Charles Peter Mayiga
Oweekitiibwa Charles Peter Mayiga Yazaalibwa mu mwaka 1962. Mwami Mayiga Munnamateeka mugundivu era omukulembeze mu Bwakabaka bwa Buganda era nga ye Katikkiro ekifo kyabaddemu okuva Ssaabasajja lweyasiima namuwa obuvunanyizibwa obwo mu mwaka 2013. Mwami Mayiga era muwandiisi wa bitabo ebifulumira mu lulimi olungereza era waliwo n'ebikyuusiddwa okuzibwa mu Luganda. Nga tannafuuka Kattikiro Oweekitiibwa Mayiga yali awerezza Obwakabaka okuviira ddala mu biseera ebya Ssabataka supreme Council. Olukiiko olwakulembera okuzzaawo obwakabaka mu mwaka 1993. okutuuka mu kifo kino yalondebwa Ssaabasajja Kabaka wa Buganda, aliko,Ronald Muwenda Mutebi II, mu Gwokutaano 2013, era yasikira Oweekitibwa John Baptist Walusimbi.[1][2]
Ebimukwatako
kyusaOweekitibwa Charles Peter Mayiga yazaalibwa Katikkiro wa Buganda aliko kati musajja Muganda ey'eddira omutima azaalibwa ku kyalo Kasanje, mu muluka gw'e Kabonera, mu Disitulikiti y'e Masaka,(soma kibuga Masaka) mu Masekkati ga Uganda. Bazadde be ye Ssaalongo Cyprian Mukasa ne nnyina Nnaalongo Rebecca Kyese Mukasa. Yasomera Butale Primary School ne mu Nkoni Primary School. Eddaala lya Siniya erya wansi yalisomera mu St. Henry's College Kitovu. Kyokka oluvannyuma ne yeegatta ku St. Mary's College Kisubi gye yatuulira S6. Alina Diguli mu mateeka eya Bachelor of Laws (LLB), gye yafunira mu Makerere University, Yunivasite ya Uganda esinga obunene n'obukadde mu za Gavumenti. Alina ne Dipuloma mu kukola amateeka eya Diploma in Legal Practice, gye yasomera ku ttendekero ly'ebyamateeka erya Law Development Center, mu Kampala, ekibuga kya Uganda ekikulu.[3]
Emirimu gye
kyusaOkuviira ddala mu 1987, Mayiga abadde akolera wamu n'obukulembeze Bwobwakabaka bwa Buganda, era y'omu ku bantu abeebuuzibwako naddala ku nsonga ezikwata ku Bwabakabaka era nga abuwandiiseeko nemubimu ku bitabo bye nga King on the throne [4](2009) mwatebeza ebyo ebyakulembera okuzzibwawo Kw'Obwakabaka bwa Buganda
Nga 4 Ogwomusanvu 1991, ng'Obwakabaka bwa Buganda bwetegekera okuzzibwawo, Mayiga yalondebwa okubeera omuwandiisi w'olukiiko lw'abakungu ba Ssaabasajja (oba Ssaabataka nga bweyayitibwanga mu budde obwo) abaalondebwa okuteekateeka n'okuzzaawo ennono z'Obuwangwa bw'Abaganda n'Okuzzaawo obukulembeze bw'Obwakabaka. Oluvannyuma ekitiibwa kino kyakyuka n'afuuka omuwandiisi ssetteeserezo wa Buganda ayitibwa Lukiiko oluvannyuma lw'okuzzibwawo kw'Obwakabaka. Mwami Mayiga era yakolako nga minisita mu minisitule ezenjawulo omuli eyabavubuka n'eyebyamawulire okutuuka yalondebwa ku Bwatikkiro wa Buganda mu Gwokutaano, 2013.[5][6]
Nga tannalondebwa nga Katikkiro, Mayiga yali agaanyi ebifo ebisukka mu bibiri (2) ebyali bimuweereddwa mu Gavumenti eya wakati - Gavumenti ya Uganda.[7]
Emirimu gye wabweru w'obuwereza mu bwakabaka bwa Buganda
kyusaOweekitiibwa Mayiga munnamateeka omutendeke era ye ne munywanyi we bbaatandika kkampuni yabannamateeka eya Buwule and Mayiga Company Advocates, mu mwaka 1994. Eno esangibwa Kampala Uganda mu ssaza Kyadondo, musajja mulimi era amanyiddwa olwobwagazi bwalina eri ekirime ky'emwanyi, era muwandiisi wabitabo era nga ebitabo bye ebisinga awandiika kunsonga z'obwakabaka bwa Buganda (laba ekitabo Kabaka ku Nnamulondo) Mwami Mayiga era awandiika ku byenfuna n'okwekulakulanya.
Laba nabino
kyusaEbijuliziddwa okuva wabweru wa Wikipediya
kyusa- "Buganda, Centenary Bank partner in Kasubi tombs drive", New Vision, 21 February 2014
- "Katikiro Mayiga Leadership Style Proves Critics Wrong", New Vision, 12 December 2013
Olukangaga olulaga Bakatikkiro bwe bazze beddiring'ana
kyusaTemplate:S-start Template:S-bef Template:S-ttl Template:S-aft Template:S-end
- ↑ http://www.newvision.co.ug/news/643006-katikiro-mayiga-chairs-his-first-cabinet-meeting.html
- ↑ http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1333039/-support-buganda-katikiro
- ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help) - ↑ Mayiga, C.P. (2009). King on the throne: The story of the restoration of the kingdom of Buganda. Prime Time Communications. Retrieved from https://books.google.co.ug/books?id=20ZFYgEACAAJ
- ↑ http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1321669/mayiga-choice-katikkiro
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2017-09-08. Retrieved 2022-11-25.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2022-11-25. Retrieved 2022-11-25.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link)