Kiraabu ya Vipers SC
Template:Infobox football club Vipers SC kiraabu y'omuzannyo gw'omupiira gw'ebigere esangibwa mu Kampala, Uganda. Baakazibwako erinnya ly'obusaggwa oba Nyokas (mu Luswayiri kitegeeza misota).
Ebyafaayo bya kiraabu eno
kyusaKiraabu y'omupiira eno yatandikibwawo nga Bunamwaya FC mu 1969.[1]
Vipers SC ezannye mu liigi ya Uganda ey'ababinywera okuva mu 2006 oluvanyuma lw'okuwangula liigi ya Wakiso Disitulikiti ne liigi y'okusunsulamu eya Super Mini League promotion mu 2005.[2] Baamalira mu masekkati g'ekimeeza mu sizoni ez'omuddiŋŋanwa 2006–07.
Nga bayambibwako pulezidenti Lawrence Mulindwa, kilaabu y'asayininga abazannyi eb'enjawulo ab'omugaso mu sizoni ya 2010, ga mw'alimu abazanyi musanvu abaali ku ttiimu y'eggwanga ey'omupiira mu biseera ebyo. Bunamwaya bawangula ekikopo ky'abwe eky'asooka mu liigi y'ababinywera nga bongera kw'ekyo ky'abaali balina.[3][4] Tebaasobola kwetaba mu mpaka za liigi ya CAF mu 2011 olw'ensonga z'eby'ensimbi.[5]
Bunamwaya tebaasobola kukuuma buwanguzi bw'abwe nga bamalira mu kifo ky'akusatu mu 2011 n'emu ky'okubiri mu liigi ya 2012.
Nga 21 Ogwomunaana 2012, Bunamwaya y'akyusibwa eriinya n'efuuka Vipers SC n'ekigendererwa "eky'okulinyisa omutindo gwa kilaabu" era n'okubafuula ab'enkizo mu Ggwanga lyonna.[6]
Vipers bawangulwa mu mpaka ez'akamalirizo ez'omupiira gwa Uganda mu 2013 mu ngeri eyali emenya omutima. Oluvannyuma lw'okukulembera eddakiika 78 nga balina goolo eyali eibiddwa Joseph Mprade mu penati, Ssettendekero wa Victoria University yateeba goola mu mu saawa ey'akamalirizo era nebawanglwa mu penati 5–3.[7]
Obuwanguzi mu liigi bw'ajja oluvannyuma mu sizoni ya 2014–15 oluvanyuma lw'akalulu akakubwa nti Vipers yali yawangulwako omulundi gumu gwokka.[8] Bakulemberwamu Edward Golola. Kiraabu eno erina enkolagana y'amaanyi n'essomero lya St. Mary's mu Kitende, ng'abazanyi 17 abaali ku tiimu eyawangula mu 2015 baava mu ssomero eryo.[9]
Obuwanguzi bw'asanga aba Vipers bali mu mpaka za ssemazinga wa Afrika omulundi ogwasookeraddal. Mu liigi ya 2016 CAF Champions League, baawangulwa omulundi gwaabwe ogwasooka mu mpaka za ssemazinga wa Afrika 2–1 eri ttiimu ya Enyimba FC ey'e Nigeria mu mpaka z'okusunsulamu.
Vipers yamalira mu ky'okubiri mu sizoni ya 2015–16 era obuwanguzi bwaabwe mu kikopo kya Uganda Cup, nga bawangula Onduparaka FC 3–1.[10] Obuwanguzi buno bw'abasanyiza okwetaba mu mpaka za 2017 CAF Confederation Cup gy'ebakubira tiimu ya Volcan Club okuva mu Comoros 1–1 mu kukyala kwabwe mu lawundi y'okusunsulamu wabula bakubibwa tiimu ya South Africa Platinum Stars ku mulundi ogw'asooka 3–2 okuva ku penati eyaweebwa mu ddakiika eya 90.
Aba Vipers beetaba mu liigi ya 2018-19 CAF Champions League ng'eno bawangulwa aba CS Constantine okuva mu Algeria 3–0 nga bawandulwa ku mulundi ogusooka okuva mu kibinja.
Mu Gwokutaaano 2020, Vipers sc balangirirwa ng'abawanguzi ba liigi ya Uganda ey'ababinywera mu 2019/2020 nga baakulembera n'obubonero 54 okuva mu mipiira 25 omulundi ogw'okuna mu byafaayo oluvanyuma lwa FUFA okusazaamu liigi olw'okubalukawo kw'ekirwadde kya COVID19.
Mu Gwokuna 2022 Vipers yawangula KCCA FC ku kisaawe ky'e Lugogo 2-1 nga balumba okuva emabega nga bakozesa Kaputeeni waabwe Halid Lwaliwa ne Milton Marisa. Vipers SC era bawanika ekikopo oluvanyuma lw'okukuba Express FC 3-0 ku kisaawe kya St. Mary's n'emipiira ena egisigaddeyo ku sizoni ya 2021-2022
Ekisaawe kya Vipers
kyusaBazannyira mu kisaawe kya St. Mary's-Kitende, ekituuza abantu 25,000.[11] Ekisaawe kino kyamalirizibwa okuddabirizibwa mu 2018 ne kisaawe kya kapeti.[12]
Obuwanguzi bwe batuukako
kyusa- 2010, 2015, 2017–2018, 2019–2020, 2021-2022
- 2016, 2021
- 2015
- 2019
Abazannyi abali mu ttiimu kati
kyusaMu Gwokutaano 25, 2022[13]
|
Olukiiko olukulembera ttiimu ya Vipers SC
kyusaOmuyambi w'omutendesi | Jose Rodrigues Marcelo cardoso |
Omuyambi w'omutendesi | Male Daniel |
Omutendesi w'omukwasi wa Goolo | Ibrahim Mugisha |
Omusawo wa ttiimu | Lule Micheal |
Physical Trainer | Kato Ibrahim |
Diyilekita w'omuzannyo | Charlse Masembe |
Akwasaganya ebikozesebwa mu kutendekebwa | Edward Ssentongo |
Former managers
kyusa- Template:Country data MexicoTemplate:Namespace detect showall Javier Martinez Espinoza[14]
Ebijuliziddwamu
kyusaEbijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya
kyusa- Omukutu omutongole ogwa Webusayiti Vipers SC
- https://www.goal.com/en-ug/team/vipers/fixtures-results/bi084dnzwxqicamwpeyo99yj8
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2016-03-03. Retrieved 2022-11-25.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ http://rsssf.com/tableso/oeg05.html
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2018-06-18. Retrieved 2022-11-25.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ http://rsssf.com/tableso/oeg2010.html
- ↑ https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1276644/bunamwaya-caf-cash-woes
- ↑ https://web.archive.org/web/20120825154114/http://www.newvision.co.ug/news/634357-bunamwaya-fc-renamed-vipers-sc.html
- ↑ https://www.kawowo.com/2013/05/26/scvu-edge-vipers-sc-to-claim-the-2013-uganda-cup/
- ↑ http://rsssf.com/tableso/oeg2015.html
- ↑ https://www.monitor.co.ug/Sports/Soccer/Golola-role-can-t-be-ignored/690266-2742734-14i7b54z/index.html
- ↑ https://upl.co.ug/vipers-claim-maiden-cup-to-end-onduparaka-fairytale/
- ↑ https://web.archive.org/web/20070622024032/http://www.fifa.com/associations/association=uga/nationalleague/standings.html
- ↑ https://web.archive.org/web/20070622024032/http://www.fifa.com/associations/association=uga/nationalleague/standings.html
- ↑ https://viperssc.co.ug/players/first-team/
- ↑ https://espndeportes.espn.com/futbol/nota/_/id/7139267/javier-martinez-entrenador-mexicano-africa-anecdotas-entrevista-vipers-uganda