Mu kabineti ya Uganda (2021 okutuuka 2026) mulimu baminisita abajjuvu oba bayite kabineti minisita 30 ne baminisita ababeezi oba abamyuka 50 (bano baali 51 kyokka omuwendo gwakka oluvanyuma lwokufa kwa Sarah Mateke eyali minisita omubeezi ow'ebyokwerinda mu gw'omwenda 2024).[1][2] [3]

Ssemateeka wa Uganda eyakolebwa mu mwaka 1995 azze akolebwamu ennongosereza mu nnyingo aya 111 etondawo olukiiko lwa ba minisita. Enyingo eno egamba nti wajja kubaawo Kabineti(olukiiko lwa baminisita olufuzi) era nga eno etuulwamu Pulezidenti wa Uganda , omumyuka wa Pulezidenti, Ssabaminisita kwossa omuwendo gwa baminisita pulezidenti mu kusalawo kwe gwalaba nga gugwanidde okumusobozesa okutambuza gavumenti[4] Baminisita baalondebwa pulezidenti yadde nga palamenti esobola okubayisako ekiteeso ekibagoba mu ngeri eya kinnoomu[5]

Coat of Arms Kano kekamu ku bubonero bw'ensi Uganda


Baminisita ba kabineti

kyusa

Oluvannyuma lwokulonda kwa bonna okwaliwo mu mwaka 2021 Pulezidenti wa Uganda Yoweri Museveni yakozesa obuyinza obumuweebwa ssemateeka wa Uganda okulonda ba minisita abajjuvu n'abamyuka baabwe era nebasindikibwa eri Palamenti okubakakasa mu mwezi gwomukaaga 2021. [6][7]Olukalala luno pulezidenti yalukolamu ennongoosereza nga 21 Ogwomusanvu 2022 bweyalonda Nobert Mao nga Minisita w'ebyamateeka n'essiga eddamuzi.[8][9] Nga 21 Ogwokusatu 2024 Pulezidenti nate yakola enkyukakyuuka mu Kabineti ye mweyasuliira abamu ku baali ba minisita beyalonda mu 2021 naleeta abapya awamu n'okyuusa abamu okuva mu minisitule emu okudda mu ndala.[10][11] [12] Oluvannyuma lwenkyukakyuuka ezo luno lwelukalala lwa ba minisita mu Uganda

Ministry Incumbent
Ssaabaminisita era akulira oludda lwa gavumenti mu palamenti Robinah Nabbanja
Omumyuka wa Ssaabaminisita asooka era minisita avunaanyizibwa ku nsonga z'omukago gwamawanga g'obuvanjuba bwa Afirika Rebecca Kadaga
Omumyuka wa Ssabaminisita owokubiri era amyuka akulira oludda lwa gavumenti mu palamenti Moses Ali
Omumyuka wa Ssaabaminisita owokusatu era minisita atayina kifo kyankalakkalira Lukia Isanga Nakadama
Minisita w'ebyenjigiriza n'emizannyo Janet Museveni
Minisita avuunanyizibwa ku bakozi ba gavumenti Wilson Muruli Mukasa
Minisita w'ebyobusuubuzi, amakolero n'ebibiina by'obweggasi Francis Mwebesa
Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z'omunda mu ggwanga Kahinda Otafiire
Minisita avunaanyizibwa ku byobulimi, amagana wamu n'ebyobuvubi Frank Tumwebaze
Minisita avunaanyizibwa kubyensimbi n'okutekateekera ebyenfuna byegwanga Matia Kasaija
Minisita avunaanyizibwa ku nsonga zamawanga amalala Jeje Odongo
Minisita w'ebyobulamu Jane Aceng
Minisita w'ebyentambula n'emirimu Katumba Wamala
Minisita w'ebyettaka, amayumba, n'enkulakulana y'ebibuga Judith Nabakooba
Minisita w'ebyamazzi n'obutonde bw'ensi Sam Cheptoris
Minisita w'ebyamateeka n'essiga eddamuzi Norbert Mao[13]
Ssaabawolereza wa gavumenti Kiryowa Kiwanuka
Minisita w'ebyokwerinda n'ensonga z'abazirwanako Oboth Markson Jacob
Minisita wa gavumenti ez'ebitundu Raphael Magyezi
Minisita avunaanyizibwa ku nsonga za Karamoja Peter Lokeris
Minisita wamasanyalaze n'obugagga obwensibo Ruth Nankabirwa
Minisita w'amawulire n'okulungamya eggwanga Chris Baryomunsi
Minisita wa ssaayansi, tekinologiya n'obuyiiya Monica Musenero
Minisita avunaanyizibwa ku guno na guli mu ofiisi ya ssabaminisita Justine Lumumba Kasule
Minisita avunanyizibwa ku bibamba n'ebigwa tebiraze kwossa ensonga z'abanoonyi b'obubudamu Hillary Onek
Minisita avuunaanyizibwa kubyobulambuzi Tom Butime
Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z'obwa pulezidenti Milly Babirye Babalanda
Minisita avunaanyizibwa ku butebenkevu Jim Muhwezi
Nampala wa gavumenti Denis Hamson Obua
Minisita w'ekikula kyabantu Betty Amongi
Minisita avunaanyizibwa ku nsonga za Kampala Minsa Kabanda

Baminisita ababeezi

kyusa

Luno lwelukalala lwa ba minisita ababeezi oba abamyuuka ba ba minisita Uganda :

Ministry Minister of State
Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku kulondoola ebyenfuna Beatrice Akello Akori
Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku mpisa n'obuntubulamu Rose Akello
Minisita omubeezi mu ofiisi y'omumyuka wa Pulezidenti Diana Nankunda Mutasingwa
Minisita omubeezi avunaanyizibwa kubigwa bitalaze nabanoonyi b'obubudamu Lillian Aber
Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku mambuka ga Uganda Omona Keneth
Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku nsonga za Karamoja Wamala Nambozo Florence
Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku kanyigo ka Luweero n'ebitundu bya Rwenzori Alice Kaboyo
Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku nsonga za Teso Clement Kenneth Ongalo Obote
Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku nsonga za Bunyoro Kacha Jenipher Namuyangu
Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku nsonga z'omukago gwamawanga agobuvanjuba bwa Afirika Maggie Magode Ikuya
Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byobulimi Fred Bwiino Kyakulaga
Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byobuvubi Hellen Adoa
[1]Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku magana Bright Rwamirama
Minisita omubeezi avunaanyizibwa kubyokwerinda __
Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku nsonga z'abazirwanako Huda Oleru
Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenjigiriza mu matendekero agawaggulu John Chrysostom Muyingo
Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenjigiriza ebisookerwako Joyce Moriku
Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byemizannyo Peter Ogwang[13]
Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byamasanyalaze Sidronius Opolot Okasai
Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byobugagga obw'omuttaka Nyamutooro Phiona
Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku guno na guli mu minisitule y'ebyensimbi Henry Musaasizi
Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku kutekateekera eggwanga mu minisitule y'ebyensimbi Amos Lugoloobi
Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku ba musiga nsimbi Evelyn Anite
Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku bibiina ebiwozi by'ensimbi Haruna Kasolo Kyeyune
Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byentambula Fred Byamukama
Minisita omubeezi avunaanyizibwa kubyemirimu Musa Echweru
Minisita omubeezi avunaanyizibwa kubyamazzi Aisha Sekkindi
Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku butonde bwensi Beatrice Atim Anywar
Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byamayumba Persis Namuganza
Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku nkulakulana y'ebibuga Kania Obiga
Minisita omubeezi ow'ebyettaka Sam Mayanja
Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku guno na guli mu minisitule y'ebyobulamu Kawoya Bangirana
Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byobulamu ebisookerwako Margaret Muhaanga
Omumyuka wa Ssabawoloereza Jackson Kafuuzi
Minisita Omubeezi ow'ebyamakolero David Bahati
Minisita omubeezi ow'ebibiina by'obweggassi Frederick Ngobi Gume
Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku nsonga za Kampala Kabuye Kyofatogabye
Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku nkolagana ya Uganda namawanga amalala Henry Oryem Okello
Minisita Omubeezi avunaanyizibwa ku nsonga zamawanga agatwetoloodde John Mulimba
Minisita omubeezi owa gavumenti ez'ebitundu Victoria Rusoke
Minisita omubeezi avunaanyizibwa kubyobulambuzi Martin Mugarra
Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku tekinologiya w'ebyempuliziganya Joyce Ssebugwawo
Minisita omubeezi ow'ekikula kyabantu n'obuwangwa Peace Mutuuzo
Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku nsonga z'abaana n'abavubuka Balam Barugahara Ateenyi
Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku nsonga zabakozi Anyakun Esther Davinia
Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku nsonga z'abakadde Gidudu Mafaabi
Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku nsonga z'abantu abaliko obulemu Hellen Asamo
Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku nsonga z'omunda mu ggwanga David Muhoozi
Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku nsonga z'abakozi ba gavumenti Grace Mary Mugasa
Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku nsonga z'obusuubuzi Wilson Mbasu Mbadi
Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku kulungamya eggwanga Kabyanga Godfrey Baluku

Laba ne

kyusa
  1. https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/state-minister-for-defence-sarah-mateke-dies-at-50-4752808
  2. https://www.parliament.go.ug/news/7390/parliament-prays-fallen-minister-sarah-mateke-nyirabashitsi
  3. https://www.monitor.co.ug/resource/blob/4564742/4260a9aa0f131d2bc15c4ceb6ad801ee/list-data.pdf
  4. https://web.archive.org/web/20181004112328/http://www.wipo.int/wipolex/en/text.jsp?file_id=170004
  5. http://www.cabinetgovernment.net/docs/addis-ababa/4b-uganda-the-cabinet-handbook.pdf
  6. https://mediacentre.go.ug/media/cabinet-list-2021
  7. https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/full-cabinet-list-jessica-alupo-new-vice-president-3430616
  8. https://www.newvision.co.ug/category/news/parliament-vets-newly-appointed-justice-minis-139151
  9. https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/museveni-appoints-mao-justice-minister-3887380
  10. https://www.parliament.go.ug/page/cabinet-members-and-ministers-state-27-march-2024
  11. https://www.newvision.co.ug/category/politics/cabinet-reshuffle-kitutu-ssempijja-dropped-as-NV_184091
  12. https://ubc.go.ug/2024/03/21/president-museveni-reshuffles-ministers/
  13. 13.0 13.1 https://www.monitor.co.ug/uganda/newhttps://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/museveni-appoints-mao-justice-minister-3887380s/national/museveni-appoints-mao-justice-minister-3887380