Jaberi Bidandi Ssali
Jaberi Bidandi Ssali, abanji basinga kumamanya nga Bidandi Ssali (yazaalibwa 1937), munna Uganda omutandisi w'ekibiina kyeby'obufuzi ki People's Progressive Party mu mwaka 2011 yadde nga ekibiina kino kyava mu kibiina ekayitibwanga National Progresive Movement ekyatandikibwa ku ntandikwa y'emyaka gya 2000 eyaliko omumyuka wa ssenkulu wa ssetendekero Makerere Venacius Baryamureeba. [1] Bidandi nga tannatandika kibiina kino kyeyakozesa okwesimbawo ku bukulembeze bwa Uganda mu mwaka 2011 yali akoze mu gavumenti ez'enjawulo mu bifo ebyenjawulo omuli n'okuba minisita wa gavumenti ez'ebitundu mu gavumenti ya Yoweri Museveni wakati wa 1989 okutuuka 2004.[2] Okuleka okubeera munnabyabufuzi, Bidandi Ssali era musuubuzi, era nga munnabyamizannyo naddala mu mupiira ogw'ebigere gyeyamannyika ennyo nga omutendesi mu myaka gy'ensanvu ne kinaana mu tiimu zeyatendeka mwemuli kiraabu ya KCCA FC wamu ne ttiimu ya Uganda the Cranes.
Ensibuko n’obuyigirize
kyusaBidandi yazaalibwa mu Disitulikiti y'e Butambala, mu Buganda nga 17 ogw'omusanvu 1937 bazadde be ye mwami Bumaali Kakonge Matembe ne Nalongo Eriosi Bulyaba.Pulayimale yajisomera Luggala ne Budde oluvannyuma neyeyoongerayo e Kibuli ne Nyakasura okusoma omutendera gwa siniya. Oluvannyuma yasomerako e Pakistan .[3] Ono era oluvannyuma lw'okunnyuka eby'obufuzi yasoma era natikkirwa ddigula mu byenzirukanya ya gavumenti ez'ebitundu awamu neddembe ly'obuntu okuva ku ssettendekero Uganda Martyrs [4]
Omulimu
kyusa- ↑ https://observer.ug/news/headlines/69905-santa-okot-embodies-ppp-s-long-walk-to-parliament
- ↑ https://www.newvision.co.ug/news/1510079/legends-jaberi-bidandi-sali#google_vignette
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/i-have-no-problem-with-my-son-bebe-cool-supporting-museveni-bidandi-ssali-1793364
- ↑ https://www.newvision.co.ug/news/1278875/bidandi-nambooze-graduate-nlozi