Gilbert Balibaseka Bukenya munnabyabufuzi era musawo wa Uganda eyaliko omumyuka wa pulezidenti wa Uganda owomusanvu okuva 23 May 2003 okutuuka 23 May 2011. [1] Akiikiridde ekitundu kya Busiro County North mu [./Https://en.wikipedia.org/wiki/Parliament_of_Uganda Palamenti ya Uganda] okuva mu 1996.[2] Ekitabo kye eky'obulamu bwe, Intricate Corridors to Power, kyafulumizibwa mu 2008.[3]

Bukenya Balibaseka Gilbert.jpg

Ebyeemabega

kyusa

[./Https://en.wikipedia.org/wiki/Brothers_of_Christian_Instruction Gilbert] Bukenya yazaalibwa nga 5 August 1949, ku kyalo Lwantama mu Kakiri sub-county, mu Busiro County, mu Disitulikiti ya Wakiso ya leero,[4] nga 30 kilometres (19 mi), ku luguudo, mu bukiikakkono bw'amaserengeta ga Kampala, ekibuga ekikulu ekya Uganda era ekibuga ekisinga obunene.

Okusoma

kyusa

Yasomesebwa ekibiina kya [./Https://en.wikipedia.org/wiki/Brothers_of_Christian_Instruction Brothers of Christian Instruction] order mu Uganda. Emisomo gye egisooka yagifunila ku St. Savio Primary School, Kisubi, [./Https://en.wikipedia.org/wiki/St._Mary's_College_Kisubi St. Mary's College Kisubi],

St. Edward Secondary School, Bukuumi ne [./Https://en.wikipedia.org/wiki/Old_Kampala Old Kampala] Secondary School.

[./Https://en.wikipedia.org/wiki/Royal_Institute_of_Public_Health Oluvannyuma] yeegatta ku [./Https://en.wikipedia.org/wiki/Makerere_University_School_of_Medicine Makerere University School of Medicine] mu 1971, n’atikkirwa mu 1976 ne [./Https://en.wikipedia.org/wiki/Bachelor_of_Medicine_and_Bachelor_of_Surgery Bachelor of Medicine and Bachelor of Surgery] ([./Https://en.wikipedia.org/wiki/MBChB MBChB]). Yakola nga Medical ofiisa mu ddwaaliro e Mbale okutuusa mu 1982 lwe yava mu Uganda n'agenda e [./Https://en.wikipedia.org/wiki/Papua_New_Guinea Papua New Guinea] .

Bwe yali ebweru wa Uganda, yafuna [./Https://en.wikipedia.org/wiki/Public_health Dipuloma mu by’obulamu] okuva mu [./Https://en.wikipedia.org/wiki/Royal_Institute_of_Public_Health Royal Institute of Public Health], e London, mu 1982. Era yafuna diguli za Master of Science (MSc) okuva London School of Hygiene and Tropical Medicine UK, ne Doctor of Philosophy (PhD) okuva mu [./Https://en.wikipedia.org/wiki/University_of_Queensland University of Queensland], ng’alina thesis topic of The Epidemiology of Under-Five Ekiddukano ky’abaana mu bantu abaliraanye ebibuga mu Papua New Guinea.[5]

Gilbert Bukenya yakomawo mu Uganda nga Pulofeesa w’obusawo era n’alondebwa [./Https://en.wikipedia.org/wiki/Dean_(education) okukulira] [./Https://en.wikipedia.org/wiki/Makerere_University_School_of_Medicine essomero ly’obusawo erya Makerere Yuniversite], ekifo kye yalimu okuva 1994 okutuuka 1996. Mu 1996 yayingira ebyobufuzi era n’alondebwa okuba omubaka wa Palamenti (MP) mu kitundu ky’e Busiro North. Era yawereza nga ssentebe w’ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) mu palamenti. Mu kiseera kino asiimibwa olw’okusobola okukkakkanya obunkenke obwali bufumbiddwa wakati wa Pulezidenti Yoweri Museveni n’abakulembeze abalala ab’ebyafaayo mu kibiina kya NRM ekiri mu buyinza. Yali ssentebe wa NRM mu kitundu kya Buganda . Oluvannyuma Bukenya yafuuka Minisita w’eggwanga ow’ebyobusuubuzi n’amakolero (Minister of State for Trade and Industry) nga tannasitulwa ku kifo kya Minisita w’Obwapulezidenti. Yafuuka omumyuka wa Pulezidenti mu 2003 ng’adda mu bigere bya Specioza Kazibwe, mu kiseera ekyo eyali alwanagana n’obufumbo obwali bulemye. Oluvannyuma yeesimbawo ku kifo ky'omuwandiisi w'ekibiina kya NRM n'awangulwa Amama Mbabazi. Mu May 2011, yasikizibwa Edward Ssekandi ku bwamyuka wa Pulezidenti wa Uganda .

Mufumbo eri Dr. Margaret Bukenya eyali muyizi munne mu [./Https://en.wikipedia.org/wiki/Makerere_University_School_of_Medicine ssomero ly’abasawo e Makerere] ku ntandikwa y’emyaka gya 1970. Ono mmemba [./Https://en.wikipedia.org/wiki/Catholic_Church w'Eklezia Katolika]. Mu 2005 Dr. Bukenya yeewuunyisa abatunuulizi b’ebyobufuzi bwe yalumiriza nti gavumenti efugibwa akabinja ka bamafia. Mu mboozi ey’akafubo ne [./Https://en.wikipedia.org/wiki/Daily_Monitor Daily Monitor], yategeeza nti bamafia baali mulukwe lw’okumusuula. Kino kyava ku buganzi bwe obweyongera buli kiseera n’okubeera okumpi n’Eklezia Katolika ey’amaanyi mu Uganda. Kigambibwa nti anyumirwa nnyo okuwuga n’okulima. Ono amanyiddwa olw’okutandika okulima [./Https://en.wikipedia.org/wiki/Upland_rice omuceere ogw’ensozi], era ogumanyiddwa nga NERICA mu Uganda.[6]

Ebikolwa ebifulumiziddwa

kyusa

Laba ne

kyusa

  Kabineeti ya Uganda Palamenti ya Uganda Gavumenti ya Uganda CHOGM 2007 Univasite ya St. Lawreence

Ebiwandiiko ebikozesebwa

kyusa
  1. Wanambwa, Richard (24 May 2011). "Museveni Sacks Bukenya As Vice President". Daily Monitor (Kampala). Archived from the original on 4 December 2013. Retrieved 20 February 2015.
  2. "Profile of Bukenya Balibaseka Gilbert, Member of Parliament for Busiiro County North, Wakiso District". Parliament of Uganda. 2011. Archived from the original on 9 August 2015. Retrieved 20 February 2015.{{cite web}}: CS1 maint: bot: original URL status unknown (link)
  3. "VP Bukenya pens autobiography". Archived from the original on 25 February 2015. Retrieved 25 February 2015.
  4. "Uganda's Vice Presidents over the years: Gilbert Bukenya". New Vision (in Lungereza). Retrieved 2023-01-28.
  5. "Completed Thesis Topics for Studies in Public Health at the University of Queensland: 1971 – 2007" (PDF). University of Queensland, School of Public Health. Archived from the original (PDF) on 20 February 2015. Retrieved 20 February 2015.
  6. Nakaweesi, Dorothy (20 February 2013). "I Promote Farming To Get People Out of Poverty; Gilbert Bukenya". Daily Monitor (Kampala). Retrieved 20 February 2015.

Ebiyungo eby’ebweru

kyusa

Template:S-start Template:S-off Template:Succession box Template:S-end