Erias Lukwago
Erias Lukwago (yazaalibwa 11 Ogwokutaano 1970), munnamateeka era munnabyabufuzi Munnayuganda . Ono ye Meeya wekibuga kya Uganda ekikulu Kampala era nga ekitiibwa ekitongole ayitibwa lord mayor ekiviiramu abntu banji okumuyita omuloodi. Lukwago abaddde Meeya wa Kampala okumala ebisanja bisatu era nga yasooka kulondebwa nga 14 Ogwolubereberye 2011. [1]
Mu kisanja kye ekyasooka nga meeya wa Kampala Lukwago yajjibwamu obwesige ba kansala ku lukiiko lwa KCCA nga 25 Ogwekkuminebiri 2013 era nga bankansala bamulanga kubulwa busobozi kuddukanya ofiisi eno kwossa okukozesa obubi obuyinza bwe. Ku ba kansala ba Kampala Capital City Authority 32 abaakuba akalulu ku kiteeso kyokugoba Lukwago 29 bakiwagira sso nga 3 bokka bebasigala ku ludda lwe nebawakanya eky'okumugoba. [2] Yadde nga Lukwago yajjibwamu obwesige olukiiko lwa ba kansala, Omulamuzi wa kooti enkulu Yasin Nyanzi yayisa ekiragiro 28 Ogwekuminogumu 2013 eri minisita wa Kampala nga mu budde obwo yali Frank Tumwebaze okuyimiriza okussa mu nkola alipoota olukiiko lwa bankansala kwerwasinziira okugoba Lukwago era bwatyo nawona okugobwa [3]
Erias Lukwago yaddamu nasaba ekisanja ekirala mu kulonda kwa bonna okwa 2016 era nawangula era naddamu okusaba ekisanja ekirala mu mwaka 2021 era nawangula. [4]
Ensibuko n’obuyigirize
kyusaLukwago yazaalibwa ku kyalo Kabungo, mu Disitulikiti y’e Kalungu nga 11 Ogwokutaano 1970, era nga kitaawe ye mwami Muhhamoud Mirundi ate maama we ye mukyala Salmati Nakayaga. Kigambibwa nti Lukwago alina baganda be abasoba mu makumi abiri. Lukwago yasomera mu yunivasite y’e Makerere wakati wa 1995 okutuuka mu 1997, n’atikkirwa diguli mu byamateeka eyitibwa Bachelor of Laws . Lukwago ali ne Dipulooma mu by’amateeka okuva ku ttendekero lya Law Development Center mu 1998. Alina ne satifikeeti mu Advocacy Skills okuva ku ttendekero eriyitibwa International Law Institute . [5]
Obumanyirivu bwe
kyusaOkuva mu mwaka 1998, Lukwago abadde akola nga omu ku bakugu mu kampuni yabannamateeka eya Lukwago and Company Advocates mu Kampala. Lukwago obukugu bwe mu mateeka obusinga buli mu misango egikwata ku mateeka kwossa n'entaputa ya ssemateeka wamu n'eddembe ly'obuntu . Mu mwaka 2005, yalondebwa nga omubaka wa Palamenti ya Uganda, ku tikiti yekibiina ki Democratic Party, nga yali akiikirira Kampala Central . Lukwago nga mubaka wa palamenti, yaweereza ku kakiiko k'ebyamateeka mu Palamenti ne ku kakiiko akalondoola emirimu mu Gavumenti ez’ebitundu. Lukwago mu kalulu ka 2011 teyadda mu palamenti era nasaba obwa Lord Mayor w'ekibuga Kampala . Lukwago nga akyali mu kibiina kya Democratic Party mu Uganda yakolako nga omuwabuzi wakyo ku nsonga zamateeka era nga yaliko Minisita w'oludda oluvuganya avunaanyizibwa ku nsonga za ssemateeka n'essiga eddamuzi. [6]
Erias Lukwago ye Lord Mayor eyasooka mu kibuga kampala oluvanyuma lw'okutondawo ekitongole ki KCCA ekyajja oluvannyuma lwa palamenti okuyisa etteeka li KCCA Act [7] [8] Mu 2016 yalayira ekisanja kye ekyokubiri. [9] Nga 26 May 2021, yalayira ekisanja kye ekyokusatu nga Lord Mayor wa Kampala Capital City. [10]
Mu bulamu obwabulijjo
kyusaErias Lukwago musajja mufumbo era mukyala we ye Zawedde Lubwama Lukwago nga bombi balina abaana mukaaga okuli n’abalongo. Lukwago yadde nga ebyobufuzi yabitandikira mu kibiina ki Democratic Party mu Uganda, yamala nakyabuulira. [11] Nga 28 Ogwomusanvu 2020, yeegatta ku kibiina ky’ebyobufuzi ekya Forum for Democratic Change, (FDC) Kyokka nakyo bwekyajjamu enjawukana mu mwaka 2023 nga obuzibu buva ku bigambibwa nti abakulu mu kibiina kino bali bafunye ssente okuva ew'omukulembeze wa Uganda mu kulonda kwa 2021, Lukwago yali omu ku banene mu kibiina kino abava e Najjanakumbi nebakuba enkambi ku luguudo Katonga era bano okwali Dr. Besigye, Ibrahim Ssemuju, Wasswa Birigwa, Harold Kaija n'abalala okuyita mu ttabamiruka wekiwayi kino (delegates conference) baalonda Lukwago okubakulembera nga omukulembeze ow'ekiseera.[12][13][14] [15]
Ekiwayi kino eka FDC ekituula e Katonga era kyayisa ekiteeso okusattulula ekibiina kya FDC saako okukola ekibiina ekipya era nebawandiikira akakiiko k'ebyokulonda mu Uganda nga basaba okuwandiisa ekibiina ekijja kyebatuuma People's Front for Freedom (PFF).[16][17][18]
Laba ne
kyusaEbiwandiiko ebijuliziddwa
kyusa- ↑ https://web.archive.org/web/20150206210008/http://www.newvision.co.ug/D/8/12/749174
- ↑ https://www.bbc.com/news/world-africa-25086200
- ↑ https://www.bbc.com/news/world-africa-25141480
- ↑ https://nilepost.co.ug/2021/05/26/erias-lukwago-sworn-in-as-kampala-lord-mayor-for-third-term/
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/special-reports/elections/lukwago-a-politician-of-all-seasons-1488186
- ↑ https://www.concordia.net/community/erias-lukwago/
- ↑ https://web.archive.org/web/20150207050630/http://www.newvision.co.ug/D/8/12/755266
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/kampala-lord-mayor-erias-lukwago-swears-in-1492286
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2022-04-27. Retrieved 2024-09-26.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/i-had-intended-to-serve-10-years-says-lukwago-as-he-swears-in-for-another-term-3414784
- ↑ https://allafrica.com/stories/201103160026.html
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/magazines/people-power/from-dp-to-fdc-is-lukwago-step-closer-to-taking-on-besigye-s-mantle--4385948
- ↑ https://ubc.go.ug/2023/09/20/erias-lukwago-elected-to-head-the-katonga-faction-as-fdc-split-soars/
- ↑ https://www.independent.co.ug/fdc-delegates-at-katonga-name-lukwago-as-interim-president/
- ↑ https://observer.ug/news/headlines/65878-lukwago-finally-crosses-from-dp-to-home-in-fdc
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/besigye-team-resolve-to-dissolve-fdc-party-4731256
- ↑ https://observer.ug/index.php/news/headlines/82261-fdc-katonga-moulds-into-people-s-front-for-freedom-party
- ↑ https://www.independent.co.ug/fdc-katonga-faction-reserves-new-political-party-name/