Ismael Mario Zambada García (yazaalibwa 1 January 1948) olumu ayitibwa El Mayo ssaabayaga, asibuka mu ggwanga lya Mexico era y'omu kubatandikawo era n'okulembera akabinja kabayaga aka Sinaloa Cartel, kano kabinja akeetaba obutereevu mu bumenyi bwamateeka mu ngeri enteketeeke nga emirimu kajikolera mu ssaza ly'e Sinaloa mu Mexico. Zambadanga tanafuuka mukulembeze wakuntikko kigambibwa nti yaweereza nga avunaanyizibwa ku ntambuza y'emirimu mu kabinja kano akeetabanga obutereevu mu kukusa enjaga nebiragalalagala ebirala ngacocaine(soma Kokeyi) ne heroin okubituusa e Chicago ne mu bibuga ebirala ebya Amerika nga bakozesa ennyonyi, obwato bu lubbira obutonotono, emmeeri ezeetikka ebyamaguzi, amaato agawenyuuka obuweewo(gatera okuyitibwa sipiidi boat), amaato agakozesebwa mu kuvuba, bbaasi, eggaali z'omukka ennongoosemu, motoka zi lukululana, n'entambula endala .

Nga tannakwatibwa mu gw'omusanvu 2024 Zambada yali taggalirwangako mu nkomyo wantu wonna era ye Ssaabayaga yekka ku lukalala lw’abayaga aba Mexico 37 abanoonyezebwa eyali akyasigadde nga alya butaala. 'El Mayo' yakwatibwa mu kibuga El Paso, e Texas, mu Amerika era okukwatibwa kwe kwalangirirwa nga 25 Ogw'omusanvu 2024.

Omukululo gwe

kyusa

Zambada yasooka kuzimba nkolagana nakabinja ka Juárez Cartel wamu ne famire yabayaga endala eya Carrillo Fuentes, wadde nga era mu kiseera kyekimu yali ayina enkolagana ezize ng'omuntu nabantunzi b'enjaga abasibuka mu gwanga lya Columbia [1]

Mu mwaka 1989 ssaabayaga omuMexico Miguel Ángel Félix Gallardo bwe yakwatibwa era naggalirwa akabinja k'abaayaga keyali akulira kasattulukuka era nekavamu ebiwanyi bibiri ebyetongodde okwali Tijuana Cartel nga akabinja kano kakulemberwa abo abalina oluganda n'omukwate Gallardo ate kko akabinja ak'okubiri akameeruka nekatuumibwa Sinaloa Cartel era nga muntandikwa yaako kakulirwanga abayaga basatu; Héctor Luis Palma Salazar, Ismael Zambada García ne Joaquín Guzmán Loera ( El Chapo ) . Akabinja kano aka Sinaloa Cartel emirimu gyako kasinga kujikolera mu masaz nga Sinaloa, Durango, Chihuahua, Sonora, Nuevo León, ne Nayarit.

Okuviira ddala mu 1998, Zambada yali awenjezebwa ofiisi ya ssaabawolereza wa gavumenti mu Mexico, era ofiisi eno n'emuteekako n'omutemwa gwa bukadde 2 n'emitwalo 80 mu ddoola za Amerika eri omuntu ayambako okuwa amawulire agayambako mu kukwata ye, wamu nabakulembeze abalala mu Juárez Cartel.

Mu 2006, gavumenti ya Pulezidenti Felipe Calderón yatandika okukola ennumba ezenjawulo n'ekigendererwa eky'okusanyawo obukundi bwabakukusa ebiragalalagala. Ekibiinj kya Tijuana Cartel, nga mu budde obwo kyekyali ekibinja ekisinga obunene era ekisinga okuba ekinene wamu namanyi mu Mexico kyakosebwa nnyo olwentekateeka eno. Ismael Zambada ne Joaquín Guzmán bakozesa omukisa gwa Tijuana Cartel okuba nga bali mu kwezooba ne gavumenti okutandika okwezza awamu n'okwefunza ebitundu mu bukiikakkono bw’amaserengeta ga Mexico nga baagala babeere nga bebafuga bizineesi y'okutambuza ebiragalalagala mu bintundu ebyo enkintu ekyavaako olutalo kakuuse. </link>[ <span title="This claim needs references to reliable sources. (August 2022)">okujuliza kwetaagisa</span> ]

Ekibinja kya Zambada ki Sinaloa Cartel, kyasaasanya nga enjaga eziri ttani ne ttani era nga okusinga eno bajisuubulanga mu gwanga lya Colombia nebajisasaanya nga bakozesa amakubo ag'okumazzi. Nga ojeeko amakubo agokumazzi akabinja kano era kakozesanga entambula endala omuli ennyonyi, loole, mmotoka, amaato, n’emikweesese egiyita mu ttaka okusobola okutuusa cocaine ono mu Amerika era nga eno okusinga bali bamutunda mu bintu omuli Arizona, Atlanta, California, Illinois ne New York . Zambada nga tannakwatibwa emirimu okusinga abadde a ajikolera mu masaza ga Sinaloa ne Durango, Cancún, Quintana Roo, Sonora, ne Nuevo León . nga era obuyinza ku kitundu eky'olubalama lw’eriyanja Pacific mu Mexico buli mu mikono gye.

 
Ekipande ekiraga nti Zambada awenjezebwa ekyafulumizibwa mu myaka gya 2000

Mu 2007, Zambada yafulumira ku lupapula lwa America’s Most Wanted,nga kuno kubeerako abantu abo Amerika beyeetaaga ennyo era beewenja obuseenene mungeri yeemu ekitongole kya Amerika ekivunaanyizibwa ku kunoonyereza ki FBI kyamusaako kantanyi waobukadde bwa ddoola za Amerika butaano eri omuntu yennna ayinza okuwa amawulire agakituusa ku kukwata Zambada.

Mu 2011, ebigambo byabuungeesebwa nti Zambadda yali alongooseddwa n'ekigendererwa ekyokukyuusa obwenyi bwe(feesi) okusobola okutambula n'okwetaaya mu Mexico yonna. Zambada yakulembera ekibiina kya Sinaloa Cartel ng'akolagana ne Joaquín "El Chapo" Guzmán okutuusiza ddala mu 2016, El Chapo lwe yakwatibwa ab'obuyinza era naggalirwa mu Amerika era okuva olwo kirowoozebwa nti Zambada yakwata obuduumizi obujjuvu mu kibinja kya Sinaloa Cartel era nga ye ssaabayaga asinga okuwangaala era n'obuyinza mu Mexico.

Mu 2019 mutabani we, Vicente Zambada Niebla, yawa obujulizi ku ssaabayaga Joaquín Guzmán Loera era n'anyonyola kooti engeri gyebatambuzanga awamu n'okusasaanya ttani z'ebiragalalagala. ono era yawuniikiriza kooti bweyategeeza "nti embalirira ya kitaawe ey'enguzi yateranga kuba ya kakadde ka ddoola za Amerika 1 buli mwezi, era nga okusinga eno bajigabiranga abakungu ba gavumenti ku madaala agawaggulu mu Mexico."

Okukwatibwa

kyusa

Nga 25 Ogw'omusanvu 2024, Zambada ne Joaquín Guzmán López, mutabani wa El Chapo (Joaquín Guzmán Loera), baakwatibwa mu Amerika era Kigambibwa nti baakwatibwa ku kisaawe ky’ennyonyi eky’obwannannyini mu kibuga El Paso mu ssaza ly’e Texas, wadde nga era waliwo n'ebigambibwa nti bakwatibwa ku kisaawe ky’ennyonyi ekya Santa Teresa International Airport mu New Mexico. Kigambibwa nti Zambada okutuuka okukwatibwa yasendebwasendebwa era naawuddisibwa Guzmán López nga amudyeesedyeese nti bagenda kulambula ebifo byebali bagenda okugula ekiwenda okukakkana nga kukwatibwa kwabwe bombi. oluvanyuma lwokukwatibwa bombi baggalirwa era bakuwozesebwa mu Amerika.

Zambada musajja mufumbo era mukyala we ye Rosario Niebla Cardoza. Alina abaana bana ab’obulenzi n’abawala bana. Mukyala we ne batabani be abenjawulo bazze bakwatibwa enfunda eziwera era Serafín Zambada Ortiz (amanyiddwa nga "el Sera") yakwatibwamu 2018 wabula n'ayimbulwa, ye Ismael Zambada Imperial (amanyiddwa nga "el Mayito gordo",) emisango egyali gimuvunanwa gyamukka mu vvi, bawala be abana, María Teresa, Midiam Patricia, Mónica del Rosario, ne Modesta, bakoze kinene mu kusasaanya n'okwenyigira mu buguzi bweebiragalalagala awamu n’okukukusa ssente . Nga 18 March 2009, mutabani we Vicente Zambada Niebla yakwatibwa amagye ga Mexico. Mutabani we omulala, Ismael "Mayito" Zambada Jr. abadde anoonyezebwa olw'okwekobaana awamu n'okwenyigira mu kusasaanya ebiragalalagala mu Amerika.

Nga 20 October 2010, abamu ku booluganda lwe baakwatibwa mu kibuga Mexico City ku misango gy'okukukusa ebiragalalagala : kubano kwaliko Muganda wa Ismael Jesus Zambada eyamanyibwa ennyo nga "The King", wamu ne mutabani wa Ismael ne kizibwe we.

Nga 18 June 2014, mutabani we (awasa muwala we) nga ye Juan Gabriel González Ibarra, bba wa Midiam Patricia, yafa oluvannyuma lw’okukubwa amasannyalaze mu maka ge e Culiacán.

Mu June wa 2020, eyali omukozi wa ekitongoole ekivunaanyizibwa ku kulwanyisa okukusa ebiragalalagala, Mike Vigil yategeeza nti Zambada yali "mulwadde wa sukaali ."

Mu byamasanyu

kyusa

"Don Ismael", y'omu kubazanyi abalabikira mu katambi ka sineema aka El Chapo akafuluma era nekalagibwa ku ntimbe za TV mu mwaka 2017. "Don Ismael" yagendereramu kulaga mukululo gwa Zambada

soma ne kubino wammanga

kyusa

 

  • Olukalala lw'abayigibwa ab'obuyinza abatakubikako kya mulubaale
  • Olukalala lw’abayaga 37 abasinga okwetaagibwa mu Mexico
  • Enteekateeka nnamutaayiika ey'okulwanyisa okukusa ebiragalalagala
  • Olutalo kubiragalalagala mu Mexico
  • Olutalo ku biragalalagala

Ebiwandiiko ebikozeseddwa

kyusa

Template:Mexican Drug War

  1. {{cite web}}: Empty citation (help)