Madoxx Ssemanda Sematimba ly'erinnya ly'omuyimbi wa reggae David Amon Ssemanda Ssematimba ery'oku siteegi. Amanyiddwa nnyo mu Uganda olw'ennyimba ze ez'ekika kya reggae mu Luganda, abeera mu Kampala, Uganda.

Madoxx

Ebyafaayo bye

kyusa

Ssematimba yazaalibwa mu Kampala mu 1972. Ye omu ku bayimbi ba Uganda abeekoledde erinnya mu by'okuyimba mu Uganda. Yasomera mu Makonzi Boarding Primary School ne Busoga College Mwiri. Nga tannaba kusalawo kuyimba, Ssematimba yasomesaako ng'omusomesa wa pulayimale. Yava mu Uganda n'agenda e Stockholm, Sweden mu 1991, ng'alina emyaka 21. Bwe yali ayimba mu bikeesa okusobola okusasulira emisomo gye egya kompyuta, yasisinkana Kenneth "Mafo" Ssejjemba Magoye, omuyimbi munne, eyamwanjula eri Aggrey Ssembatya, nnannyini Small Axe Productions. Yagenda e Gothenburg gye yatandikira okukola ku butambi bwe mu Small Axe Studios. Yawandiika, n'ayiiya, n'ategeka, n'ateekateeka, n'atabikatabika era n'afulumya ennyimba zonna eziri ku lutambi ate ye Aggrey yamuyambako okukulemberamu n'okutabikatabika obutambi.

Ennyimba

kyusa

Maddox muyimbi wa reggae ayimba mu Luganda. Mu mwaka gwa 2000, olutambi lwa Madoxx olwasooka oluyitibwa Tukolagane lwalimu ennyimba "Namagembe", "Tukolagane", "Omukwano Gwafe" ne "Eddembe". Mu 2006 yagenda mu maaso n'okufulumya olutambi Abato, omwali n'ennyimba ezeeengeredde nga "Nakatudde", "Leka Nkulage", "Easy" ne "Wansonyi". Yakubirizibwa Gregory Isaacs ne Israel Vibration n'abalala bangi. Yagenda mu maaso n'okuyimba okutuusa mu 2009 lwe yakomawo mu Uganda, naye nga kigambibwa nti bizineesi y'okuyimba yagivaamu nga wayise omwaka gumu. Okuva mu 2014 Maddox abadde ayimbira munda mu ggwanga. Alina abaana babiri.

Ennyimba ze

kyusa
  • Tukolagane, 2001
  • Abato, 2006

Ebijuliziddwa

kyusa