Islamic University in Uganda
Islamic University in Uganda oba Yunivasite y’Obusiraamu mu Uganda nga bwetera okuyitibwa mu Luganda yeemu ku yunivasite mu Uganda ezisomesa amasomo ku mutendera gwa satifikeeti, dipulooma, diguli esooka wamu ne diguli eyookubiri. Yunivasite eno erina amatabi ag'enjawulo okwetoloola Uganda era nga ettabi ekkulu lisangibwa mu kibuga Mbale Kiromita 222 mu bugwanjuba bw'ekibuga kya Uganda ekikulu Kampala. [1]
Ebyafaayo
kyusaEkirowoozo ky’okutandikawo IUIU kyalowoozebwako mu lukungaana olw'omulundi ogw'okubiri olw'ekibiina ki Organisation of the Islamic Conference (mu budde buno ekibiina kino kiyitibwa Organisation of Islamic Cooperation) olukiiko luno lwatuula mu mwaka 1974. Yunivasite eno yatandika mu butongole mu Gwokubiri 1988 ng’erina abayizi 80.
Mu mwaka 1990, Paalimenti ya Uganda yayisa eteeka li The Islamic University in Uganda Act mu butongole eteeka lino lyalambika obuvunaanyizibwa era lyeryakkiriza Yunivasite eno okuddukanya emirimu mu Uganda Uganda.
Ekigendererwa ekikulu ekya yunivasite eno kusobozesa Abasiraamu mu mawanga agoogera olungereza mu maserengeta awamu n'obuvanjuba Afirika okusobola okufuna obuyigirize ku mutendera ogwawaggulu mu yunivasite. Yunivasite eno yadde nga eri ku musinji gwa busiraamu, abayizi ab'enzikiriza endala nabo bakkirizibwa okusomerayo. [2]
Amatabi yunivasite
kyusaIUIU erina amatabi ana (4) okwetoloola Uganda[3]
- Ettabi ekkulu erya yunivasite eno lisangibwa kiromita nga 2 okuva ku mu kibuga Mbale ku luguudo oluva e Mbale okudda e Soroti . Ku maapu ettabi erisangibwa mu kibuga Mbale lisangibwa ku nsegeka zino; 1°06'02.0"N, 34°10'25.0"E (Obusimba:1.100556; Obukiika:34.173611). [4]
- Mu kibuga Kampala yunivasite eno eri ku lusozi Kibuli, kiromita nga ssatu n'ekitundu(3.5) ng'ofulumye entabiro y'ebyobusubuuzi.
- IUIU era eyina ettabi mu kitundu ekiyitibwa Kabojja kiromitta nga 8 okuva mu masekatti ga kampala ng'odda mu bugwanjuba bwa Uganda. Ettabi lino lisomesa bayizi bakyala bokka. [5]
- Ettabi eddala lisangibwa mu kibuga Arua kiromita nga 400 okuva mu Kampala.
Eby'ensoma
kyusaYunivasite eno amatendekero ag'enjawulo era geegano:
- Faculty of Law (Lino lisomesa bannamateeka)
- Faculty of Health Sciences (Lisomesa masoma agakwatagana n'ebyobulamu)[6]
- Faculty of Science (Ttendekero lya bya Ssayansi)
- Faculty of Education (Ettendekero lyabasomesa)
- Faculty of Management Studies (Lisomesa nzirukanya ya mirimu)
- Faculty of Arts & Social Sciences (Lisomesa amasomo agakwatagana n'embeera z'abantu)
- Faculty of Islamic Studies & Arabic Language (Lisomesa masoma ag'ekuusa ku ddiini y'Obusiraamu n'olulimi oluwalabu)
- Agribusiness and Natural Resource Science (Byabulimi)[7]
Abayizi
kyusaOkuva yunivasite eno lweyatandikibwawo yakattikira abayizi 27,000 abasoma amasoma agenjwawulo era nga mu budde buno yunivasite eno erina abayizi eyina abayizi 10,000 nga bano bava mu mawanga 21 okwetoloola Ensi yonna. [8]
Yunivasite eno yettanirwa abayizi ab'enjawulo okuva mu mawanga g'obuvanjuba bwa Afirika nga Mali, Gambia, Nigeria, mu bbo asinga okumanyika nga yasomerako ku IUIU ye Alieu K. Jammeh eyaliko Minisita w’emizannyo e Gambia ku mulembe gwa Yahya Jammeh.
Abatutumufu abaasomera ku IUIU
kyusa- Acaye Kerunen (B.S 2009) [9]
- Faridah Nakazibwe, munnamawulire
- Magezi Masha, Omukugu mu by’okukozesa kompyuta [10]
Laba ne
kyusaEbiwandiiko ebikozeddwa
kyusa- ↑ http://distancecalculator.globefeed.com/Uganda_Distance_Result.asp?fromplace=Kampala()&toplace=Mbale_(Mbale)&fromlat=0.3155556&tolat=1.0644444&fromlng=32.5655556&tolng=34.1794444
- ↑ http://www.eastchance.com/uni.asp?id=8036
- ↑ Talemwa, Moses (1 August 2011). "IUIU Increases Student Intake". The Observer (Uganda). Archived from the original on 25 December 2014. Retrieved 25 December 2014.
- ↑ https://www.google.com/maps/place/1%C2%B006'02.0%22N+34%C2%B010'25.0%22E/@1.1000039,34.1764263,1282m/data=!3m1!1e3!4m5!3m4!1s0x0:0x0!8m2!3d1.1005556!4d34.1736111
- ↑ Nankinga, Mary (8 May 2011). "Isinina Is President At IUIU Kabojja". The Observer (Uganda). Archived from the original on 25 December 2014. Retrieved 25 December 2014.
- ↑ Esther Nakkazi (24 August 2013). "Health Faculty to Open In Uganda's Islamic University". OnIslam.net. Retrieved 25 December 2014.
- ↑ https://www.iuiu.ac.ug/faculty.php?i=09&n=agribusiness-and-natural-resource-science
- ↑ https://www.iuiu.ac.ug/about-iuiu.php?i=20&a=iuiu-at-a-glance
- ↑ Kayem, Matt (2021-10-06). "Pamela Elizabeth Acaye Kerunen". AFRICANAH.ORG (in American English). Retrieved 2023-09-23.
- ↑ https://iuiu.ac.ug/staff.php?i=IU10105