde yamanyika olw'enkola yaayo ennungi era ennungi mu by'obukessi awamu n'okulwanyisa obutujju .

Obukuubagano n'okutabuka

kyusa

Engeri Tumukunde gyeyalinnyamu amadaala mu byekijaasi kwossa n'ebyobufuzi mu Uganda yamufuula wa ttutumu nnyo mu ggwanga lyonna. Ono bwatyo olw'endowooza ye eya ba mwoyo gwa ggwanga yeesanga mu bukuubagano n'ebitongole ye kkenyini byeyali afubye okuzimba.

Mu lumu ku ntuula zabakulembeze olwatuula mu 2003, Tumukunde yawakanya ekiteeso eky’okuggyawo ekkomo ku bisanja by'omukulembeze weggwanga era nga kino yakikolera mu maaso ga mukama we era omuduumizi wamaje ow'okuntikko Yoweri Museveni nga ali ne ba minisita be Pulezidenti ne kabineti ye. Tumukunde yategeezezza nti kino ekiteeso kino kikontana butereevu n'ennono kwossa eddembe lye baali balwanye okussaawo era nategeeza nti ye teyali mwetegefu kwetaba mu nkikolwa kya kumenya ssemateeka. Ekikolwa kino nga bwekyali kisuubirwa kyamuteeka mu bukuubagano n'abantu banji nga n'omukulembeze w'eggwanga mwomutwalidde.

Okukwatibwa n’okusibwa

kyusa

Tumukunde yakwatibwa era navunanibwa emisango gy’okukozesa obubi ofiisi n’okusaasaanya amawulire amakyamu. Omisango gw'okukozesa obubi ofiisi oluvannyuma gwamujjibwako era nga kino kyayongera okukasa endowooza eyaliwo nti emisango gino gyali gya byabufuzi. Oluvannyuma ebyaddirira byewuunyisa kuba mwalimu okuwaliriza Tumukunde okulekulira ekifo kye mu palamenti ekintu kyeyakola nga 28 Ogwokutaano 2005 oluvannyuma n’akwatibwa ku biragiro bya pulezidenti.[15][16] [17]

Nga akwatibwa amaka ge getoloolwa abajaasi abatakka wansi wa 50 era nga bano baadduumirwa ba Genero babiri okwali Kale Kayihura ne Joshua Masaba era nga bano bebamukwata (mu nkola y'ekinamaje omujaasi akwatibwa oyo bwebenkana eddaala, oba oyo amusingako). Tumukunde oluvannyuma lw'okukwatibwa yatwalibwa mu kifo awasanyukirwa abakulu ku madaala agawaggulu ekiyitibwa officers mess ekisangibwa e Kololo era lino ne lifuula 'ekkomera' lye okumala ebbanga eryakunukiriza mu myaka ebiri nga akuumibwa butiribiri kwossa okumukugira okwogera nabantu abalala.[18] Okusibwa kwe awatali kuwozesebwa mu kooti nga kw’ogasse n’okuwulira emisango mu kkooti y’amagye kwayongera okutabula embeera era bwatyo oluvannyuma yayimbulwa mu mwaka 2007. Okukwatibwa kwe kwali kwekuusa ku ndowooza ye eyali ewakanya okukola ennongosereza mu Ssemateeka wa Uganda okusobozesa pulezidenti okufuga ebisanja ebitaliiko kkomo okuva kwebyo ebibiri ssemateeka byeyali alambika mu budde obwo. [19]

Nga 18 Ogwokuna 2013, kkooti yamaje ga UPDF yatuula era olutuula luno nerukomekkereza okuwulira emisango egyali gitutte emyaka 8. Omusango gw’okusaasaanya amawulire amakyamu era ag'obulabe gwagobwa ate omusango ogw’okweyisa obubi n'okusiiwuuka empisa ne gumusinga era nasalirwa ekibonerezo kya kooti yamaje kuvumirira bikolwa bye bino. [20]

Okukwatibwa kwe

kyusa

Nga 12 Ogwokusatu 2020, nga zinatera okuwera wiiki bbiri ng'alangiridde nti yali wa kuvuganya ku bwa Pulezidenti, Gen. Tumukunde yakwatibwa ku misango egyekuusa ku kulya mu nsi olukwe .

Nga 19 Ogwekkuminogumu 2020, Tumukunde yayimiriza kampeyini ze ez’obwapulezidenti oluvannyuma lw'okukwatibwa Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa ennyo nga Bobi Wine omu ku baali mu lwokaano lw'obwa Pulezidenti. [21] Nga wayise ennaku bbiri, Tumukunde ne Kyagulanyi, wamu nabavuganya ku bwapulezidenti Mugisha Muntu, Norbert Mao, ne Patrick Amuriat Oboi, bakuba olukungaana lwa bannamawulire olwawamu era nebabaako byebakkaanya kungeri y'okugonjoola okusoomozebwa ne Poliisi. [22]

Okuwummula amaje

kyusa

Nga 1 Ogwomwenda 2015, olupapula lwamawulire olwa Daily Monitor lwafulumya eggulire nga liraga nti Tumukunde yali akuziddwa okutuuka ku ddaala lya Lieutenant General era nawummuzibwa mu maje geyali awereezaamu okumala emyaka amakumi asatu mu ena. Okutuuka ku ddaala kweyawummulira amaje, Tumukunde yabuusibwa eddaala lya major general . [23]

Okulondebwa kubwa minisita

kyusa

Nga 6 Ogwomukaaga 2016, yalondebwa mu kabineti nga Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z'obutebenkevu mu ggwanga . [24] Tumukunde uagobwa kubwa minisita ku Ssande nga 4 Ogwokusatu 2018, mu bubaka pulezidenti wa Uganda bweyayisa ku mukutu gwe ogwa Twitter (mu budde buno eyitibwa X), Tumukunde yagobwa ne Genero munne Kale Kayihura, eyali adduumira poliisi ya Uganda.

Laba ne

kyusa

Ebiwandiiko ebijuliziddwa

kyusa
  1. http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1317614/brig-tumukunde-stay-army
  2. https://www.scribd.com/doc/314964607/New-Cabinet
  3. https://observer.ug/news/headlines/57086-museveni-fires-police-boss-kayihura-security-minister-tumukunde.html
  4. https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/museveni-fires-kayihura-tumukunde-1743212
  5. https://www.nation.co.ke/news/africa/Uganda-president-fires-police-chief--security-minister-/1066-4328592-5wkl9kz/index.html
  6. http://www.monitor.co.ug/News/National/Tumukunde-cries-out-on-UPDF-ranks/-/688334/1920204/-/11w9s91z/-/index.html
  7. http://www.parliament.go.ug/mp_database/profile.php?mid=448
  8. https://web.archive.org/web/20160303212656/http://www.monitor.co.ug/News/National/-/688334/973410/-/x38ryd/-/index.html
  9. http://chimpreports.com/8515-analysis-the-rise-and-fall-of-brig-tumukunde/
  10. http://allafrica.com/stories/201411190793.html
  11. https://www.softpower.ug/former-security-minister-henry-tumukunde-announces-presidential-bid/
  12. https://observer.ug/news/headlines/65163-tumukunde-calls-for-united-opposition-to-defeat-museveni
  13. http://chimpreports.com/8515-analysis-the-rise-and-fall-of-brig-tumukunde/
  14. https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1026483/pulkol-tumukunde-appointed
  15. https://allafrica.com/stories/200506080362.html
  16. https://www.newvision.co.ug/news/1124006/tumukunde-forced-resign-mp
  17. http://allafrica.com/stories/200404090088.html
  18. https://www.monitor.co.ug/uganda/lifestyle/reviews-profiles/judgment-day-for-brig-tumukunde-1540646
  19. "Archive copy". Archived from the original on 2016-03-04. Retrieved 2024-09-30.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  20. http://www.observer.ug/index.php?option=com_content&view=article&id=24851:feature-what-next-for-brig-tumukunde
  21. https://eagle.co.ug/2020/11/19/gen-tumukunde-muntu-suspend-campaigns-over-the-arrest-of-bobi-wine-and-amuriat.html
  22. https://www.independent.co.ug/presidential-candidates-join-forces-to-deal-with-police-brutality/
  23. http://www.monitor.co.ug/News/National/Brig-Tumukunde-promoted--then-retired/-/688334/2854028/-/ssmso7/-/index.html
  24. https://web.archive.org/web/20161007121926/http://www.monitor.co.ug/blob/view/-/3235304/data/1345443/-/3o16hn/-/Museveni%27s+cabinet.pdf