Jesca Ababiku
Ababiku Jesca oti Ani odu 17, imba tudyeri kinya 1975 Ani laponyi logo Uganda dri i' vua badi lase dri i'.Ani driadrusaa ba' alu vurajo vu mudri limbi alu Jo a' Dru rii'ga ri i' ka ba' Adjumani ri ati' i'dri au komwi bale [1]ewo ukunzi ni ri i'ga.Ani ewo lemu lase dri NRM dri i'ga vua komwi dipi ewo ovi ta rukoka Ajugo logo vu Uganda dri ri 'ga (NRM) lemu lase dri di 'i adri nzedi ri 'i logo vu Uganda dri i'gari i' Ajugo Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa i'.Ajugo draa saa komwi dri Uganda a ri'i.i'ja bele logo vu Uganda ni ndutu ri i'ga kinya elifu 2021 si ri i'ga rurua Ababiku Jesca ongwi Ana komwi dri leti ce' dri esujo ri si vu ina (3) joadru risi olujo dri ewo ukunzi Adjumani ri ti a'ti i'dri de ri erijo kinya elifu eri mudri limbi alusi (2011) Ani bejo vua Ana amvujo atijoarisi paka ndi endru 2024
Obuto bwe n'okusoma kwe
kyusaAbabiku yazaalibwa nga 17 Ogwomusanvu mu 1975. Yakulira mu Disitulikiti ya Adjumani. Yasomera ku Adjumani Girls Primary School, gye yamaliriza P7 mu 1990. Mu 1994 yatuula S4 ku Metu Secondary School, mu 1997 yamaliriza S6 okuva mu Moyo Secondary School mu tawuni ya Moyo, ate mu 1999 yatukirwa okuva kutendekero lya Muni National Teachers College ne dipulooma mu by'enjigiriza. Mu 2006,yafuna diguli mu by'obusomesa okuva ku Yunivasite y'e Makerere,ate oluvannyua n'atikirwa ne diguli ey'okubiri mu busomesa okuva ku Yunivasite y'e Gulu.[2]
Obumannyirivu mu kukola
kyusaAbabiku yafuuka omusomesa oluvannyua lw'okutikirwa okuva kutendekero lya Muni National Teachers College. Mu 2000, yatandika okusomesa ku Alere Secondary School,[2] esomero erirabirirwa gavumenti nga lisangibwa mu bitundu bya Adropi mu Disitulikiti ya Adjumani[3] nga lyatandikibwawo mu 1991 nga lyakisulo okuyamba ku baana abanoonyi boobubuddamu okusingira ddala abasibuka mu South Sudan.[4]
Mu 2002, yafuuka omukiise w'abasomesa ku kakiiko akakulu akadukanya esomero lya Alere Secondary School, ekifo kyeyaliko okutuusa mu 2004, era nga y'akulira ekibiina ng'omusomero n'ekitongole ekidukanya emisomo gy'ebyafaayo okuva 2004 okutuuka mu 2006. Yayongerako ekifo ky'okubeera Kansala wa Disitulikiti mu gavumenti z'ebitundu mu Disitulikiti ya Adjumani okuva mu 2002 okutuusa mu 2010, ng'ra yali ku kakiiko ka Yunivasite y'e Kyambogo okuva mu 2004 okutuusa mu 2010. Yeeyali omuwandiisi wa Disitulikiti ya Adjumani eyali avunaanyizibwa ku byali bifulumizibwa mu gavumenti z'ebitundu mu Disitulikiti ya Adjumani okuva mu 2004 okutuuka mu 2006, and from 2006 to 2010. Yali omu kubaali ku kakiiko k'ekibiina ekigata abantu abalina obulemu mu Uganda.Mu kusooka mu 2002, yali afuliddwa ssentebe w'ekibiina ekigatta abantu abalina obulemu mu Adjumani ekifo kyeyaliko okutuusa mu.[2]
Emirimu gye mu byobufuzi
kyusaMu 2010, yawuula eby'okubeera omusomesa, okubeera Kansala wa Disitulikiti mu gavumenti z'ebitundu mu Disitulikiti ya Adjumani, n'emirimu gye egy'okubeera ku kibiina ekigatta abalina obulemu ku ibiri mu Uganda wamu n'ekigatta abalina obulemu ku mibiri ekisinganibwa mu Adjumani okusobola okwesimbawo ku k'omubaka wa Paalamenti ya Uganda.[2] Yeesimbawo nga talina kibiina kya byabufuzi kyagiddemu, nga wadde oluvannyuma yafuuka omu ku ba memba ba National Resistance Movement ku ky'omubaka akiikirira abakyala mu Disitulikiti ya Adjumani era n'awangula. Yafuna obululu 17,037 okuwangula ekifo ekyali kyesimbyeko abantu bana.[5]
Okulonda kwa bonna okwa 2011:Omukyala anaakiikirira Disitulikiti ya Adjumani | |||
---|---|---|---|
Ekibiina | Eyesimbyewo | Obululu | Obutundutundu ku 100 |
Talina kibiina | Jesca Ababiku | 17,037 | 51.38 |
National Resistance Movement | Jesca Osuna Eriya | 14,231 | 42.92 |
Forum for Democratic Change | Hellen Achan | 1,145 | 3.45 |
Talina kibiina | Mamawi Josephine Ujjeo | 732 | 2.21 |
Mu Paalamenti, Ababiku y'ou kubali ku kakiiko k'abavunaanyizibwa ku by'embalirira y'abantu, wamu n'akavunaanyizibwa ku by'ensonga za Pulezidenti.[2][6] Y'omu kubali ku kibiina ekigatta abakyala mu Paalamenti ekya Uganda Women Parliamentary Association (UWOPA),[7] ng'era y'omu ku ba memba b'akakiiko k'ebyemirimu oba akakubiriza eby'enfuna akadukanyizibwa Agnes Kunihira.[8]
Obulamu bwe
kyusaJesca Ababiku simufumbo.[2] Asinga kwagala kuwuliriza muziki wamu n'okusoma.[2]
Laba nebino
kyusaEwalala w'oyinza okubigya
kyusaEbijuliriziddwamu
kyusa- ↑ Mad'i ti
- ↑ 2.0 2.1 2.2 2.3 2.4 2.5 2.6 Cite error: Invalid
<ref>
tag; no text was provided for refs named:0
- ↑ https://ugandaschools.guide/view/27532/alere-secondary-school
- ↑ https://www.ug.emb-japan.go.jp/02en/e04develop/ggp/ggp2010/12adjumani.html
- ↑ https://www.ec.or.ug/pub/General%20election%20Report%202010-2011.pdf
- ↑ https://nilepost.co.ug/2020/06/21/parliamentary-committee-asks-wetland-encroachers-to-vacate-government-land-without-compensation/
- ↑ http://uwopa.or.ug/
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2021-04-18. Retrieved 2024-03-23.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link)