Kampala Capital City Authority

Kampala Capital City Authority ( KCCA ) kitongole kya Gavumenti ya Uganda ekyatondebwawo eteeka eryayisibwa mu Palamenti ya Uganda eriyitibwa KCCA ACT eryayisibwa mu mwaka 2010 ate nelikolebwamu ennongoosereza mu mwaka 2019. Mu teeka eryo, ekitongole kino kyekivunaanyizibwa ku nzirukanya ey'emirimu gy'ekibuga ekikulu ekya Kampala mu Uganda . Kino kyasikira ekitongole ki Kampala City Council (KCC). [1]

Endagiriro

kyusa

Ekitebe kya KCCA kisangibwa ku lusozi Nakasero mu masekati g'ekibuga Kampala era kiriraaniganye nekizimbe kya Palamenti ya Uganda . Omulyango omukulu oguyingira mu kizimbe kya KCCA gusangibwa ku luguudo Kimathi Avenue, oluva ku luguudo oluyitibwa Parliament Avenue. Ensengeka z'ekizimbe kino ku maapu ziri 0° 18' 54.00"N, 32° 35' 9.00"E (Obusimba:0.315000; Obukiika:32.585832). [2]

Ebikwata ku Kitongole kino

kyusa

Mu teeka omuddukanyizibwa ekitongole ki KCCA, obuvunaanyizibwa ku kuddukanya n'okufuga ekibuga Kampala bwazibwa mu mikono gya gavumenti eyawakati. Mu nkyukakyuuka ezajjira mu tteeka, bunji ku buvunaanyizibwa n'obuyinza mu zi yafeesi ez'enjawulo bwakyuusibwa oba okusikizibwa ebifo ebirala. Okugeza City Clerk eyaliwo mu biseera bya KCC nga yavunaanyizibwa ku byensimbi mu Kibuga Kampala yasikizibwa ssenkulu w'ekibuga mu lufuutifuuti ayitibwa Executive Directoralondebwa Pulezidenti butereevu era nga emirimu gye giroondolebwa Minisita avunaanyizibwa ku nsonga za Kampala mu kiseera kino ye Hajat Minsa Kabanda . [3] Meeya wa Kampala nga yye alondobwa eyalondebwa bannakibuga ekitiibwa kye kyakyuusibwa okuva ku Mayor nafuuka Lord Mayor era nga yakulira ekiwayi ky'ebyobufuzi mu Kampala 'political head' yadde nga obuvunaanyizibwa mu ofiisi eno obusinga bwamikolo.[4] Mu ntekateeka eno empya abakiise ku lukiiko lw'ekibuga Kampala oba bakansala omuwendo gwabwe gwalinyisibwa era n'ebibiina ebikola emirimu egyabakugu kati bikiikirirwa ku lukiiko luno olutuula ku City Hall mu Kampala. Ebimu ku bibiina ebikiikirirwa kuliko ekya Uganda Institute of Professional Engineers(kino kya ba Yinginiya abakakasibwa) Uganda Society of Architects (Bano bakubi ba pulaani za bizimbe), Uganda Medical Association (Kino kibiina ekitaba abasawo abakugu), ne Uganda Law Society (ekibiina ekitaba bannamateeka).

Abakulembeze mu kibuga Kampala

kyusa

Oluvannyuma lw'okulonda kwa bonna mu mwaka 2021, abakulu abavunaanyizibwa ku nsonga za KCCA be bano;

  1. Hajjat Minsa Kabanda, Minisita avunaanyizibwa ku nsonga za Kampala okuva nga 3 Ogwomunaana 2021
  2. Hon. Kyofatogabye Kabuye, Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku nsonga za Kampala okuva nga 3 Ogwomunaana 2021
  3. Erias Lukwago ye Lord Mayor wa Kampala okuva lweyalondebwa mu 2011
  4. Doreen Nyanjura, omumyuka wa Lord Mayor, okuva mu Gwomukaaga 2021.
  5. Zahrah Maala Luyirika, Sipiika w’olukiiko lwa ba kkansala abalonde mu KCCA, Okuva mu Gwomukaaga 2021
  6. Nasur Masaba, Omumyuka wa Sipiika w’olukiiko, Okuva mu Gwomukaaga 2021
  7. Dorothy Kisaka Ssenkulu (Executive Director) wa Kampala Capital City Authority okuva mu Gwomukaaga 2020
  8. David Luyimbazi Ssali, omumyuka Ssenkulu wa Kampala Capital City Authority, okuva mu Gwomukaaga 2020.

Amagombolola mu Kampala

kyusa

Kampala ekolebwa amagombolola ataano(5).[5][6] Buli ggombolola mu Kampala ekulirwa meeya alondebwa abantu abatuuze mu ggombolola eyo oluvannyuma n'alonda olukiiko lwafuga nalwo okuva mu bakiise abalondeddwa abantu (ba kkansala). Bano wammanga beba Meeya b'amagombolola ga Kampala oluvannyuma lw'okulonda okwaliwo mu mwaka 2021;[7]

Ekifo Erinnya Egombolola
Meeya Kasirye Nganda Ali Makindye
Meeya Salim Uhuru Kampala Central
Meeya Paul Mugambe Nakawa
Meeya Emmanuel Serunjoji Kawempe
Meeya Mbaraze Mawula Zacchy Lubaga

Abakozi

kyusa

Ebibalo biraga nti wegwatuukira omwezi ogwokubiri 2019 nga ekitongole ki KCCA kirina abakozi 1,113 nga ku bano 391 baali bakozi ba nkalakkalira abaafuna emirimu gino okuyita mu kakiiko akavunaanyizibwa ku bakozi ba gavumenti.[8] [9]

Ekibuga Kampala ekiddukanyizibwa ekitongole ki KCCA kirimu okusoomozebwa okwenjawulo omuli enguundo embi, enkungaanya n'enkwata ya kasasiro embi, ebizimbe ebizimbibwa awatali lukusa, abantu abeesenza mu bifo ebikuumibwa nga entobazi n'ebirala[10]. [11]Ekitongole ki KCCA okuva mu kutondebwawo kwakyo kizze kikola entegeka okulaba nga obulamu bwabannakibuga bulongooka awamu n'okubatuusaako empereza ennunji. Zino z'ezimu ku ntekateeka ezizze zikolebwa;

Mu Gwokubiri 2015, kkampuni ya Rift Valley Railways, ng’ekolagana ne KCCA, yatandika okugezesa eggaali y’omukka eyali ey'okusaabaza abantu mu Kampala n’ebitundu ebiriraanyewo, kino kyagenderera okusobola okwanguyiza abantu okutambula mu kibuga ku nsimbi ensamusaamu n'okwewala akalipaggano k'ebidduka oba Jaamu nga bwayitibwa mu lungereza. [12] Gavumenti ya Uganda nga eyita mu KCCA yateeka omukono ku ndagaano neginaayo eya China okusobola okuzimba Kiromita 35 ez'oluguudo lweggaali y'omuka. [13] Mu byobulamu n'obuyonja KCCA ezze ezimba kabuyonjo mu bifo ebyenjawulo mu kibuga okusobozesa bannakibuga okufuna ebifo awakyamirwa eby'omutindo[14][15]

Mu mwaka 2024, Omumyuka wa Pulezidenti wa Uganda RTD. MAJ. Jessica Alupo yatongoza entekateeka ey'okukola amakubo ag'enjawulo mu kibuga Kampala n'emiriraano. Entekateeka eno ebalirirwa siringi za Uganda Tuliriyoni 2.2[16][17][18]

Laba ne

kyusa

Ebiwandiiko ebijuliziddwa

kyusa
  1. Nile Post (13 May 2020). "Government To Pay Shs4 Billion To Former KCC Staff". Kampala: Nile Post Uganda. Retrieved 17 June 2020.
  2. Template:Google mapshttps://www.google.com/maps/place/0%C2%B018'54.0%22N+32%C2%B035'09.0%22E/@0.315,32.5836446,392m/data=!3m2!1e3!4b1!4m5!3m4!1s0x0:0x0!8m2!3d0.315!4d32.5858333
  3. Daily Monitor (14 December 2019). "Museveni Shuffles Cabinet, Drops Muloni, Appoints Magyezi". Daily Monitor. Kampala. Retrieved 17 June 2020.
  4. https://www.kcca.go.ug/about-the-authority
  5. https://en.wikipedia.org/wiki/Divisions_of_Kampala
  6. https://www.kcca.go.ug/about-the-authority#:~:text=Kampala%20is%20divided%20into%20five,under%20the%20new%20KCCA%20Law.
  7. https://www.kcca.go.ug/about-the-authority#:~:text=Kampala%20is%20divided%20into%20five,under%20the%20new%20KCCA%20Law.
  8. https://www.independent.co.ug/kcca-to-regularize-1000-staff-on-temporary-contracts/
  9. https://en.wikipedia.org/wiki/Makindye_Division
  10. https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/ten-key-issues-kampala-capital-city-authority-must-fix-1493970
  11. https://www.ntv.co.ug/ug/features/what-are-the-issues-ailing-kampala-city-morning-at-ntv-4157932#:~:text=Kampala%20has%20been%20facing%20numerous,a%20lack%20of%20affordable%20housing.
  12. Paul Tajuba and Farahani Mukisa (5 February 2015). "KCCA Tests Passenger Train". Daily Monitor. Kampala. Retrieved 5 February 2015.
  13. Railway Gazette (17 December 2015). "Kampala light rail agreement signed". Railway Gazette. Archived from the original on 12 August 2016. Retrieved 16 November 2016.
  14. https://nilepost.co.ug/index.php/Central%20Business%20District/185627/kcca-to-construct-20-public-toilets-in-central-business-district
  15. https://nilepost.co.ug/index.php/Kampala%20Capital%20City%20Authority/195510/kcca-unveils-modern-toilets-to-enhance-sanitation-services-in-the-city
  16. https://www.kcca.go.ug/kcrrp
  17. https://chimpreports.com/relief-for-kampala-as-world-bank-injects-560m-in-rehabilitation-of-roads/
  18. https://www.newvision.co.ug/category/news/vp-alupo-launches-sh22-trillion-greater-kampa-NV_195576