Essaza lyobukatuliki ely'eLugazi
Obusumba bw'Abakatuliki b'e Lugazi ( Latin </link> ) bulabirizi obusangibwa mu kibuga Lugazi mu bendobendo ly'ekkanisa mu Kampala mu Uganda .
Ebyafaayo
kyusa- Ogwekkuminogumu 30, 1996: lyatandikibwawo ng’essaza ly’e Lugazi okuva mu Ssaza ekkulu e Kampala .
Omusumba aliwo kati
kyusaChristopher Kakooza yazaalibwa mu ddwaaliro e Nsambya nga 15 Ogwekkuminogumu1952. Bazadde be baali babeera Lusaze mu ssaza lya ssabasajja Kyaddondo, mu Ssaza ly’e Kampala . Yatuuzibwa ku busaserodooti nga 3 Ogwomukaaga 1983 mu St Mbaaga’s Major Seminary, Ggaba, ng’omu ku kibiina kya baasooka mu seminaliyo eno era n’alondebwa omusumba omuyambi nga 30 Ogwoluberyeberye 1999. Okutuuzibwa kwe okw’obusumba kwaliwo nga 17 Ogwokkuna 1999 mu Lutikko e Rubaga. Yalondebwa ng’omusumba w’essaza ly’e Lugazi, nga 4 Ogwekkuminogumu 2014, nga yalondebwa Paapa Francis, n’adda mu bigere by’Omusumba Matthias Ssekamanya, eyawummula. Yatukuzibwa ng’omusumba w’essaza ly’e Lugazi ku Lwomukaaga nga 3 Ogwoluberyeberye 2015, nga yatukuzibwaCyprian Kizito Lwanga, Ssaabasumba wa Kampala. [1] [2]
Obukulembeze
kyusaLaba nabino
kyusa- Obukatoliki bwa Roma mu Uganda
- Mount Saint Mary's College Namagunga