Jenifer Bamuturaki mukaala Munnayuganda ow'ebyabizinensi ne corporate executive, era ye chief executive officer wa Uganda Airlines, ekisaawe kya Uganda, okuva mu Gwomusanvu 2022.[1] Nga tafuuna kifo ekyo ye yali acting CEO.[2]

Uganda Entebbe Plane Landed

Ebimukwatako n'emisomo

kyusa

Bamuturaki Munnayuganda. Bwe yamaliriza emisomo gye egya pulayimale ne siniya, yayingiibwa mu Yunivasitte ye Makerere, Yunivasitte ya Gavumenti, esinga obukulu n'obunene mu Uganda, eyo gyebamutikira ne diguli ya Bachelor of Arts mu Social Work and Social Administration.[3] Alina n'obuyigirize mu by'okitunzi by'enyonyi okuva mu International Air Transport Association (IATA), n'obuyigirize mu byakitunzi bya woteeri n'okudukanya eby'emisolo.[4] Mu Gwomunaana 2022, yali asoma emisomo ejya diguli ya Master of Public Administration, okuva mu Yunivasitte ye Makerere.[5]

Emirimu

kyusa

Mu Gwokubiri 2019, Emirimu gya Bamuturaki gyali jyatandika emyaka 30 emabega. Yatandika nga relations officer omugenyi ku Kampala Sheraton Hotel. Emirimu egisinga gibadde mu by'akitunzi,mu bitongole by'okwaniriza n'obulambuzi.[4] Air Uganda eyali tekola bwe bagitandika mu mwaka gwa 2007, Bamuturaki yagyegatako era nakola mu dipaatimenti ye by'okutunda.[6]

Mu mwaka gwa 2019, Gavumenti bweyakyuusa Uganda Airlines, Bamuturaki yaweebwa omulimu nga commercial manager wa airline empya.[7] Naye, ekiseera ky'okugezesebwa bwe kyagwaako, tebaamuwa contract. Yava ku airline okukola ebya bizinensi bye ebirala mu biseera by'Ogwokussattu 2020.[2]

Nga ba board of directors ne ba senior management executives bamaze okugobwa n'okuyimilizibwa mu Gwokuna 2021,[8] ba shareholders badamu ne bayita Bamuturaki ne bamufuula acting CEO.[2][9]

Ebirala

kyusa

Nga alondebbwa nag CEO, afuuka CEO owamaanyi asooka ku airline era n'omukyala asooka mw'ekyo ekifo. Ephraim Bagenda ne Cornwell Muleya be baali bakola nga ba CEOs nga Bamuturaki tebanamufuula mukulu wa airline ye gwanga.[10]

Mu interview ku New Vision, nga bakamulonda nga CEO, yagyayo ebitundu bissattu, airline kwetadde esira ku nyingo enyimpi n'empavu. Omulimu ogusooka gw'akuteekawo self ground-handling ku Entebbe International Airport, nga Ogwomunaana 2022 tegunayitako. Omulimo Ogwokubiri gwakwongero ngendo za airline's A330-800 fleet. Engendo zebalowozaako mwe muli, Kinshasa, Lagos, Accra, Mumbai ne Khartoum. Omulimu ogwokussattu kwe kugezaako okukendeeza ku nsimbi zebakozesa okudukanya emirimu.[11]

Engule n'okusimibwa

kyusa

Nga 31 Ogwekumi 2022, Bamuturaki yaweebwa engule ya The 2022 Africa Travel and Tourism 100 Award, ku mukolo mu Lagos, Nigeria. Engule esiima abakyaala abasukulumye mu ntambula ya Afirika ne muby'okulambula (African travel and tourism sector). Yawangula abakyaala abalala 99 meduimi abaali mu lw'okaano lw'okuwangula engule.[12]

Laba ne

kyusa

Ebijuliziddwa

kyusa
  1. https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/uganda-airlines-gets-new-boss-3871320
  2. 2.0 2.1 2.2 {{cite web}}: Empty citation (help) Cite error: Invalid <ref> tag; name "2R" defined multiple times with different content
  3. https://www.ceo.co.ug/jenifer-bamuturaki-confirmed-new-ceo-for-uganda-airlines/
  4. 4.0 4.1 {{cite web}}: Empty citation (help) Cite error: Invalid <ref> tag; name "4R" defined multiple times with different content
  5. "Archive copy". Archived from the original on 2024-04-08. Retrieved 2024-04-08.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  6. https://airspace-africa.com/2021/12/17/jenifer-bamuturaki-ceo-uganda-airlines-discusses-network-fleet-and-strategic-plans/
  7. https://www.redpepper.co.ug/2022/07/why-museveni-appointed-jenifer-bamuturaki-new-uganda-airlines-ceo/
  8. https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/uganda-airlines-ceo-top-bosses-suspended-3384158
  9. "Archive copy". Archived from the original on 2024-04-08. Retrieved 2024-04-08.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  10. https://airspace-africa.com/2022/07/06/uganda-airlines-appoints-jenifer-bamuturaki-as-substantive-ceo-after-presidential-directive/
  11. https://www.newvision.co.ug/category/news/new-uganda-airlines-ceo-outlines-her-vision-f-137960
  12. https://www.newvision.co.ug/category/news/uganda-airlines-ceo-wins-africa-travel-and-to-146503

Ebijuliziddwa wa bweru wa Wikipediya

kyusa