Jane Nabulindo Kwoba (yazaalibbwa nga 3 Ogwomukaaga mu 1976) Munnayuganda ow'ebyobufuzi, omusomesa era omukozi w'amateeka. Akiikirira abantu b'omu Disitulikitti y'e Busia nga omubaka omukyaala mu Paalamenti ya Uganda.[1][2] Ye mmemba wa Paalamenti ayimilidde ku lulwe, yayingira mu Paalamenti nga amaliriza okuwangula eyali minisita w'ensonga ze karamoja ne mmemba wa [./Https://en.wikipedia.org/wiki/National_Resistance_Movement National Resistance Movement] Barbara Nekesa Oundo kati aweereza nga ambassador eri south Africa.[3][4][5] Yawangulwa Hellen Auma Wandera mu kulonda kwomu Paalamenti okwa 2021-2026.[6]

Emisomo

kyusa

Jane yatandika emisomo gya pulayimale okuva mu Elgon view primary school eyo jye yatuulira ebigezo bya primary leaving examinations(PLE) mu 1988, Oluvanyuma yayingira mu Masaba College okusoma emisomo gya O'level eyo gyeyafunira Uganda Certificate of Education (UCE) mu 1991. Oluvanyuma yegatta ku Makerere high school Greg centre eyo gye yatuulira Uganda Advanced Certificate of Education (UACE) mu 1995, bweyamaliriza ne yegatta ku National teachers college Nagongera eyo gye bamutikira ne dipulooma mu by'enjigiriza mu mwaka gwa 1997. Oluvanyuma yegatta ku Yunivasitte y'e Kyambogo eyo gyebamutikira ne diguli ye by'enjigiriza eya bachelor's degree of Arts in Education.[7]

Emirimu

kyusa

Jane yaweereza ng'omukenkufu w'ebyobulamu era yalina obuvunaanyizibwa ku bya sponsor donor relations ebya Compassion International okuva 2002 okutuusa 2012.[2]

Yali omubudaabuda wa HIV/AIDS owa amalgamated transport and general workers union (ATGWU) uganda okuva 2013 mu 2016.[2]

Yali omukulembeza wa ttiimu ya Eastern African sub-regional support initiative for the advancement of women – women and girls empowerment (EASSI-WOGE) okuva mu 2013 okutuusa mu 2016.[2]

Okuva mu 2016 okutuusa kati, Jane Nabulindo Kwoba abadde mmemba wa Paalamenti ya Uganda(ey'ekumi). Mu Paalamenti aweereza ku kakiiko aka HIV/AIDS n'edwaddw ezimufaanana.[2]

Mmemba wa professional bodies; Buwembe secondary school board of governors. ne Minisitule ya the Dorcus ministry.[2]

Jane era mmemba wa Uganda Women Parliamentary Association (UWOPA).[8]

Alwanilridde obwenkanya n'okusasulibwa okutegeerekeka okwa famire mu bitundu bye eby'akosebwa puloojekitti eyateekebwaawo aba China eya proposed gold refinery project.[9][10]

Ebijuliziddwa

kyusa
  1. https://web.archive.org/web/20211130130626/http://parliamentofuganda.nwtdemos.com/find-an-mp
  2. 2.0 2.1 2.2 2.3 2.4 2.5 https://www.parliament.go.ug/mp_database/profile.php?mid=337
  3. https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1417600/ministers-kicked-parliament
  4. https://www.monitor.co.ug/News/National/Minister-celebrates-fall----of-Cabinet-colleagues/688334-3267238-jarcjk/index.html
  5. "Archive copy". Archived from the original on 2022-10-15. Retrieved 2024-04-15.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  6. https://www.parliament.go.ug/
  7. https://en.wikipedia.org/wiki/Kyambogo_University
  8. https://web.archive.org/web/20210418030533/http://uwopa.or.ug/content/members-uwopa-10th-parliament
  9. https://www.monitor.co.ug/News/National/Busia-gold-refinery-hits-snag-over-compensation/688334-5143504-format-xhtml-6yhtmw/index.html
  10. https://ugandaradionetwork.net/story/minister-halts-compensation-of-gold-refinery-affected-residents