Brenda Namukuta
Brenda Namukuta munabyabufuzi, Munnayuganda, munamateeka ali kukakiiko akakola amateekanga kuno kw'ateeka n'okubeera Omubaka wa Paalamenti akiikirira Disitulikiti y'e Kaliro mu Paalamenti ya Uganda eyekumineemu.[1][2][3][4][5] Alina akakwate ku kibiina kya National Resistance Movement (NRM)[2][6][7]
Emirimu gye
kyusaNamukuta yeyakwatira ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) bendera ku lwa Disitulikiti y'e Kaliro.[8][9][10] Yawangula akalulu ka 2021 n'afuuka omubaka omukyala eyali agenda okukiikirira Disitulikiti y'e Kaliro.[11][5] Atuula ku kakiiko ka Paalamenti akavunaanyizibwa ku by'embalirira mu Paalamenti ya Uganda eyekumineemu[12] Namukuta awereza nga omuwanika ow'ekibiina Ekigatta Abakyala mu Paalamenti. Ye muwanika w'akakiiko ka Paalamenti ababaka abava mu kibiina ky'ebyobufuzi ekimu gyebeewandisiza aka bitundu by'omu Busoga.
Emirimu emirala
kyusaNamukuta yali omu ku baali ku kakiiko ka Paalamenti akakola ku by'embaliriza mu Paalamenti ya Uganda akaalambula ekitebe kya FUFA ekikulu okuyiga ku mirimu gya FUFA n'okumannya engeri omupiira gyegudukanyizibwamu n'okukulemberwamu mu Uganda .[12][13][14][15][16][17]
Namukuta yali omu ku babaka ba Paalamenti okuva mu bitundu bye Busoga abaakubaganya ebirowoozo kumbeera y'enguudo eziri mu Busoga, nga bali wamu n'ekitongole ekivunaanyizibwa ku by'enguudo mu Uganda, ekyali kikulembeddwa akikulira Allen Kagina.[18]
Obukuubagano
kyusaNamukuta teyali kubabaka ba Paalamenti okuva NRM bebaali balumiriza okubeera nga baafuna ssente z'okubeebaza ez'obukadde obutaano olw'okulonda Anita Among ne Thomas Tayebwa mu lwokaano lw'okulonda, nga wano Anita Among weyawangulira akalulu kano oluvannyuma lw'okufa kwa Jacob Oulanyah. Cissy Namujju eyali omubaka wa Paalamenti Omukyala akiikirira Disitulikiti ya Lwengo yakakasa nti yeeyali omu ku babaka ba Paalamenti okuva mu NRM, abaafuna ssente zino.[19]
Ebijuliziddwaamu
kyusa- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/mps-lack-offices-work-in-corridors-3446698
- ↑ 2.0 2.1 https://www.newvision.co.ug/articledetails/89258
- ↑ https://www.newvision.co.ug/articledetails/115247
- ↑ https://visiblepolls.org/ug/2021-general-election/candidates/namukuta-brenda-10328/
- ↑ 5.0 5.1 https://pearlpost.co.ug/news/politics/list-of-winners-and-losers-of-2021-member-of-parliament-elections/
- ↑ https://www.bukedde.co.ug/articledetails/115247
- ↑ https://visiblepolls.org/ug/2021-general-election/candidates/namukuta-brenda-10328/
- ↑ https://www.independent.co.ug/nrm-candidates-demand-facilitation-to-battle-opposition-rivals/
- ↑ https://observer.ug/news/headlines/67380-nup-is-killing-us-busoga-nrm-candidates-cry-to-kadaga
- ↑ http://www.ugandadecides.com/aspirant.php?profile=2718
- ↑ https://www.matookerepublic.com/2021/05/19/list-of-130-mps-set-to-be-sworn-in-on-wednesday/
- ↑ 12.0 12.1 https://fufa.co.ug/parliamentary-budget-committee-pays-courtesy-visit-to-fufa-headquarters/
- ↑ https://chimpreports.com/fufa-hosts-parliamentary-budget-committee-members/
- ↑ https://www.galaxyfm.co.ug/2021/11/22/parliamentary-budget-committee-pays-courtesy-visit-to-fufa-headquarters/
- ↑ https://parliamentwatch.ug/committees/committee-on-budget/
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Brenda_Namukuta#cite_note-17
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Brenda_Namukuta#cite_note-17
- ↑ https://mulengeranews.com/busoga-mps-salute-unra-for-doing-such-a-powerful-job/
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Brenda_Namukuta#cite_note-:3-19