Brian Lubega
Brian Lubega muyimbi wa gospel omunnayuganda, omuwandiisi w'ennyimba era omusumba . [1] Amanyiddwa nnyo olw’ennyimba ze eziyimbibwa mu kusaba kw’amakkanisa mu Uganda okusinga. Emyaka bwe gizze giyitawo, Brian awangudde engule eziwerako nga Royal Gospel Music Awards, Groove Awards era abadde agabana siteegi n’abayimbi abawerako ab’ettutumu nga Don Moen . [2] [3]
Obulamu obw’Obuto n’Ebyenjigiriza
kyusaYatandika okuyimba mu 2003 ng’akyali mu siniya era yali mu kkwaaya y’ekkanisa. [4] Mu 2011, yafuuka omuyimbi wa gospel mu ngeri ey’ekikugu. [4]
Omulimu
kyusaLubega yatandika okuyimba nga nnakyewa mu kkanisa ya Youth for Christ ministries mu luwummula lwe olwa Senior ey'omukkaga. Oluvannyuma yafulumya olutambi lwe olwasooka, Nungamya, abantu ne balusiima nnyo. Mu lutambi luno mwalimu ennyimba nga “Nungamya” ne “Wegukubira” ezaafuuka ez’ettutumu mu Uganda n’ebweru. Mu 2018, Lubega yafulumya olutambi lwe olwokubiri olwa Wegukubira. Olutambi luno lwabaddemu ennyimba nga “Ndiwuwe” ne “Wegukubira” ezaanyibwa ku empewo za leediyo ne ttivvi z’omu kitundu. [5] Mu 2016, Brian Lubega yatuuzibwa ku bwa Paasita, ng’agatta ebitone bye eby’okuyimba n’omulimu gwe yakola ng’omukulembeze w’eby’omwoyo.
Ebwe'nyimba
kyusaEntabii
kyusa- Nungamya (2013)
- Wegukubira (2018)
- Olungiya (2022)
Ennyimba
kyusa• Linda Yesu • Nyanjala • Onkoledde • Bunyuma • Teli Akusinga • Victory • Support • Nesiimye • Wakitiibwa • Wegukubira • Sitoma • Nsiimye • Takadiwa • Olungiya • Asaanide • Mbaagala • Nungamya • Ndi Wuwe • As a Church • Kubayita • Tankwatibwa Nsonyi • Sijja Kowa • Okoze • Nungamya ntwala awo
Engule n'okusunsulwa
kyusa- 2019 Groove Awards Omuyimbi w'omwaka.
Laba Era
kyusaEbiwandiiko ebikozesebwa
kyusa- ↑ "Brian Lubega releases brand new worship song entitled " Linda Yesu" – Gospel Modes" (in American English). Archived from the original on 2024-01-18. Retrieved 2024-01-18.
- ↑ "Royal Gospel Music | You Want It, We Got It". royalgospelmusic.com. Archived from the original on 2023-11-17. Retrieved 2024-01-18.
- ↑ vinepulse (2019-02-08). "Touching experience of How Don Moen impacted Brian Lubega's life". Vine Pulse (in American English). Retrieved 2024-01-18.
- ↑ 4.0 4.1 "A musician made for live audiences". Monitor (in Lungereza). 2021-01-09. Retrieved 2024-01-18.
- ↑ Sseruyigo, Aaron (2016-10-10). "Brian Lubega: Skilled for specific purpose". Breaking news on Christianity in Uganda and World (in American English). Retrieved 2024-01-18.