Jackie Chandiru munayuagnda omuyimbi ng'asinga okumannyikwa olw'erinya lya "Queen Of The Nile".[1] Yeeyali akulembera mu kibiina ky'abawala eky'abayimbi kyebaali bayita Blu*3, ekyasinziira nga mu Kampala, ekibuga kya Uganda ekikulu era ekisinga obunene. Mu 2014, yali omu kubayimbi abaali mu mpaka za "Coke Studio Africa".[2]

Jackie Chandiru

Obulamu bwe

kyusa

Jackie yazaalibwa mu ddwaliro ly'e Nsambya, nga 13 Ogwomwenda mu 1984, nga taata we ye Felix Eyaa ne Josephine Eyaa. Obujjajja bwa taata we budirayo ddayo mu kyalo kya Kijomoro ensangi zino gyebayita disitulikiti ya Maracha. Maama we Josephine Eyaa Muganda okuva mu Buganda. Mukyala Josephine yamala emyaka 20 mu London, ekya Bungereza. (Byawandikibwa aba Bryan Morel Publications)

Obuyigirizr bwe

kyusa

Jackie Chandiru yasomera ku Lugogo Nursery School ne Nakasero Primary School fku misomo gye egitandikibwako. Yasomera ku Nabisunsa Girls' Secondary School gyeyatuulira siniya ey'okuna ne Vienna Collage International, ery'obwa nnanyini, esomero ly'ekisulo mu munisipaali y'e Kira. Yasoma byakusiiga nakubajja bifanannyi ku yunivasite y'e Makerere, gyeyatikirwa ne Diguli mu by'okusiiga ebifanannyi n'okubibajja.

Bweyali akyali mu pulayimale, Chandiru yali yeenyigira mu mizannyo ng'okuduka emisinde wa misinde, okukwata ggoolo n'okubeera kapiteeni wa ttiimu y'esomero ey'omupiira. Bweyali ku Nabisunsa, yeeyali pulezidenti w'ekibiina ekidukanya emizannyo gy'okusiteegi, ssaako n'okubeera memba wa ttiimu y'esomero ey'abali wansi we'myaka 16.

Emirimu gye

kyusa

Mu 2002, ku myaka 18, Jackie Chandiru yeegata mu mpaka z'okuyimba eza 'Coca-Cola Pop Star' mungeri y'okwekyusa mundowooza. Yali takisuubira bweyaangula empaka zino nga ne Lilian Mbabazi wamu ne Cindy Sanyu. Jackie Chandiru yalina ebiwandiike by'oluyimba oluyitibwa Hitajji' ne Bad Gal bweyali akyali ku yunivasite. Abasatu bano baatandikawo ekibiina ky'abayimbi nga bali basatu kyebayita Blu*3.[3] Yafuna obuwanguzi ng'ali n'ekibiina kino webaawangula eky'abayimbi abaasinga oba ekibiina okuva mu Uganda ne vidiyo y'oluyimba okuva mu Uganda mu mpaka za 2005 eza Kisima Music Awards, vidiyo y'omwaka ey'oluyimba oluyitibwa "Hitaji" muza 2005 eza Pearl of Africa Music Awards.[4] Mu 2007, yawangula mu mutendera gwa vidiyo y'omwaka n'oluyimba lwa "Burrn" mu z'omwaka ogwo eza Pearl of Africa Music Awards. Mu 2005, Blue*3 yalondebwa ku ky'ekibiina ekyali kisinga mu buvanjuba bwa Afrika mu 2005 mu bikujuko bwa Kora Awards.[5] Olutambi olwai lusinga mu buvanjuba bwa Afrika olwa Hitaji' mu 2005 mu bikujuko bya Tanzania Music Awards. IMu 2006, Blue*3 yalondebwa ku kya vidiyo ya 'Frisky' eyasinga mu buvanjuba bwa Afrika mu 2006. Mu 2009, baalondebwa ku okubeera ekibinja ekyali kisinze ssaako nekyasinga okusanyusa abantu mu z'omwaka ogwo eza 2009 eza MTV Africa Music Awards n'okubeera n'oluyimba olwali lusinga mu buvanjuba bwa Afrika olwa Where You Are nga bali ne Radio & Weasel mu 2010 mu Tanzania music awards.[6]

Mu 2008, oluvannyuma lw'emyaka etaano egy'okukola bonna, omu kubakitandikawo Blu*3, Cinderella Sanyu, yakyabulira nga tewali yalia akisuubira, okutongoza emirimu gye ng'ali yekka. Ababiri abaatandika ekibiina kino abaasigala, Jackie Chandiru ne Lilian Mbabazi, baafunayo omuyimbi omupya, Mya Baganda, nebakyusa n'erinya ly'ekibiina okukiyita Blu 3 nga temuli kabonero.[7]

Mu 2010 Jackie yatandika emirimu gy'okuyimba yekka. Mu masekati ga 2010, Jackie yafulumya oluyimba lwe olusooka lwebayita "Agassi" nga lwali mu nimi bbiri olwali olulugwaala olulimi lwe olw'obujaja n'oluzungu. Oluyimba luno lwaufunyisa okumannyikwa ng'eyali ayimba obw'omu n'afuna ne awaadi olw'oluyimba ekika kya RnB olwai lusinga mu bikujjuko bya Diva Awards. Yawangula n'engule y'okubeera vidiyo y'omwaka mu bikujuko bya Pearl of Africa Music Awards mu 2011.[8] Yafulumya ennyimba ezaakwata abantu omubabiro ezaali ziwerako okwali "Gwoyagala", "Overdose", "For all time", "Bakusigula", "'Don't Call His Phone", "Gold Digger"[9] ne "Agassi". Akoze ennyimba ne "Sami" Ezra okuva mu Eritrea, Jose Chameleon n'akuba ennyimba z'okufubutuka ebigambo Navio, "Urban Boys ". Yafulumya olutambi lwe olwasooka lwebayita "To Live or Die" imu 2010 nga kuliko ennyimba mu lulugwaala n'oluzungu .[10]

Mu 2014, Ogwekum, Jackie Chandiru yayimbira ku bikujuko bwa Pearl Rhythm Festival ekyali ku Uganda National Theatre n'abayimbi abala abaayimba obutereevu, aba Magic Horns, Caesar Kajura n'aba cith blend band, Undercover Brothers Ug, Arpeggio, Charles Obina ne Matata, Kabwondera Junior Raymond Parwot ne Watmon Troupe.

Nga 17 Ogwokuna mu 2015, Jackie Chandiru yalabibwako webaali batongoza vidiyo y'oluyimba lwebayita 'Wotuuse' ku Club Ambiance mu Kampala nga bakwatidde wamu n'omukutu gwa NBS TV n'omwenge gwa Tusker Lite. Mu baaliwo, yali family ye Jackie, Bryan Morel (ow'eby'amawulire), Peter Naawe (eyawandiika oluyimba ), Director 1488 (eyakwata n'okuteekateeka vidiyo) ne revellers abaazinira ku luyimba luno bwelwali luyimbirwa butereevu ku siteegi Ikumabo, Irringwa, Gold Digger, For All Time (ng'ali ne Sami Ezra), Wotuuse, Bad Gal (fng'ali n'aba Blu*3) n'Omukwano.

Oluvannyuma lw'emyaka etaano gyeyamala nga tayimba , Jackie yatongoza okukomawo kwe, n'afulumya ennyimba bbiri okwali "Mi Ora Ku" ne "Whine It", ng'ali ne Jose Chameleon, ng'era akola bulungi okusinziira ku biwerezebwa aba Bryan Morel Publications okuva mu Nairobi ekya Kenya.[11]

Ekika ky'ennyimba

kyusa

Laba ebirala ebisinga ku nnyimba za Jackie Chandiru, entaambi, awaadi n'okulondebwa kwe ku Blu*3

Ennyimba  
Entaambi
  • Hitajji 2004
  • Burrn 2007
  • Be Free 2009
  • To Live and To die 2010

Awaadi n'okumusiima

kyusa
  • Vidiyo y'omwaka mu bukijuko bya Pearl of Africa Music Awards mu 2011 ey'oluyimba lwa Agassi.[8]
  • Oluyimba lw'ekika kya RnB olwa Agassi olwasinga mu bikujuko bya Diva awards

Ebijuliriziddwa

kyusa
  1. http://www.standardmedia.co.ke/entertainment/thenairobian/article/2000137621/uganda-s-jackie-chandiru-dating-kenyan-banker
  2. https://web.archive.org/web/20160306083016/http://www.hipipo.com/music/news/2378/Coke-Studio-Africa-Season-2-Launched
  3. https://web.archive.org/web/20150227211350/http://www.newvision.co.ug/D/9/233/736452
  4. https://web.archive.org/web/20070702053829/http://pamawards.com/pages/2005.php
  5. https://web.archive.org/web/20061113084534/http://www.koraawards.co.za/english/musicawards_finalists.asp
  6. https://web.archive.org/web/20140109105412/http://www.musicuganda.com/Blu%203.html
  7. http://ugandaradionetwork.com/a/story.php?s=20357
  8. 8.0 8.1 https://web.archive.org/web/20160509175112/http://www.hipipo.com/music/news/1327/Pam-Awards-2011-Winners--Iryn-Namubiru-Takes-Artist-Of-The-Year
  9. https://www.bongoexclusive.net/2017/09/jackie-chandiru-gold-digger-mp3.html
  10. "Archive copy". Archived from the original on 2016-03-04. Retrieved 2022-12-03.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  11. "Archive copy". Archived from the original on 2016-03-04. Retrieved 2022-12-03.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)

Ewalala w'oyinza okubijja

kyusa