Bukedea (disitulikit)
Bukedea District
kyusaBukedea District kitundu ku ggwanga Uganda era nga esangibwa mu buvanjuba bweggwanga lino. Ekitebe ekikulu ekya disitulikiti eno eri mu kitundu kya Teso kisangibwa mu kabuga Bukedea era wano wewava erinnya lyayo distulikiti eno yasalwa ku Kumi mu mwaka 2006.[1]
Omuwendo gwabantu
kyusaOkusinziira ku byava mu kubala abantu okwakolebwa ekitongole ky'ebibalo mu Uganda ki UBOS mu mwaka 2024, Bukedea erimu abantu emitwalo 283,166 nga kubano 144,505 bakyala ate nga 138,661 baami.[2]
Enkulakulana
kyusaYadde nga Disitulikiti ya Bukedea esobola okubalibwa nga emu ku ezo eziri mu byalo kuba yesudde kiromita 285 okuva mu kampala ekibuga ekikulu ekya Uganda, Disitulikiti eno erimu ebifo ebiwerako eby'oleka enkulakulana. Kuno kuliko Eddwaliro ewasomesezebwa abasawo li Bukedea teaching hospital, ekisaawe ky'ebyemizannyo ki Bukedea Sports Complex kino nga wewazannyirwa emizannyo gyamasomero mu bugwanjuba bwa Afirika mu mwaka 2024, wamu n'essomero li Amus College School nga lino lyegulidde erinnya mu byemizannyo ensangi zino.[3][4][5][6]
Ebyobufuzi
kyusaBukedea oluvannyuma lw'omubaka Omukyala ajikikiirira Rt. Hon. Anita Annet Among okufuuka omukubiriza wa Paalimenti ya Uganda nga asikira omugenzi Jacob Oulanyah yafuukira ddala entabiro y'ebyobufuzi era abakungu abamaanyi mu byobufuzi by'eggwanga Uganda nebakyalayo kko.[7][8] Kubatabuusibwa maaso kuliko Pulezidenti wa Uganda Kennyini Gen.Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa, mutabani we era omuduumizi w'amagye ga Uganda Gen. Muhoozi Kainerugaba, kwossa n'ababaka ba paalimenti ne ba minisita abeetaba mu bunji mu kuggulawo enju ya Sipiika Among kukyalo Aereere mu ggombolola Kamutur mu mwaka 2023[9][10][11][12]
- ↑ https://www.undp.org/sites/g/files/zskgke326/files/migration/ug/UNDPUganda-2014-Teso-HRV-Report---Bukedea.pdf
- ↑ https://www.ubos.org/wp-content/uploads/publications/National-Population-and-Housing-Census-2024-Preliminary-Report.pdf
- ↑ https://chimpreports.com/museveni-to-flag-off-2024-feasssa-games-commission-bukedea-sports-park/
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2024-04-14. Retrieved 2024-09-05.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2024-11-27. Retrieved 2024-09-05.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://kawowo.com/2024/08/27/how-uganda-won-the-2024-feassa-games-overall-title-in-bukedea/
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/magazines/people-power/explaining-among-s-power-play-in-bukedea-4340506
- ↑ https://www.independent.co.ug/anita-among-is-ugandas-new-speaker-with-401-votes/
- ↑ https://www.newvision.co.ug/category/news/gen-muhoozi-arrives-in-bukedea-NV_167469
- ↑ https://nilepost.co.ug/featured/192999/museveni-commissions-hospital-in-bukedea-defends-among
- ↑ https://www.newvision.co.ug/category/news/speaker-anita-amongs-house-unveiled-NV_167413
- ↑ https://nilepost.co.ug/lifestyle/168807/pictorial-speaker-anita-among-unveils-magnificent-country-home-in-bukedea