Enjobe (tragelaphus spekii) kisolo ekyefanaanyirizaako engabi nga kisangibwa mu lutobazi. Enjobe gwe gumu ku miziro gy'Abaganda. Enjobe ya luganda n'ebisolo ebimu nga empeewo, engabi, ensama n'empala naye nga yo tetera kulabika. Ekisolo kino kiyigganyizibwa nnyo era nga kiri mu kabi ka kusaanawo olw'abo ababitta olw'ennyama yaabyo egambibwa okuba nti ewooma okuzaama. Enjobe ebeera n'obunuulo nga buwanvu nnyo ate nga bugonda ekigizibuwalira okutambulira ku lukalu kyokka nga ate mu lusaalu, eyanguyirwa nnyo nga n'okuwuga ewuga.

ENJOBE

Enjobe enkazi eba ya kitaka omucamufu, eba esingako katono ku mbuzi mu bunene n'obuwanvu era etera okuzaala omwana gumu. Yo ennume eba ya kikuusikuusi nga erina amayembe. Buli lwe yeeyongera okukula, amayembe gagenda geenyoola era geeyongera obuwanvu. Enjobe ennume eba esinga enkazi obunene nga egejja okwagala okwenkana ente. Enjobe ebeerako obwoya obweru obuba bwetobese mu birala ku matu, ku lubuto ko ne kumukira. Enjobe kisolo kya nsonyi nnyo era y'ensonga lwaki etera kulya kiro era nga emmere yaayo muddo.

Mu bifo ebimanyiddwa okubaamu enjobe mulimu olutobazi nabajjuzi n'omugga Katonga. Ebimu ku bisinze okukendeeza omuwendo gwabyo kwe kuziyigga, okwokya empiira, n'okusanyaawo entobazzi. Kyeraliikiriza nti oba olyawo mu biseera ebirijja mu maaso, enjobe ziyinza okusaanirawo ddala olw'engeri omuwendo gwazo gyegugenda gukendeerera ku misinde egya yiriyiri.

--Tonny Ineza (talk) 23:20, 1 Gwamunaana 2015 (UTC)