Diana Nabatanzi MunnaUgandan omuzannyi era omuwandiisi wa firimu, muweereza ku leediyo ne ku ttivvi, era awandiika ne ku miramwa emirala, mukulu munkisaawe kino era awandiika obutundu mu firimu neemizannyo. Muweerreza ku ttiivvi ya BBS terefayina, gy'alina pulogulaamu ezenjawulo omuli,ey'okumakya eyitibwa sumulula,nendala nga ka sukaali ne uga hood show.

Ebyafaayo bye

kyusa

Diana MunnaUgandan nga bazadde be, ye Fred Magala ne Rosemary Nanteza. Ye mwana ow'okubiri kubaana bataano era baazaalibwa mu Kampala. Yaakayingira emyaka asatu mu 2021.

Okusoma kwe

kyusa

Diana yasomera ku ssomero lya St. Elizabeth primary school gye yamalira Ekibiina Ek'yomusanvu nadda ku St Mary's Nsuba gye yamalira Siniya ey'okuna. Yadda ku St. Joseph Centenary school gye yamalira Siniya Ey'omukaaga. Nga amalirizza emisomo gya siniya,yakola Dipulooma mu by'amawulire ku Kampala University. Oluvannyuma yakola Diguli Esooka mu ssomo lya Business Administration ku Ndejje University.

Omulimu gw'okuzannya firimu

kyusa

Diana yatandika okuzannya firimu nga akyali muto era yeetabanga mu kuzannya emizannyo awamu n'okuyimba. Nga amaze siniya ey'omukaaga, yatandika okunoonya bwakuza ekitone kye ekyo. Yeeyunga ku kibiina kya "Aromatic films" era yatandika okuzannya firimu omuli Sikola, Bwebatyo, call 112, house arrest, abakyala bazira, the maker ne bunjako firimu y'entiisa eyasooka okufulumizibwa mu Uganda.[1]

Mu 2017 yazannya mu muzannyo omuwanvu ogumanyiddwa nga Nawolovu ogwatongozebwa ku Bukedde TV. Oluvannyuma, kkampuni ye yaddamu neefulumya omuzannyo omulala oguyitibwa Entuunnusi. Yalabikirako mu mulala oguyitibwa "Mistakes Girls Do" ogwalagibwanga ku ttivi ya Pearl Magic. Gw'afulumizibwa Richard Mulindwa akolera mu kibiina ekifulumya firimu ekya Limit production mu 2017. Yazannyira ne mu ndala eyawandiikibwa John Segawa eyalagibwanga ku mpewo za NTV Uganda oluvannyuma neeragibwa ku ttivi ya Pearl magic.[2]

Omulimu gwe ogw'okumpewo

kyusa

Diana okwegezaamu mu kusoma kwe ku ddaala lya Dipulooma mu By'amawulire yakukolera ku leediyo ya Prime radio nga leediyo yaakikulisitaayo. Oluvannyuma yaweebwa omulimu ku Uganda Broadcasting Corporation. Yali akolera ne ku leediyo ya Pearl FM era nga mu bifo byombi yakolerayo okumala emyaka 2. Yalondebwa okwetaba mu mpaka z'omuzannyi asinga ku mizannyo egiragibwa ku ttivvi mu 2016 ne 2018 mu mpaka za Uganda film festival awards. Yaliko ku lutimbe mu kalango k'akakiiko k'ebyokulonda.

Obulamu bwe

kyusa

Diana addukanya ekitongole ekiyitibwa Tanzi foundation. Obulamu bwe bw'akyama nnyo okutuuka ku ssa ly'okuba nga tayasanguza na linnya lya bba mu bantu. Ebiwulirwa mu ngambo biri nti alina abaana babiri ye beyegaana mu bantu.[3][4]

References

kyusa
  1. "Archive copy". Archived from the original on 2022-12-10. Retrieved 2022-12-10.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  2. https://www.howwebiz.ug/news/celebrity/7898/meet-21-yr-old-nabatanzi-dianah-with-a-blossoming-acting-career
  3. "Archive copy". Archived from the original on 2022-07-04. Retrieved 2022-12-10.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  4. https://www.monitor.co.ug/uganda/magazines/full-woman/is-the-master-bedroom-a-no-go-zone-for-children--1834272