Jens Galschiøt

(Oleetedwa wano okuva ku Jens Galschiot)

Jens Galschiøt, (yazaliwa 4 Juni 1954 ku kyalo Frederikssund,mu Denmark), musiizi wa bifanyanyi, era mubumbi wa bifananyi mu byuuma ebyanjawulo ,amanyikidwa ku mulimu gwe oguyitibwa Empagi Yobuswavu oba giyite Pillar Of Shame. Galschiøt yasenga e Odense mu 1973, ate omwaka 1985, nagulawo ekiffo wakorela emirimu gya ngakiwerako obwagagavu bwa square mita 2,000 kuno kwekuli foundry, studio, ekifo newalagira emilimu gye gallery Galschiøt ne sculpture park[1] Mwaka 1990, Galschiøt,Erik Mortensen ne Jean Voigt begata nebakola The Ringwearer's jacket,omulimu ogwawomwamu omutwe nabakyala wa Denmark Margaret II, Nabakyala wa Denmark |Nabakyala Margaret II Ku mazalibwa ge agemyaaka 50. Galschiøt Yali omukwabo abakola ku Seville Expo '92.

Jens Galschiøt, 2009

Omwaka 1997, yatwala ogumu kumirimu gye The Pillar Of Shame (Empagi Yo Buswavu) mu Hong Kong[2] Kino kyayongera okutangaza emikisa gye mingi era ebibumbe ebiala nga kino "The pillar Of Shame" byakolwa ne bitwalibwa e Mexico mu 1999.Ekyokusatu ne kitwalwa Brazil mumwaka 2000.

Omwaka 2008, Galschiøt yatandika kampeyiniThe Color Orange eno yali ekwata kukutyobola ddembe lya buntu mu China. Wano yamibwa olusa okuyingira mu Hong Kong,Gyeyali agenda okusiga"The Pillar Of Shame"(Empagi Yo Buswavu) rangi eyakakyungwa. [3]http://www.bloomberg.com

Birabo byakoze

kyusa

Jens Galschiøt Akoze ebirabo bingi era ebimu kubyo biwebwa abantu abanywede mu banabwe akakendo mu bintu ebyenjawulo, buli mwaka.Ebimu kubino byebino

wamanga:

The SHOWBIZ ya 1993. " A Mask Of Bronze". Ekirabo kino kigabwa mu mwaka omulundi gumu aba "Theatre Kolding"omuzanyi aba anywedde mu banne akendo mu kuzannya ekintu ekikwata ku byobuwangwa.

Wing."sculputure for the Phoenix Architectural competition" '"Fuction and Form 1991"',.

Hans Christian Andersen prize[4] Okuva mu mwaka 1996 Galschiot akola ekirabo kino ekyekitabo ekiyitibwa "The Adventures of my life" ekya Andersen.Era elinnya ly'omuwanguzi liwandikwako,ekirabo kino kyakawebwa abantu basattu,abayambye ennyo abagezi bengero nokuziwandika. Era mubanno mwemuli, Günter Grass omugyelimani era ngono muwandisi,Steven Spielberg omumerika ono ye muzannyi wa fitrimu ate nokugitekateka,mumwaka 2004 era ne kiwebwa Nabakyala wa Denmark Margaret II.


Fernando prize. Ekirabo kino kya kibina ekiyitibwa"Association of social politics". Okuva mu mwaka 1998 ekirabo kiwebwa omuntu anywede mubanne akendo mu kolera omulimu ogwetendo nu kibina ekyo.

The Solar Catcher. Ekirabo ya "Danish" ekyekitongole kya masanyalaze. 1998-2001 ekirabo kino kigabwa omulindi gumu buli mwaka ngakiwebwa Eggombolora eba esinze kuzine wazayo mukunonyeleza kumasanyalaze genjuba.


Project enkulu / ebibumbe mumitendera

kyusa

Jens Galschiøt munabyabufuzi era alwanirila eddemde lya banyigirizibwa nga ayita mu bibumbe. Era emirimu gye agikola ngagyesigamya ku kuwa abantu omukisa oba okubasomoza okukubaganya ebirowoozo ku bibumbe bye.Abiteka mubiffo mwebikwasiza abantu omubabiro, nga aweredwa olusa oba nedda .


The Pilllar Of Shame( Empagi yo buswavu)

kyusa

Empagi yo buswavu yalondebwa okuba ngakyekimu kubibumbe ebyalondebwa okuba kumukolo nga 4 Juni 1997 mu Hong Kong,nga 1 Julayi 1997,kye kyakozesebwanga akabonero agalaga okuwakanya omungereza okuwayo Hong Kong okufugibwa mu nfuga yo China. Okwekalakasa kuno kwa mu kibangirize ekiyitibwa "Tiananmen square" mumwaka 1998.Empagi yo buswavu eno ewerako obuwanvu bwa miita munaana era eriko ebifanannyi byabantu nga bewesewese.[5][6]


Mexico

kyusa

Nga 1 Mayi 1999,Empagi yo buswavu yasibwa mu Mexico City. Enakku bbiri nga yesibye kukizimbe ekikulu ekyegwanga omutesezebwaamateeka "parliament" okuwakanya okunyigirizibwa kwe diini egwira. Empagi yo buswavu oluvanyuma yasimbulizibwa netwalwa kugigi eriyingira mukyalo kya Chipas ewatiibwa abantu abatayina nakyakulwayisa nga batiibwa amgye nge nakku zomwezi 22 desemba 1997. Nga desemba 22 omwaka 2003 esowani Tzotzil zagabwa eri abatuuze e Acteal.Esowani zino era ziri ne ku Empagi yobuswavu naye abatuuze tebabitegera kuba zali ziwandikidwako munimi luspanisi ne olungereza.

Brasil

kyusa

Nga Apuri 17, 2000 Empagi yo buswavu yasimbwa wankaki wa palamenti ya Brazil "Brasilia" okujukira abantu 19 abatibwa egye lya polisi nga balwanirila okufuna ettaka nga 17 Apuri 1996.[7]. Empagi yo buswavu yatesebwako abakanya oluda lwa gavumenti nabolubantu oluwagira gavumenti .Naye minisita wabya mateeka nagamba nti Empagi yo buswavu tegenda kudayo kusimbibwa muwankaki wa palamenti yagwanga.Nga 1 mayi Empagi yo buswavu netesebwako mu mulukiko olwawansi mu Belem,mu kintundu lyo mumbambuka mu saaza lye Para, eri Eldorado ewali kitta bantu nga balwanilira etaaka. Meeya Edmilson Rodrigues nalangirila wadde nawaliwo obugulumbo nti Empagi yo buswavu esimbwe mukitundu nga akabonero agalaga okuwakanya okunyigirizibwa nokukyobola eddembe lyo buntu okubagibwako buli lunaku.

Cocoon

kyusa

'Cocoo'Omwoleso oguli kumutindo gwe nsi yonna era gwatekebwawo "Danish in the art pavilion", Seville Expo '92, gwali mu sipeyini. Cocoon yalimu engabo ezikoledwa siliva 22,era buli emu ngewezako obugazi 1.5, mitta 4 obuwanvu mitta .Engabo zino bwozitunulira mu enjatika, munjatika omwo mulimu obwenyi bwomuntu aringiza nga bukoledwa mu kyuuma ekyekikomo..[8] Omwoleso gunno gwategekebwa"The mobile Gallery" mu kabuga Kolding era omwoleso gwali kulwebira yamagye ewerako obwagagavu bwa mitta 76,ku lugudo Gorbartjev kukizinga kyomaselengata jylland nga 4 okitoba 1991. Nga 23 mayi omufaransa Jean Dewasne omusajja omusiizi we bifanannyi yeyayina obuvunanyizibwa okuyoyota lwebira eno kitemagane ate ye Jens ali muyoyota munda.http://www.expro92.es

My Inner Beast(Omutima Gwefubitizi)

kyusa

Galschiøt Guno omulundi yakola ekibumbe munkokoto nga era ekimu kiweza obuzito bwa kilo 1000"ton"[9] in famous places in twenty cities across Europe.[10] Ekibumbe kino kiraga embizi ngeri mu ngoye zabantu.Yakikola okulaga empiisa embi ennyo oba guyite Omutima ogwefubitizi eri labikira mu bakyerupe okuyigiriza,obwanakalyakoani,obusosoze mulangi obulabikira mu nsi zaabwe emyaka zinno.Ekibumbe kino kyaletawo obugyagalaro mu banabyabufuzi.Mu novemba 1993 ebibumbe bino ebiwera 20 byali bimaze okusimbwa mu biffo ebyenjawulo musaawa 55 zokka.okusinzira kumawulire[11] era bukibuga kyafuna ekirabo kyakyo nga kye kibumbe ekino.Banakyewa abawelera ddala 100 bemawoma omutwe mumulimu gunno.

The beast(Omutima Gwe Fubitizi) nga wayise emyaka 10

kyusa

Ku mukola nga wayise emyaka 10 ,Jens ne bakozibe basilawo okumanya ki? ekyatuka ku bibumbe bino buli gyabisa ebyali biwerela ddala 20. kuba waliwo akasilikiriro kubyo mubibuuga ebimu byakwekebwa ate ebirara nebimyenyebwamenyebwa. Kyewunyisa ebibumbe ebisaatu byonna ebyatekwa mu bufaransa neguno guliko tebikubwako kyamulubare.Era waliwo olugyeregelero nti ebimu byafuuka ababaka ba palamenti.Okusinzira ku jens ye agamba nti tamanyi bantu engyogera eno gyebajigya.Ate mubibuuga ebilala byatekwa mubiffo eikwasa abalambuzi omubabiro okusinzira ku lupapula lwa mawulira "Herning Folkeblad"olwafuluma nga 8.desemba 1993.Mu kibuuga Bonn ekya Bugyelimani kyatwalwa awakunganyizibwa ebifananyi.nemubibuuga nga Copenhagen ne Milano bikyaliyo bubiffo ebilungi ddala. http://www.aidoh.dk

Laba wamanga

kyusa

Ebijuliziddwa

kyusa
  1. "Jens Galschiot (1954 - )". The Artists' Bluebook - Worldwide Edition. AskART. Retrieved 2009-06-15.
  2. Stephen Vines (5 June 1997). "Hong Kong Handover: 50,000 defy China to remember Tiananmen". Independent News and Media Limited. Retrieved 19 January 2010.
  3. Pan, Aaron (2 May 2008). "Hong Kong Hosts Torch Relay Amid Support, Criticism". News - Asia. Bloomberg. Retrieved 2009-06-15.
  4. http://www.hans-christian-andersen-priskomite.dk
  5. http://www.cnn.com/WORLD/9706/04/tiananmen.hong.kong/
  6. "Archive copy". Archived from the original on 2010-01-16. Retrieved 2012-02-08.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  7. http://www.livevideo.com/video/80C41A8CF627446EB39D34CAFFBBF49B/pillar-of-shame-brazil.aspx
  8. "Archive copy" (PDF). Archived from the original (PDF) on 2011-07-19. Retrieved 2012-02-08.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  9. http://www.flickr.com/photos/hanneorla/411702638
  10. http://www.livevideo.com/video/A18765E2D9B447219EE4CA10249A08D3/my-inner-beast-and-silent
  11. Berlingske Tidende, jyllandsposten,Aalborg stiftstidende,jydske vestkysten fyens stiffstidende det fri aktuelt,8.nov 1-17.nov 1993
kyusa

Persondata <- metadata: see Wikipedia: Persondata. -> | Elinnya = Galschiot, Jens | Amannya Amalala = | Okwenyonyolako = | Ebbanga lye Yazalibwa = 4 Juni 1954 | Ekyalo kwe Yazalwa = Frederikssund,mu Denmark | Ebbanga Lye Yaffa = | Ekiffo Mwe Yafira =