Embizzi nziriisa ntya bulungi
EMBIZZI NZIRIISA NTYA OKUKULA BULUNGI
kyusaOkusinzira ku bange lye nundidde ebisisolo bino nkizudde nga endiisa yabyo abamu ebalema okutegera kale n'lwekyo wanjagalidde okugabana wamu mawe ku kye njudde.
Mukulunda ebyokulya kye kisingira ddala kusaasaanyizibwako ensimbi. Buli lw'ogayala okuziriisa obulungi ofirwa kuba tezikula mangu ate ziyinza okukunduga awamu n'okulumbibwa endwadde.
Emmere y'embizzi ennungi ebeeramu ekiriisa ekireeta amannyi, ekizimba omubiri, vitamini, omunnyo gw'ebisolo.
Waliwo emmere ebaamu ebirungo ebyenjawulo ng'etundibwa. Eno etera okubeeramu ebirungo ebimala.
Embizzi enzungu ey'emyezi esatu eba efuna kkiro emu n'ekitundu buli lunaku, era buli mwezi ogweyongerako kubukulu bwayo oba ogattako nga ekitundu kya kkiro y'emmere gy'erya buli lunaku.
Kinno no kitegeeza nti embizzi ey'emyezi omukaaga eba efuna kkiro biri(2) ne grammes lusaanvu (700) buli lunaku.
Embizzi ezifuna emmere eno teziteekako masavu mangi so ngate zikula bulungi.
Embizzi enganda zikula mpola nnyo era sandikuwagidde kuzigulira mmere eno entabule kubanga tojja kuzifunamu magoba bulungi.
Embizzi osobola okugiriisa omuddo gamba nga kafumbe, ennanda, amalagala, ga lumonde, ebisagazi ebitoototo ng'obitemyetemyemu, Muwogo, Lumonde na kawunga.
Abalunzi abamu baliisa embizzi omusaayi gw'ente nga bamzze okugufumbako nga bewala endwadde z'ebisolo eziyinza okusaasanira mu bintu bino.
Wabula gezaako okulonda olulyo olulungi