Florence Nkurukenda (yazaalibwa mu mwaka gwa 1941) Munnayuganda omuyigiriza era yaliko mmemba wa Paalamenti. Yaweereza nga omubaka omukyala owa Disitulikitti ye Masindi ku kakiiko ka National Resistance (1989 - 1996) mu biseera ebyo bwe yalondebwa okuba omumyuuka wa Minisita wa Labour (1988) ne Local Government (1989 - 1991). Era ye yali omumyuuka wa ssentebe wa Uganda Interim Electoral Commission (1996) nakola mu kifi ky'ekimu Commission bwe yakakasibwa mu mwaka gwa 1997.

Ebimukwatako n'emisomo kyusa

Nkurukenda yazaalibwa Kabale, Uganda.[1] Alina diguli ya Bachelor of Arts in Fine Art, nga kwogaase ne Dipulooma mu by'Enjigiriza.[1]

Emirimu kyusa

Eby'obufuzi kyusa

Nkurukenda yesimbawo mu kulonda kwa 1989 Ugandan general elections okufuuka omukyala akiikirira Disitulikitti ye Masindi mu eyali National Resistance Council.[2] Wakati wa 1989 ne 1991, yaweereza nga omumyuuka wa Minisita wa Local Government wamu ne Stephen Chebrot.[3] Emabega ko yakola ng'Omumyuuka wa Minisita wa Labour (1988).[4]

Eby'obufuzi nga biwedde kyusa

Wamu ne Syda Bbumba ne Florence Ssekagya, Nkurukenda yali omu ku bakyaala abassattu abaali ku Uganda's interim Electoral Commission eyattegeka akalulu ka besimbawo ku bwa Pulezidenti aka 1996 Ugandan Presidential n'aka Parliamentary Elections.[5][6] Mu Gwekumi 1996 Electoral Commission bwe yakakasibwa, yalondebbwa okuweereza ng'Omumyuuka wa Ssentebe wa Uganda's Electoral Commission.[7] Yamyuuka Aziz Kasujja naye wamu ne ba commissioner abalala battaano ne ba wumula nga 31 Ogwomusanvu 2002 "ku mateeka ga Gavumentti"[5]

Oluvanyuma yaweebwa omulimu okusomesa abakungu b'ebyokulona abe Nigerian wansi wa International Foundation for Election Systems[5]

Laba ne kyusa

Ebijuliziddwa kyusa

  1. 1.0 1.1 https://en.wikipedia.org/wiki/ISBN_(identifier)
  2. http://www.nzdl.org/cgi-bin/library?e=d-00000-00---off-0unescoen--00-0----0-10-0---0---0direct-10---4-------0-1l--11-en-50---20-help---00-0-1-00-0--4----0-0-11-10-0utfZz-8-10&cl=CL1.11&d=HASH01498f0cfd994ddfe10f20e4.15&x=1
  3. http://umispace.umi.ac.ug/bitstream/handle/20.500.12305/869/Hansards%20%20THIRD%20MEETING-%20FOURTH%20SESSION%20WEDNESDAY%2020%20MARCH%201991%20NATIONAL%20ASSEMBLY%2020%20FEBRUARY%20TO%2021%20MARCH%201991%2020-02-21-03-1991.pdf?sequence=1&isAllowed=y
  4. http://www.nzdl.org/cgi-bin/library?e=d-00000-00---off-0unescoen--00-0----0-10-0---0---0direct-10---4-------0-0l--11-en-50---20-help---00-0-1-00-0--4----0-0-11-10-0utfZz-8-00&a=d&cl=CL1.11&d=HASHd523166d749aac96e1efaa.11
  5. 5.0 5.1 5.2 https://www.newvision.co.ug/articledetails/1046951 Cite error: Invalid <ref> tag; name ":1" defined multiple times with different content
  6. https://www.worldcat.org/oclc/35586919
  7. https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/the-four-men-who-have-handled-polls-since-1996-3399024