Giuseppe Filippi
Giuseppe Filippi (yazaalibwa 17 Ogwokussatu 1945) ye musaserodooti w'Abakatuliki Omuyitale eyaweereza ng'Omusumba w'essaza ly'e Kotido, okuva nga 17 Ogwomunana 2009 okutuuka nga 25 Ogwekkumi 2022. [1] Yalondebwa okuba Apostolic Administrator w'essaza ly'e Kotido nga 25 Ogwekkumi 2022. [2]
Ensibuko n’obusaserdooti
kyusaFilippi yazaalibwa nga 17 Ogwokusssatu 1945 mu Baselga del Bondone, mu munisipaali ya Trento, Italy, mu kiseera ky'obufuzi bwa Italian Social Republic . Nga 28 Ogwokkuna 1977, yakola ebirayiro nga mmemba w’ekibiina kya Comboni Missionaries of the Heart of Jesus (MCCI). Nga 26 January 1978, yatuuzibwa okuba omusaserodooti mu Lutikko ya San Vigilio, mu Ssaza ly’e Trento, nga yatuuzibwa Ssaabasumba Alessandro Maria Gottardi, Ssaabasumba wa Trento. [1]
Nga omusumba
kyusaFilippi yalondebwa okuba Omulasumba w’e Kotido nga 17 Ogwomunana 2009 era n’atukuzibwa ng’omusumbai nga 19 Ogwekkuminebiri eyaddako, yatukuzibwa Ssaabasumba Cyprian Kizito Lwanga, Ssaabasumba wa Kampala, ng’ayambibwako Ssaabasumba Denis Kiwanuka Lote, Ssaabasumba w’e Tororo n'omusumba Giuseppe Franzelli, MCCI, Omusumba w’e Lira . [1]
Omusumba Filippi yasikiddwa Omusumba Dominic Eibu, M.C.C.J. [3] [4]Template:S-start Template:Succession box Template:S-end
Ebijuliziddwa
kyusa- ↑ 1.0 1.1 1.2 http://www.catholic-hierarchy.org/bishop/bfilippig.html
- ↑ https://www.uecon.org/component/k2/item/153-announcement-of-the-new-bishop-of-kotid
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2022-10-25. Retrieved 2024-09-27.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://press.vatican.va/content/salastampa/en/bollettino/pubblico/2022/10/25/221025b.html