Endagabwolekero

The compass rose, geographical compass

Endagabwolekero[1][2] eba nnyanguyirizi[3] eraga obwolekero okusobola okulaga ebiseyeeya mu bwengula nga ennyonyi, ku mazzi nga emmeeri n'amaato, ne kuttaka nga emmotoka n'abantu abatambuza ebigere obwolekero[4] obutuufu bwe baba betaaga okukwata okutuuka gye balaga. Endagabwolekero ebaako nigina eziraga:

  • Obukiikakkono[5] oba mambuka[6]
  • Bukiikakkono owa buvanjuba[7]
  • Obuvanjuba[8]
  • Bukiikaddyo owa buvanjuba[9]
  • Obukiikaddyo[10] oba maserengeta
  • Bukiikaddyo owa bugwanjuba[11]
  • Obugwanjuba[12]
  • Bukiikakkono owa bugwanjuba[13]
Endagabwolekero

Manya: Okusobola okumanya awali bukiikakkono[5] n'awali bukiikaddyo[10], obwenyi bwo butunuze buvanjuba (enjuba gy'eva), omukono gwo ogwa kkono gye gutunudde we waba obukiikakkono[5] ate omukono gwo ogwa ddyo gye gutunudee we wali obukiikaddyo[10]. Enkoona yo gy'etunudde we waba obugwanjuba[12].[2]

Etelekero Lye Bifanannyi kyusa

Ebyokurabirako kyusa

  1. The compass rose or geographical compass (en)
  2. 2.0 2.1 Charles Muwanga
  3. Machine (en)
  4. Direction (en)
  5. 5.0 5.1 5.2 North (en)
  6. "A Luganda Phrase Book". Archived from the original on 2020-07-29. Retrieved 2020-09-06.
  7. Northeast (en)
  8. East (en)
  9. Southeast (en)
  10. 10.0 10.1 10.2 South (en)
  11. Southwest (en)
  12. 12.0 12.1 West (en)
  13. Northwest (en)