Lawrence Mulindwa
Dr. Lawrence Mulindwa munayuganda musomesa, musuubuzi era yaakola nga dayirekita era pulezidenti wa ttiimu y'omupiira Vipers SC. Ye yali omukulembeze w'akakiiko k'omupiira mu Uganda FUFA okumala emyaka mwenda egy'omuddiriŋŋanwa, era nga yali pulezidenti wa FUFA ow'okubiri eyali amaze ebbanga eddene ng'aweereza oluvannyuma lwa Kabaka Daudi Chwa mu (1924-1932).[1] Era y'akulira era ye yali omukulu w'essomero lya St. Mary's Secondary School Kitende.[2]
Dr. Lawrence Mulindwa
| |
---|---|
Obuzaale | Lawrence Mulindwa 27 Ogw'okusatu 1965 |
Emirimu | Yaliko Pulezidenti wa FUFA era nga kati ye Pulezidenti wa Vipers SC |
Omwagalwa | Milly Mulindwa |
Abazadde | Catherine Mulindwa n'omugenzi Mulindwa |
Yazaalibwa mu 1965 e Kanyike Kamengo, Mpigi era y'asinga okuba n'emigabo mu Vipers SC era y'omu ku bazannyi ba Uganda Premier League emirundi ena ng'alina emigabo ebitundu 90%. Yatandika omulimu gwe ogw'obukulembeze ng'omukulembeze wa Bunamwaya FC kati amanyiddwa nga Vipers SC okuva mu 2000 okutuuka mu 2004.[3] Oluvannyuma yaleka ekifo ekyo eri Tadeus Kitandwe okuvuganya ku bwa pulezidenti bwa FUFA oluvannyuma n'atuuka ku kifo ekyo nga 17 Deesemba 2005, oluvannyuma lw'okuwangula Chris Rwanika eyali omulabe we.[4]
Ebirungi by'akoze nga pulezidenti wa FUFA
kyusaYasasula ebbanja ery'amaanyi eryali ely'ekitongole eky'eby'okwerinda eryali lizingiramu okuzaawo ettaka okuli offisi za FUFA e Mengo. Emisomo emirala egy'okuzimba obusobozi gyakolebwa mu kiseera kye era Uganda Cranes teyawangulwa awaka okumala emyaka munaana. Emizannyo gy'ebitundu gyaddamu okuteekebwawo, ebirabo bya FUFA byateekebwawo. Uganda yawangula Cecafa Senior Challenge Cup emirundi ena, era n'endagaano endala ez'obuyambi okuva mu makampuni mangi zaateekebwako omukono; wamu n'okunyumirwa enkolagana n'abawagizi b'abawagira, Gavumenti, CAF ne FIFA.[5]
Ku tiimu ya Viper
kyusaMu 2013, yava mu FUFA,[6] yatandika okussa essira ku Vipers SC ng'alina ekigendererwa n'ekirooto eky'okukikola ekibinja ky'omupiira ekisingayo obulungi mu Uganda ne mu ssemazinga wa Afirika era kino kyasobozesa ekibinja okuwangula ebikopo bya league bina, era n'okuwangula ne mu Uganda Cup, Fufa Super Cup ne Fufa Supert 8 Cup.[7]
Mu Gwokusatu 2017, omuvujjirizi w'omupiira ono yafuuka munayuganda eyasooka okuba n'ekisaawe eky'obwannannyini ekiyitibwa St. Mary's Stadium-Kitende. Era, kino kyatgulwawo mu butongole mu muzannyo gwa CAF confederation cup ne Platinum Stars okuva mu South Africa Venoms mwe yawangula 1 ku 00.[8] Kyagulumizibwa ne kifuuka ekifo kya VIP 600 nga kizingiramu ebifo bya VIP 1,500 n'ebifo 25,000, ne kifuula ekisaawe eky'okubiri ekisinga obunene mu Uganda.[9] Mu 2019, yafulumya bbaasi y'omupiira eyasooka mu Uganda ng'erinnya ly'omupiira liri ku nnamba y'emmotoka,[10] era n'aggulawo ekizimbe ky'omupiisa mu kisaawe.[11]
Essomero lye St. Mary's Kitende limanyiddwa nnyo olw'okutegeka ebitone mu ttiimu y'abakulu nga likola abazannyi b'omupiira nga
- Jungu Methodius,
- Njagala Steven,
- Balinya Juma,
- Paul Mucureezi,
- Geoffrey Wasswa
- Lwaliwa Halid,
- Anthony Bongole,
- Yuda Mugalu,
- Alitho James,
- Ismail Watenga,
- Murushid Juuko,
- Dan Wagaluka,
- Ibrahim Juma,
- Kizito Luwagga,
- Muhammad Shaban
- Kizito Keziron,
- Mike Mutyaba,
- Katonda Bukenya,
- Nicholas Wadada,
- Birikwalira Dan Danucho
- Siraje Sentamu,
- Mandela Ashraf,
- Farouk Miya
- Godfrey Walusimbi
Nga 13 Desemba 2018, yaweebwa diguli ey'okusatu ey'ekitiibwa okuva mu London graduate school olw'okumuweesa ekitiibwa olw'obuyambi bwe yawa mu kukulaakulanya eby'enjigiriza n'ebyemizannyo bye yafuna mu lukungaana lw'obukulembeze olw'omulundi ogwa 15 mu Dubai mu UAE.[12]
Ebyawandiikibwa
kyusa- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Platinum_Stars
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Platinum_Stars
- ↑ Lawrence Mulindwa
- ↑ Lawrence Mulindwa
- ↑ Lawrence Mulindwa
- ↑ Lawrence Mulindwa
- ↑ Lawrence Mulindwa
- ↑ Lawrence Mulindwa
- ↑ Lawrence Mulindwa
- ↑ Lawrence Mulindwa
- ↑ Lawrence Mulindwa
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/UAE