Emyezi mu Mwaka
(O)mwezi kigambo kya Luswayiri ekitegeeza ezzooba mu Luganda.[1] Awataali kkalenda, abantu ba Buganda okuva edda baasobolanga okukola embala y'ebiseera by'eddaaza oba eby'omwaka, nga basinziira kw'ebyo ebyajja bituukawo. Bwe tutemaatema emyezi 12, nagyo gyaweebwa amannya ageetongodde okusobola okuteekawo obwangu mu kwawula ogumu ku mirala.
Gatonnya (January)
kyusaOlw'okubanga amatooke y'emmere eyasinga okulimibwanga mu Buganda, kyatuukanga ekiseera ne gayitirira obungi, ensuku ne zengera era ne gatandika kutonnya butonnyi, nga gawanuka okuva ku nkota zaago. Kino kyaleetera okutuuma omwezi ogwo erinnya erya Gatonnya kubanga kino kyabeerangawo mu kiseera kya nnaku zokka we gwatuukiranga.
Mukutulansanja (February)
kyusaOluvannyuma lw'okuyita mu zzooba erisooka, omusana gwatuntumukanga nnyo ne kireetera ebitooke byonna okukala endagala, ne zifuuka essanja. Olw'obugazi bw'ettaka buli mutuuze lye yabanga nalyo, emmere yabeeranga nnyingi, olwo akasana ppereketya ne kaleetera essanja eryo okukutukanga lyokka, era kaayitibwanga akasana mukutulansanja. Kyabanga kiseera kya kuwummulira mu bisiikirize okusinga ku bwe gwali gubeera.
Mugulansigo (March)
kyusaAwamu n'okuwaanyisiganya ebintu, omulimi yawangayo ky'alina nga kigya mw'ekyo kye yeetaaga okusobola okukifuna; era n'eba emu ku nkola z'okugula ezaakozesebwanga okugabana ku nsigo, oba empeke, omuli eza kasooli n'ez'ebijanjaalo basobole okuzitereka. Akayissanyo ka mugulansigo ako kaabanga engeri esookerwako mu kweteekerateekera okusiga.
Kafuumuulampawu (April)
kyusaEmpawu kika kya nswa ezaafuumuukanga ennyo mu mwezi ogwo, nga zifubutuka mu biswa byazo. Ng'enkola ey'okukyusa ku ky'okulya ki nnantalabika, buli omu yazeesunganga era ebyombo ne bitegekebwa, mwe zaakunngaanyizibwa. Kale ekigambo ekyabeera ekyangu mu kusaasaanya amawulire g'okubuuka kw'enswa zino, kwe kwali okugamba nti 'zzooba lya kafuumuulampawu'.
Muzigo (May)
kyusaAbangi bwe bawulira ekigambo kino, ebirowoozo byandiddukira ku muzigo oguteekebwa mu mmere, ekitali kituufu. Ng'oggyeeko okuba nga linnya lya kintu, ekyo kigambo ekitegeeza 'okukwata n'obwegendereza'. Kwe kyava, bye biseera eby'obutiti we byajjiranga olwo obulamu bw'ebirundibwa, okugeza ente n'embuzi, ne busigala mu matigga. Muzigo kyafuulwa kigambo kya mukungo ku buli yabeeranga n'ekisolo okukirabirira obulungi.[2]
Ssebo aseka (June)
kyusaWaaliwo omuwala eyaweebwa kasooli omwokye okumutwalira kitaawe eyali ayota akasana olw'okulumbibwa omusujja gw'ensiri. Nga bwe kyabeeranga, ssemaka yasomberwanga eby'okulya okutuusa lwe yakkutanga. Mu kutwala kasooli omulundi ogw'okubiri, yasanga eyasooka nga taliiriddwa; naddayo eri nnyina okumugamba nti 'ssebo aseka' oba 'ssebaaseka' mu kusaagiriza. Olw'okuba amannyo gaali ku ngulu, yalowooza nti aseka, kumbe yali mufu wajjo!
Kasambula (July)
kyusaOkusambula ensiko, kye kimu n'okugisaawa oba okutereeza w'eri olwo ne waba watereevu. Kyabanga kiseera kya kweteekerateekera ssizoni y'okusiga ey'okubiri era ne kireetawo okutuuma omwezi ogwo ogw'okusambula. Ennimiro zaalinanga okutereezebwa nga enkuba tennaddamu kutonnya olw'obutakaluubirirwa kulondalonda muddo mu bisooto, n'okwanguwa okusimba mu kiseera ekituufu.
Muwakanya (August)
kyusaAkasana okwaka nga bwe kakubaakubamu, okwememula nga n'ekire ky'enkuba bwe kikwata, kyafuuka kiseera kizibu kya kuteebereza ki kyennyini ekyali eky'okubangawo ku byombi. Wakati mu mbeera y'obudde nga egenda yeewakanya, waabangawo eyasinza ginnaayo amaanyi okumala akabanga akatemera mu nnaku 30 oba okusingawo. Kye kiva kyatuumibwa ekya muwakanya olw'embeera y'okubuusabuusa okw'amaanyi bwe kutyo.
Mutunda (September)
kyusaNg'era empawu, waabangawo ekika ky'enswa ekirala ekyayitirira obungi mu kiseera kino. Zino zaabanga za njawulo era ne zisobola okwawulwa enfaanana ku zaasookangawo mu biseera by'omwaka ebiberyeberye. Olwo yali ebula emyezi esatu okusiibula omwaka ogwo era n'eba engeri ennyangu ey'okubala ebiseera — awataali nkola ya kizungu eyettaniddwa naddala mu kyasa kino.
Mukulukusabitungotungo (October)
kyusaOlwa nnamutikwa w'enkuba eyafudemba nga agobeddwa mu ggulu, ensigo ezimu naddala entonotono okugeza ez'entungo; zaasobola okukulukusibwa nga zitwalibwa mukoka. Nga n'ebinnya byesima mu ngeri y'ettaka okutwalibwa amazzi, kinnyonnyolwa nti kyasukka ebiseera ebimu era eno n'eyitibwa enkuba mukulukusabitungotungo, ekyatuumisa omwezi ogwo bwe gutyo mu butongole.
Museenene (November)
kyusaGuno gweyogerera gwokka. Ne gye buli eno, enseenene (mwe gwabbulwa) tezikyusanga kiseera mwe zaabuukiranga. Wabula okwawukanako ne bwe kiri mu myaka gino, zaabuukiranga ebbanga ggwanvuko, olw'ensiko eyabangawo ne zisobola okwetaaya n'okwalula. Kaakano mu byalo, zibuukira ekinene ennyo, ennaku ssatu zokka wabula era omwezi gw'ekkumi n'ogumu gusigala tegukyuse.
Ntenvu (December)
kyusaEntenvu kyali kika kya nvunyu ezaateevuunyanga ennyo mu zooba lino erisembayo.[3] Olw'okuyitiriza okukola ebijimusa ebikolerere n'enkulaakulana ezzeewo mu nsi, bino bigenze bisaanawo mu mpola, weewo awo nga olumu bisobola okulabwako eyo mu bifo ebyesudde ebibuga. Nazo zaalanganga okuggwaako kw'omwaka, olw'okweteekerateekera okuyingira omujja, nate mu mwezi gwa Gatonnya era kati gitambulira wamu n'egy'ekingereza olw'okujja kw'Abazungu mu gya 1700.
Biwandiikiddwa: Ibraheem Ahmad Ntakambi
- ↑ Obudde mu lulimi Oluganda: https://ekitibwakyabuganda.wordpress.com/2009/02/21/obudde-mu-lulimi-oluganda/
- ↑ Oluganda n'amannya g'emyezi n'emyaka: https://ugandatoday.co.ug/oluganda-nammannya-gemwezi-nemyaaka/
- ↑ Everything Uganda: Buganda's last six months of the year: https://ugandamarathon.com/everything-uganda-bugandas-last-six-months-of-the-year/