Molly Lanyero
Molly Lanyero (yazaalibwa nga 24 Ogwokubiri mu mwaka gwa 1975) munnabyabufuzi wa Uganda eyalondebwa mu Paalamenti ey'ekumi (2016-2021), nga akiikirila[1] Disitulikiti ye Lamwo.[1]
Mu Gwomusanvu 2016, yalondebwa ng'omuwanika w'ekibiina kya 25-member Acholi Parliamentary Group, ekilimu ba mmemba ba Paalamenti abava m bitundu bya Acholi sub-region mu Paalamenti ey'ekumi[2] Era mmemba w'ekibiina kya National Resistance Movement (NRM)[1]
Lanyero aweereza ku Parliamentary Committee on Human Rights and the Parliamentary Committee on Education and Sports,[1] era mmemba wa Uganda Women Parliamentary Association (UWOPA).[3]
Ebimukwatako n'emisomo
kyusaMolly Lanyero yasomera ku Shimoni Demonstration School okutuusa mu mwaka gwa 1988.[1] Mu 1992, yafuna satifikeeti ya Uganda Certificate of Education (UCE) okuva mu somero lya St. Joseph's Senior Secondary School Naggalama.[1] Mu 1995, yafuna satifikeeti ya Uganda Advanced Certificate of Education (UACE), okuva mu somero lya Bweranyangi Girls' Senior Secondary School.[1] Oluvanyuma mu mwaka gwa 1997, yafuna Dipulooma mu misomo gya Siniya okuva mu Somero ly'emisomo gy'abasomesa egya Institute of Teacher Education Kyambogo (ITEK), kati ekitundu ku Yunivasitte ye Kyambogo.[1] Lanyero yamaliriza emisomo gye emikulu mu Yunivasitte y'eMakerere.[1] Yatikibwa Diguli ya Bachelor of Arts in Social Sciences mu mwaka gwa 2001 ne diguli ya Master of Arts in Peace and Conflict Studies mu mwaka gwa 2008.[1]
Emirimu
kyusaWakati w'emyaka gya 2002 okutuusa 2009, Ms Lanyero yawereza ng'omumyuuka w'omukulu wesomero lya Siniya elya Hillside High School in Bunamwaya, ekifo mu Kampala, ekibuga gya Uganda ekikulu. Yaweereza nga omukwaasaganyi wa Pulojyeekiti ya Foundation for Early Childhood Education & Development, okuva mu mwaka gwa 2005 okutuusa mu mwaka gwa 2007.[1]
Okuva mu mwaka gwa 2013 okutuusa mu mwaka gwa 2014, Yali Associate Direkita wa Regional Associates for Community Development, ekibiina ekitakolera magoba.[1][4] Mu myaka gya 2014 ne 2015, yaweereza nga Grant Consultant ku Embassy ya Japan mu Kampala, Uganda.[1]
Obutabanguko
kyusaMu mwezi Ogusooka mu mwaka gwa 2018, Molly Lanyero, ne ba mmemba ba Palaamenti bana abalala (Beatrice Atim Anywar, Edward Otto Makmot, Catherine Lamwaka ne Margaret Odwa), baagobebwa ekiseera okuva mu kibiina kya Acholi Parliamentary Group (APG), olw'okuwagira okuyimusa ebbago ely'emyaaka gya Pulezidenti (Presidential age limit).[5]
Ebijulizidwaamu
kyusa- ↑ 1.00 1.01 1.02 1.03 1.04 1.05 1.06 1.07 1.08 1.09 1.10 1.11 1.12
{{cite web}}
: Empty citation (help)"Parliament of Uganda: Members of the 10th Parliament: Lanyero Molly: Lamwo District Woman Representative". Kampala: Parliament of Uganda. 2018. Retrieved 10 March 2019. - ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2019-03-28. Retrieved 2023-04-02.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2021-04-18. Retrieved 2024-03-29.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1340950/serve-terms-women-mps-told
- ↑ http://www.pmldaily.com/news/2018/01/acholi-parliamentary-group-suspends-five-mps-over-age-limit.html