Denis Onyango

omuzannyi w'omupiira omu omunnayuganda

Denis Onyango (eyazaalibwa nga 15 Ogwokutaano 1985) munnayuganda omuzannyi w'omupiira gw'ebigere azannya ng'omukwasi wa ggoolo ku ttiimu ya Mamelodi Sundowns ezannyira mu South African Premier Soccer League.

Onyango (2023)

Oluvannyuma lw'okutandika omupiira mu ggwanga lye ery'obuzaaliranwa, Onyango yagenda mu South African Premier Soccer League ne Supersport United, Mpumalanga Black Aces, ne Mamelodi Sundowns. Ng'ali mu Mamelodi Sundowns, yawangula ekikopo kya CAF Champions League mu 2016 era ne yeetaba mu kikopo kya FIFA Club World Cup ekya 2016. Yalondebwa okuba omuzannyi Omufirika aguzannyira mu Afirika asinze mu mwaka gwa 2016. Mu ngeri endala era yalondebwa mu kifo kya kkumi mu bakwasi ba ggoolo abasinga mu nsi yonna mu 2016 mu lukalala olutegekebwa aba International Federation of Football History & Statistics.

Yakiikirira Uganda mu mpaka za Africa Cup of Nations eza 2017 era n'abeera omuduumizi waabwe okutuusa lwe yawummula mu 2021.

Olugendo lw'omupiira

kyusa

Ng'atandika

kyusa

Oluvannyuma lw'okuzaalibwa mu Kampala, Uganda, Onyango omupiira yagutandikira mu SC Villa mu Kampala era oluvannyuma ne yeegatta ku St. George SA mu Ethiopia.

SuperSport United ne Mpumalanga Black Aces

kyusa

Mu 2006, Onyango yeegatta ku ttiimu ya South African Premier Soccer League eya Supersport United.

Nga 8 Ogwomusanvu, 2010, yateebwa ttiimu ya SuperSport United.

Nga 26 Ogwomusanvu, Mpumalanga Black Aces yakansa Onyango ku bwereere.

Mamelodi Sundowns

kyusa

Mu 2011, Onyango yeegatta ku ttiimu ya South African Premier Soccer League eyitibwa Mamelodi Sundowns.

Nga 2 Ogwomunaana 2013, yeegatta ku ttiimu ya Bidvest Wits ku bweyazike.

Mu Gwomusanvu 2014 Mamelodi Sundowns yassa mu nkola akawaayiro k'okwongezaayo endagaano ya Onyango n'ebbanga lya mwaka gumu.

Onyango yawangula engule y'omukuumi wa ggoolo asinze mu PSL (omuzannyi asinze mu lligi ya South Africa ey'oku ntikko) mu sizoni ya 2015-16 era n'amala emipiira 14 nga tateebwamu Sundowns eryoke efune obubobero 71 obwamenya likodi.

Ekibiina kya Uganda Sports Press Associations kyalonda Onyango nga munnabyamizannyo asinze mu Gwekkumi gwa 2016 mu Uganda.

Nga 5 Ogwolubereberye 2017, yalondebwa okuba omuzannyi Omufirika aguzannyira mu Afirika asinze mu mwaka gwa 2016 mu kugaba ebirabo bya CAF Awards okwategekebwa e Nigeria. Yakomekkerera n'obululu 252, bw'ogeraageranya n'obululu 228 obwa Khama Billiat eyamalira mu kifo eky'okubiri.

Ttiimu y'eggwanga

kyusa

Onyango yazannyira ttiimu ya Uganda ey'eggwanga omupiira gwe ogusooka nga 18 Ogwomukaaga 2005 nga battunka ne Cape Verde mu mupiira gw'empaka z'okusunsulamu abaneetaba mu Kikopo ky'ensi yonna. Okuva olwo Onyango yafuuka muzannyi atandika ku ttiimu ya Cranes.

Onyango yayamba Cranes okutuuka mu mpaka z'ekikopo kya Afirika eza 2017 bwe yateebebwamu ggoolo bbiri zokka mu mipiira mukaaga gye baazannya mu kibinja kyabwe. Yazannya omupiira gwe ogusooka mu kikopo kya Africa Cup of Nations mu mpaka za 31 ezaali mu Gabon ezaaliyo okuva nga 14 Ogwolubereberye 2017 okutuuka nga 5 Ogwokubiri 2017.

Yafuuka omuduumizi wa ttiimu y'eggwanga mu Gwokuna 2017. Nga 12 Ogwokuna 2021, Onyango yalangirira nga bw'awumudde omupiira gw'eggwanga, oluvannyuma lwa Uganda okulemererwa okukiika mu mpaka za Africa Cup of Nations eza 2021.

Enzannya ye

kyusa

Onyango amanyiddwa nnyo mu kuggyamu peneti n'enzannya ye mu mbeera y'omuzannyi omu-ku-omu. Mulungi mu buli kintu, takyukakyuka era mukkakkamu nga Mark Anderson, eyaliko omutendesi w'abakwasi ba ggoolo ku Sundowns, bw'annyonnyola.

Ebibalo bye eby'omupiira

kyusa

Ttiimu y'eggwanga

kyusa

Template:Updated[1]

Ttiimu y'eggwanga lya Uganda
Omwaka Emipiira Ggoolo
2005 2 0
2006 2 0
2007 4 0
2008 6 0
2009 1 0
2010 3 0
2011 6 0
2012 6 0
2013 3 0
2014 10 0
2015 6 0
2016 5 0
2017 8 0
2018 7 0
2019 6 0
Omugatte 75 0

Ebikopo

kyusa

Ttiimu

kyusa

Super Sport United

  • Premier Soccer League: 2007-08, 2008-09, 2009-10

Mamelodi Sundowns

  • Premier Soccer League: 201516, 201718, 201819, 201920, 202021, 202122
  • Nedbank Cup: 2014[2]
  • Telkom Knockout: 2015[2]
  • CAF Champions League: 2016
  • CAF Super Cup: 2017

By'awangudde ng'omuntu

kyusa
  • Omuzannyi Omufirika azannyira mu Afirika ow'omwaka: 2016

Ebijuliziddwa

kyusa
  1. Template:NFT player
  2. 2.0 2.1 Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named Soccerway

Obulandira obulala

kyusa