Omweso gwe gumu ku mizannyo gy'omu Uganda egy'edda ennyo egy'okwewummulizaako. Amawanga mangi gafaanana okuba nga gamaze emyaka bikumi na bikumi nga baguzannya.

Abazannyi b'Omweso mu Kigali e Rwanda

Ensibuko kyusa

Omweso gye gwatandikira tewali amanyiddeyo ddala newankubadde nga waliwo abantu abawa ebirowoozo byabwe ku nsibuko yaagwo. Ebirowoozo ebyo tebinnafuna bibikakasa mu ngeri ematiza buli muntu. Abatambuze n'abayizi b'ebifa ku mpisa z'abantu ez'obuwangwa, omweso bagusanga ne mu nsi zino eziri ku nkingi za Uganda: Kenya, Sudan, Congo,Rwanda, Tanzania, n'okweyongerayo mu Afirika eya wakati. Abantu abamu bagamba nti omweso gwava mu nsi z'ebweru ne guyingira mu Uganda. Ekyo okukikkiriza kisaana kumala kwekenneenyezebwa mu bintu bino — ennimi ez'enjawulo ezoogerwa mu Uganda, ebintu eby'edda ebisangibwa mu bitundu bya Uganda ebitali bimu, ensibuko z'abantu b'omu Uganda abali mu bitundu ebitali bimu. Ate abantu abalala bwe bagamba nti omuzannyo ogwo gwava mu Uganda ne gugenda ebweru n'abo tetusaana kumala gabawakanya. olimba!

Kye tulaba amangu kye kino nti abantu abamu aboogera ennimi ez'enjawulo balina amannya agatava ku kikolo kimu ge gayita ekintu kye geesezaamu. Ekyo kiyinza okutugambisa nti buli ggwanga omuzannyo ogwo lyaguvumbula lyokka. Naye ate tuyinza n'okugamba nti oboolyawo ng'amawanga agamu gaagukoppa ku malala ne negaguyiyiiza amannya mu nnimi ze googera. Sso nno ate waliwo agamu agayita ekintu kye geesezaamu amannya agalabika nga gava ku kikolo kimu eky'ennimi ze googera. Ekyo kiragira ddala ng'amawanga ago omuzannyo gaaguggya ku mawanga agagaliraanye bwe gali mu kika ekimu oba ku mawanga agaagawangula oba ge gaawangula mu biro eby'edda.

Kayigabigambo kyusa

Erinnya 'omweso' (mu bungi 'emyeso') litegeeza ekibajje mwe beeseza ate n'omuzannyo gwennyini. Omweso gutera kubajjibwa mu muti. Ekinnya ky'omweso ekimu kiyitibwa ssa (ebingi 'masa'). Ensigo enzirugaalirivu eziyitibwa empiki, eziva ku muti oguyitibwa omuyiki, ze zikozesebwa mu mweso. Okuzannya kwennyini kuyitibwa 'kwesa.' Ekigambo ekyo kiringa ekyava mu linnya 'mweso.' Omuzannyo guyitibwa `kyeso' (ebingi 'byeso'). Mu lulimi Oluganda mulimu ebifaanana okulaga ng'omweso gwa dda nnyo mu Buganda. Ebiraga ebyo gisangibwa mu njogera ze tuyita ebisoko era ne mu ngero. Enjogera ezimanyiddwa ennyo ze zino:

  1. Mu Luganda, omuntu omumpi ennyo bayinza okumugeza ku mpiki. Bagamba nti,"Mumpi ng'empiki"
  2. Omuntu bw'amanya ennyo okukola ekintu bamwogerako nti "Akimanyi nga mweso."
  3. Omuntu bw'asanga ng'ebintu bye we yabadde asuubira okubisanga tebiriiwo bamugeza oba yeegeza ku muntu ayesa n'atasanga mpiki mu ssa mw'abadde asuubira okuzisanga. Bamwogerako nti, "Akutte mu lya mpiki."
  4. Ate luno olugero lwo lubuulirira bantu buteekuza. Lugererwa ku muntu ayiga ekintu n'akikugukamu okusinga eyakimuyigiriza. Lugamba nti, "Gw'oyigiriza okwesa akugobya nkaaga."

Ebilara ku Nsibuko kyusa

Ebyafaayo by'obwakabaka nabyo birinayo ekiraga ng'omweso gwa dda nnyo mu Buganda. Buli Kabaka omuggya olwamalanga okusika n'agenda e Buddo, ku lusozi olwatikkirirwangako Bakabaka engule, n'akolayo n'omukolo "gw'okwesa." Omukulu w'emikolo gy'oku Buddo yabanga Ssemanobe Ow' emmamba, omukuumi w'olusozi lw'Obwakabaka. Akakasa omukolo "gw' okwesa" ku Buddo ye muwandiisi omwatiikirivu, Sir Apollo Kaggwa Kalibbala. Mu kitabo kye ekiyitibwa Empisa ~a Baganda, yawandika bw'ati ku mukolo "gw'okwesa": "Bwe yamuggyanga awo (Ssemanobe) n'amutwala mu luyiki, lwabeeranga kumpi n'awaabeeranga embuga ya Makamba Omwami w'oku Buddo. Omwo mwe yanoganga empiki buteba eyabeeranga mu mweso ogwabeeranga mu kigango Ggombolola oba Masengeregansaze, Katikkiro gwe yayesezangamu ng'asalira abantu emisango. Naye empiki eyo buteba amakulu gaayo nti 'Kabaka taasingibwenga magezi mu bwakabaka bwe eri abantu be; abantu be bwe banaamusaliranga amagezi ag'okumusinga era ye y'anaasinganga okubasalira amagezi amalungi ag'okubafuganga, ng'omwesi ow'amagezi bw'agobya munne empiki entono eza buteba'."

Tewali amanyidde ddala Kabaka eyatandika `okwesa' ng'omukolo mu kusika kwa Bakabaka kyokka omukolo gwo gulinga ogw'edda ennyo newankubadde nga guyinza obutaba gwa dda nnyo ng'Obwakabaka obulowoozebwa okuweza emyaka ng'ebitaano okuva ku Ssekabaka Kintu. Omukolo gw'okweseza e Buddo mu kusika ng'ogutadde ebbali, omweso gwayagaligwanga nnyo mu lubiri lwa Kabaka. Kabaka yayesanga ne bakyala be abakulu era ne bannyina, abambejja. Oluusi yayitanga Katikkiro n'abaami abakulu n'ayesa nabo. Abaami n'abataka abakulu buli gye baageeranga yonna nga baba n'emyeso mu bisaakaate byabwe. Abaami abakulu n'abato n'abasajja be baafuganga baayesanga kumpi buli lunaku enkya n'eggulo. Akatuuso ke kaabasalangako anti nga bonna basembezebwa ku mmere y'embuga. Mu mweso abaami mwe baafuniranga omukisa okulaba abantu baabwe n'okugamanya mu ngeri y'omukwano. Bwe baabanga beesa nga banyumya ku bintu bingi ebya buli ngeri. Mu kwesa abaami ne basajja baabwe mwe baamanyiranga ebifa mu nsi. Bwe waabangawo abajja okubasalira ebibakaayanya ng'abaami ne basajja baabwe abali mu mweso bawuliriza ensonga zonna. Abaami bwe baasalanga ensonga nga basajja baabwe nabo bawulira ensala y'abaami n'amagezi ge baawanga abantu abaabanga babatwalidde ebigambo ebyetaaga okutawulula. Mu nkiiko ez'engeri eyo eza bonna ezitaabanga ntongole mwe mwava engero zino:

  1. Akiika embuga amanya ensonga.
  2. Nnantakiika nti "Eby'embuga biriibwa baganzi."

Mu basajja baabwe abaabanga bakuŋŋaanye okwesa, abaami mwe baalondanga abasajja be beesiga ne babatuma eza buli ngeri. Kabaka bwe yatumanga amangu ababaka mu baami okumusolooleza omusolo, gamba ng'ogw' enswa oba ogw'embugo oba ogw'enkumbi oba ogw'engeri endala oba okutwala abatabaazi, abasajja abaasangibwanga ku mbuga nga beesa be baasookanga okuwera n'okugabwa okukulembera abalala. Mu ngeri eyo omweso gwabanga ng'ekkuŋŋaaniro abaami mwe baggyanga abantu ab'okubaweereza n'okuweereza Kabaka. Omweso gwayambanga abantu abasobola emirimu okumanyika amangu mu baami n'okuweebwa ebifo ebikulu. Ekirala ekikulu ekyali ku mweso kwe kumala ku bantu ekiwuubaalo. Abaami abakulu n'abantu abalala abaabanga balindiridde okulaba Kabaka baamulindiriranga nga beesa mu kagango akaabanga okumpi n'ennyumba Twekobe, Kabaka mwe yasulanga. Abambejja nabo baalina akagango akaabwe mwe baabeeranga nga beesa okutuusa lwe baasobolanga okulaba Kabaka. Nga bwe tulabye waggulu, Katikkiro yayesezanga mu kigango Masengeregansaze, mwe yatuulanga ng'asala emisango n'okutawulula abaabanga n'ebibakaayanya. Bagamba nti Mukasa eyaliko Katikkiro wa Mutesa I ne Mwanga II yali kayingo mu kwesa. Mbu abantu baamuwolezanga ng'eno bw'ayesa. Bwe baamalanga okuwoza n'addamu ebigambo omuwaabi by'awozezza era n'eby'omuwawaabirwa. Mbu byonna yabiddangamu mu ngeri eyeewuunyisa. Bwe yamalanga okubiddamu nga n'abaami bamaze okukubira omusango, n'alyoka asala omusango. Bagamba nti ensala ye yabanga ya magezi era nga ya bwenkanya. Ka tutuuke ku birala ebifa ku mweso. Edda omweso gwaliko emizizo. Egimu ku gyo gye giro: Okuggyako abambejja ne bakyala ba Kabaka n'ab'abaami abakulu, abakazi aba bulijjo tebaayesanga. Mu bakopi ddala kyali kizirira ddala omukazi okwesa. Baagambanga nti omukazi bw'akwata mu mweso tayeza mmere. Kale nno omulimu gw'okulima emmere mu maka nga bwe gwali ogw'abakazi bokka, omuzizo ogwo abakazi baagukwatanga mango. Abawala abato bobaabagambanga nti singa beesa tebagenda kusuna mabeere. Kale nno obutasuna mabeere nga kitegeeza mpozzi na butafumbirwa. Okutya obutafumbirwa kwagoberanga ddala abaana abawala ku mweso. Abakazi ne bawala baabwe nga bwe baalina omulimu gw'okukola ku by'emmere byonna mu maka era

n'emirimu emirala, kyangu okulaba nti singa baalekerwa eddembe okwessa ku mweso ogumala ebiseera bwe gutyo tebandisoboddenga kumalawo mirimu gyabwe egya buli lunaku egyali emingi bwe gityo. Ekirala ekikulu kye tusaana okumanya kye kino nti omweso gwakuŋŋaanyanga abantu bangi aba buli ngeri ate nga mu kukuŋŋaana okwo baggyangamu okumanyagana ennyo. N'olwekyo abasajja abafumbo baatyanga nti singa baleka bakazi baabwe ne bawala baabwe okubeera mu mweso n'abasajja aba buli ngeri kiyinza okuvaamu ebitali birungi. Abalenzi abato nabo tebakkirizibwanga kubeera awo nga beesa ebbanga lyonna, anti nabo baalina eby'okukola bingi, ng'okulunda embuzi n'ente, n'okutumwa e'j'jendo eza buli ngeri. Kyokka bo bwe baabanga ku ttale nga balunda embuzi oba ente beesaliranga amagezi ag'okwesaako. Baasimanga emyeso ku ttaka ne beeseza omwo. Mu kifo ky'empiki zennyini baakozesanga mayinja oba ensigo z'ebimera ze basobolanga okufuna. Abasumba bayinza okuba nga be baasima emyeso egisangibwa ku njazi, mu bitundu bya Uganda ebimu. Naye oba ng'ekyo bwe kiri, kizibu okumanya ebintu bye baasimisanga amasa g'emyeso ku njazi eŋŋumu bwe zityo! wokubanga omweso gwatuuzanga abantu ne batayagala kuguvaamu, ne gubeerabiza n'ebintu ebirala byonna, abaami b'ebyalo abamu abaakuumanga ennyo ebyalo byabwe, tebaayagalanga kulaba basajja baabwe nga beeseza mu byalo byabwe. Abaami ab'engeri eyo baatyanga nti singa omulabe azinda ekyalo amangu oba Kabaka okugaba ekiwendo eky'amangu, ekyalo kyonna kiyinza okuttibwa oba okunyagibwa. Abaami abaatyanga eby'engeri eyo bwe baasanganga basajja baabwe nga beesa nga bayinza okubaggyako empiki ne bazisuula. Okwesa kwaliko omuzizo omulala omukulu: Abantu tebakkirizibwanga kwesa kiro ng'enjuba emaze okugwa. Baagambanga nti singa abantu beesa ekiro akabe ne kamala kakaaba oba ekiwuugulu oba empisi ng'olwo nno ababadde beesa zibasanze. Baalagirwanga okutwala empiki zonna ku luzzi okuzooza ate nga buli mpiki bagitwala yokka. Okwoza empiki lye ddagala lyokka lye bakkirizanga nti lye liyinza okuggyawo akabi akayinza okujja ng'ekimu ku bintu ebyo kikaabye ng'abantu beesa ekiro. Omuntu agenda okuwoza omusango naye teyayesanga. Mpozzi beefaanaanyirizanga nti singa omuntu agenda okuwoza ayesa ne bamugoba mu kwesa, ne mu kuwoza bayinza okumusinga.

Omweso nga gwe Gwadiba Okumala Ekiseera kyusa

Kino kyali ng'omuntu bwe yandikirowoozezza. Mu matandika g'ekitundu 'S ekyafundikira omulembe gwe 19. omweso wamu n'emizannyo gy'ekinnansi egy'engeri endala gyali gitandise okugenda nga gifeebesebwa empisa z'abagwira b'Ebuvanjuba ezaali zigenda zikyusa embeera za bannansi ez'edda. Enfuna y'ebintu wamu n'ebyobufuzi byali bitandise okukyuka. Entalo z'okunyaga ebintu n'abantu zaali zikomezeddwa Abangereza abaali batandise okufuga ensi nga bayita mu baami bannansi. Ebyokufuna abantu baali tebakyabiggya nnyo ku baami. N'olwekyo abantu baali batandise obutakyabeeranga nnyo mu baami nga beesa. Ab'amaanyi baali batandise okusuubulanga ebintu ng'engoye n'amaliba. Uganda ng'emaze okukkiriza okukuumibwanga Abangereza, abasajja abalamu baatandika okulondebwanga okwetikka emigugu gy'abakozi ba Gavumenti, naddala Baddiisi, nga bali ku mirimu gya Gavumenti. Abantu tebaayagalanga kukola mirimu gya ngeri eyo kubanga empeera gye baagifunangamu yabanga ntono nnyo. Okuwona ku mirimu egyo, abantu kye baakolanga kwe kwewala okukunnaaniranga mu baami okwesa.

Ppamba bwe yaleetebwa mu Uganda mu 1904, okusobozesa abantu okufuna ensimbi z'omusolo, abasajja Abaganda ne batandika okulima so ng'okuva edda n'edda kyabanga kya nsonyi omusajja Omuganda okulima. Okulima ppamba kwasibanga abasajja bangi mu nnimiro ne mu maka, nga balongoosa ppamba. Emirimu gya ppamba abasajja tegyabalekerangawo kiseera kya kwesa. Ate n'oluvannyuma omweso baaguyita omuzannyo gw'abagayaavu. Ekirala ekyali kyagala okudibya omweso ze nvunza ezaaleetebwa Abaganda abasuubuzi b'amasanga, nga baziggya mu Tanzania. Abasuubuzi abo baatolontokanga ne batuuka mu nsi y'Abanyamwezi, Unyamwezi (Abaganda baagiyitanga Bunyaanyimbe). Envunza zaali zeefudde za kabi nnyo mu Buganda. Zaayingiranga mu bigere by'abantu abajama ne zikulira omwo. Omuntu eyabanga n'envunza ennyingi mu bigere bwe baabanga bazimutunduddemu ng'ebigere birwala. Mpozzi okulwala kw'ebigere by'envunza kwe baayita `okuvunda' n'obuwuka obwabivunzanga ne babuyita 'envunza.' Omuntu eyabanga n'envunza ennyingi mu bigere buli we yagendanga ng'alekawo amagi gaazo. Amagi tegaalwanga nga gaalula, nga gasaasaana mu kifo ekyo mwe gaabanga gaaluulidde. Omweso nga bwe gwakuŋŋaanyanga abantu abangi awamu, gwalabika nga guku'yaanya n'envunza. Olw'okwagala okudduka envunza abantu kyebaava batandika okwewala omweso. Envunza bwe zityo bwe zaali zaagala okutta omweso. Amasomero bwe gaatandikibwa mu myaka ng'ekkumi egyatandika omulembe guno gwe tulimu, omweso tegwassibwamu nnyo maanyi ng'emizannyo gy'abagwira egy'omu nnyumba, okugeza nga draughts, ludo, emisota n'amadaala. Kyamazima amasomero awamu ag'ebisulo oluvannyuma gaafunira abayizi emyeso naye abayizi abaayesanga tebaabanga bangi nnyo olw'okubanga omweso gwali gumaze okuvumaganibwa nti `guleeta envunza.' Kyokka abantu abamu abakulu, abaagazi b'ebintu byaffe eby'obuwangwa, bo emyeso baagikuuma mu maka gaabwe ne beesezangamu oluusinooluusi ne mikwano gyabwe. Abantu abo be baawonya omweso okuzikirira wonna mu Buganda era tusaana okubeebaza ennyo. Ka tulabe n'ekintu ekirala ekifaanana okuba ekimu ku bintu ebyaziyiza omweso okweyongera ennyo mu maaso: Okutuusa jjo luno, mu biro ebitali bya wala nnyo, tewabadde bidduka ebyesigibwa, ebyanguya abakozi ba Gavumenti n'abatali ba Gavumenti okubaggya mu byalo, abasinga obungi gye basula, okubatuusa ku mirimu gyabwe ate n'okubazzaayo. Essaawa z'abakozi bonna abatali ba Gavumenti ez'emirimu nazo edda zaali teziriiko mateeka ga Gavumenti amakakafu nga bwe kiri kaakati. Ate kimanyiddwa ng'abakozi abasinga obungi okuva gye basula okutuuka ku mirimu gyabwe mailo zitera kuba wakati wa ssatun' ekkumi n'ettaano. Ekidduka ekikulu abakozi abasinga obungi kye baalina mu biro ebyo ke kagaali 'lumala mawano.' Kale nno abakozi byamalanga ebbanga ddene mu kkubo nga basotta obugaali. Ate nno ku nsozi nga basindika busindike. We baatuukiranga ewaabwe nga n'abandyagadde okwesa tebakyalina kiseera kimala. Abakozi abaafunanga emisaala egiteeyamba baakubanga kigere. Abo nno we baatuukiranga eka nga booya busera, nga n'ageesa tebagalina ate era nga n'enjuba emaze okugwa mu nnyanga. N'abandibadde n'ekiseera ekyesa, mu budde obwo baabanga beegomba kufuna kaakuzza eri mumwa. Kale nno tekyewuunyisa okulaba ng'abakozi baali tebakyasobola kwesa oba okukulowoozaako.

Okuddawo kw'Omweso kyusa

Kizibu nnyo okulondawo ekintu ekimu ne tugamba nti kye kyazzaawo omweso ne gikwagazisa n'abantu nga bwe bagwagala kaakano. Ekisinga obwangu kwe kugatta awamu ebintu byonna bye tulowooza nga birina kye byakola ku kuzzaawo omweso n'okugwagazisa abantu.

Mpozzi kye tusaana okusookerako okumenya kye kibiina ky'Abataka, James Miti ne Sezario Mulumba ne bannaabwe abalala kye baasitula ennyo mu 1947. Ekibiina ekyo kyakubiriza nnyo Abaganda okwagala ebyabwe eby'obuwangwa. Okwo kwe tuzza okudda kwa Sir Edawrd Mutesa II ku Bwakabaka, ng'ava mu buwa anguse mu London, mu 1955. Ekiddirira ekyo bye bigambo ebyatandikira mu Africa ey'Ebugwanjuba nga bikubiriza Abafrica okwemanya nga nabo bantu mu nsi, abasaana okweyagalira mu nsi zaabwe n'okwagala ebyabwe eby'obuwangwa era n'okubikuza. Okujja kwa bbaasi ezikola mu bibuga, nga zigezaako okutambulira mu biseera ebimanyiddwa, ate n'okufuna mmotoka za takisi ezikola mu bibuga ne mu miriraano gyabyo by'asobozesa abantu bangi okutuukanga amangu mu maka gaabwe nga bamaze okukola ne basobola n'okwesaako. Okwo ssaako okweyongera kwa bupikipiki obutono ate ne Gavumenti okussaawo essaawa ez'etteeka ezinnyukirwamu mu bibuga. Abafrica okweyongera obungi mu bibuga ne mu miriraano gyabyo nakyo kyayongera ku bungi bw'abantu abayinza okwesezaamu nga babadde tebagenze mu mizannyo mirala. Ebyo byonna bye mmenye birina kye bikoze ku kuddamu okwagazisa abantu omweso. Mu nnaku zino. omuntu amanyi okutunula ennyo bw'ayita mu butale, mu Kampala ne mu bifo ebirala ebikuŋŋaanirwamu abantu abangi ebiri ebweru wa Kampala, mu ssaawa ez'ekyemisana n'ez'olwegguloggulo, yinza okulaba ebikuukuulu bwabantu nga beetoolodde omweso. Abeesa, omweso gubanyumira nga bwe gunyumira abatunuulizi. Abaagazi b'omweso oluusi bassaawo empaka ne zinyumira abazibaamu n'abalabi ababa bawagira abazannyi. Mu bifo ebimu abantu oluusi beeseza nsimbi ate abatunuulizi abamu ne basibawo ensimbi. Okujjulula ku mateeka g'okwesa ag'edda kuyambye nnyo okukendeeza ku kiseera ekyeso ekimu kye kimala okuggwa. Edda ekiseera ekyeso ekimu kye kyamalanga okuggwaamu kyabanga wakati wa ddakiika 10 na 20 naye kaakano kiri wakati wa 3 na 7. Ekyewuunyisa ennyo kwe kulaba ng'omweso ogwayolekerwa ebizibu ebingi bwe bityo ate gwe gusinze okuyita obulungi mu balabe baagwo bonna, neguddamu okwagalibwa ennyo. Bye guyiseemu bikakasiza ddala nga bwe guli omuzannyo omulungi. Omuntu yenna agamba nti omweso si muzannyo gwa magezi kirungi ayige okuguzannya, yeerabireko ng'obukodyo bw'ateekwa okuyiga okuba omukugu mu gwo n'okugunyumirwa bwenkana n'obw'emizannyo gy'omu nnyumba egisinga obulungi egisangibwa wonna mu nsi.

AMATEEKA G'OKWESA MU BUGANDA kyusa

  1. Empiki ezikozesebwa nga beesa ziba nkaaga mu nnya. Empiki zennyini bwe ziba nga teziwera bassaamu obuyinja oba ensigo ez'engeri endala okujjuza omuwendo ogwo
  2. Buli omu ku bazannyi atuula ku ludda lw'omweso nga gwerambise bukiika mu maaso ge. Empiki 64 bazigabanira wakati.
  3. Buli omu ku bazannyi y'aba nnannyini mpiki zonna eziba mu masa 16 ag'omu nnyiriri ebbiri eziri ku ludda lwe.
  4. Oludda olumu luyinza okubaako abazannyi abasukka ku omu, nga bonna bakolera wamu. Okukakasa nga buli ludda luweza empiki zaalwo 32, ng'omuzannyo gugenda okutandika, buli 8. Amateeka agamu ag'edda gajjuluddwako. Muzannyi assa empiki nnya nnya mu masa omunaana ag'omu lunyiriri olumuliraanidde ddala.
  5. Mu kweteekerateekera okutandika okwesa kwennyini, buli ludda lussa emiwendo gy'empiki egya buli ngeri mu masa gaalwo, mu ngeri gye lumanyi ng'eneerugamba okugoba. Okutegeka empiki mu ngeri eyo kwe bayita 'okuteeka.' Engeri omuntu gy'aba ategeseemu empiki ze kye bayita 'ekyeso'(mu bungi 'byeso'). Ebyeso byawulwamu ebikulu n'ebito. Ekyeso ekikulu kibaamu empiki ezisukka 16 mu ssa erimu; ekito tekibaamu ssa lirimu mpiki ezisukka ku 16. Waliwo ebyeso bya ngeri nnyingi ebiteekebwa naye ebirina amannya amakakafu biri nga mukaaga:
  6. Nsanve (kiba n'essa eririmu empiki 17), Nkaaga (kiba n'essa eririmu empiki 16), Ntaanwe (kiba n'essa eririmu empiki 15), Nnyinya (kiba n'essa eririmu empiki 14), Nsatwe (kiba n'essa eririmu empiki 13), Mbirye (kiba n'essa eririmu empiki 13), Mbirye (kiba n'essa eririmu mpiki eziwera.
  7. Ebyeso ebirala ebirina amannya tebitera kuteekebwa, okugeza Nnyenda ne Nnaana. Empiki ezo zijjula bujjuzi mu masa ng'abantu beesa. Ekikulu mu kuteeka ebyeso kwe kulaba ng'oyinza okuyitamu ng'ositudde empiki okulambulula olugendo.
  8. Okwesa bwe kuba kutandikira ddala omulundi ogusooka, buli ludda luyinza okutandika (okwo kwe bayita 'okwalika') naye oludda olumu bwe luba lumaze okugoba omulundi ogusooka, omugobe, y'asooka okwalika mu kyeso ekiddirira. Kyokka kiyinzika okuba ng'edda eyagobanga nga y'asooka okwalika mu kyeso ekiddirira kuba ne kaakano bw'ayagala ayinza okutandika nga bw'agamba nti "Omugobe tansooka kuwera."
  9. Mu kutandika okwesa buli ludda lwesa ng'ekyeso kye luteese bwe kitandika. Ayesa ayinza okusuula empiki emu oba ebbiri mu ssa ebimu. Mu byeso ebito ebimu omuntu ayinza n'okuggya empiki mu ssa ery'emabega n'azibuusa n'azisuula mu masa g'omu lubu olw'omu maaso.
  10. Oludda olumu bwe lumala okuggya empiki ku ludda olulala (kwe bayita `okutta') ng'okwesa kwennyini kutandika okugoberera etteeka erya bulijjo ery'okusuula empiki emu emu mu buli ssa.
  11. Mu kwesa kwennyini ayesa ayoola empiki mu ssa n'agenda ng'asuula empiki emu mu buli ssa ku ludda lwe, nga yeetooloola okufaanana g'essaawa gye banyoola nga bagizza emabega. Okusuula empiki mu masa kwe bayitira ddala 'okwesa.'
  12. Okwesa kuba mu mpalo, kwe kugamba nti oludda olumu bwe lumala okwesa n'olulala ne kwesa.
  13. Buli ludda lugezaako okutta empiki z'oku ludda olulala zonna ze lusobola naye nga lwegendereza lwo luleme okuttibwako empiki ennyingi oba empiki ez'omugaso.
  14. Empiki zonna 64 teziggibwa mu mweso; zibeeramu okutuusa ekyeso omu lw'akigoba. Okutta kwe kugenda kuzikyusa okuva ku ludda olumu okudda ku lulala.
  15. Omuntu bw'asitula empiki okwesa ng'ekyeso kimaze okutaba agenda asuula empiki emu mu buli ssa, ng'atandikira mu ssa eriddirira eryo mw'aba ayodde empiki z'ayesa. Empiki envannyuma gy'aba nayo mu ngalo bw'egwa mu ssa omuli empiki emu oba ennyingi ng'ate ayoola ezo nga nazo agenda azisuula mu masa era ng'ava ku ssa eriddirira eryo mw'aziggye. Agenda ayeesa bw'atyo okutuusa empiki envannyuma gy'aba nayo mu ngalo lw'egwa mu ssa eritaliimu mpiki yonna n'alyoka amala. Okumala okwesa mu ngeri eyo nakwo kuyitibwa `kwalika.' Mu kwesa, buli ludda lugezaako okuwa lulala empiki nga lugenderera okulutega luzitte ate lwo lutte empiki ezisingako obungi oba okuba ez'omugaso ku ludda olwo oluba lumaze okutta. Okuwonya empiki ze ez'omugaso okuttibwa buli muzannyi agezaako obutaziweerera.

Okutta Empiki kyusa

  1. Ayesa bw'aba n'empiki mu ssa lye ery'emabega ng'ate alina n'empiki mu ssa ery'omu maaso

eryesimbidde ddala mu eryo ery'emabega, empiki ze eziri mu ssa lye ery'omu maaso zigambibwa nti `mpeerere.' Empiki zonna eziri mu masa ago gombi munne ayinza okuzitta bw'aba ng'asobola. Okutta empiki empeerere oyo azitta ateekwa okuba n'empiki emu oba ezisingawo, mu ssa lye ery'omulunyiriri olw'omu nda eriri ddala mu mutwe gw'essa eririmu empiki empeerere. Okutta empiki empeerere, ayesa ayoola empiki ezize z'alaba nga zinatta eza munne, n'agenda ng'azisuula mu masa ge okutuusa empiki ye envannyuma lw'egwa ssa lye eriri ddala mu mutwe gw'essa lya munne eririna empiki empeerere. Empiki za munne eziri mu masa gombi aziyoolamu n'azeesa ng'atandikira mu ssa eriddirira essa eryo mw'aggye empiki ezisse eza munne. Bw'aba akyayesa n'asanga empiki za munne endala empeerere nazo azitta n'azeesa nga bwe yayesezza ezaasoose, okutuusa lw'ayalika. Omuntu bw'aba tannayalika ayinza okutta empiki za munne zonna empeerere z'asobola okutta mu lwesa !we olumu. Obukugu mu kwesa buli mu kumanya mpiki omuntu z'ayinza okutta ng'ate ezize taziweeredde mu ngeri mbi.

  1. Ayesa bw'atatwala mpiki empeerere z'asse nnannyinizo ayinza okulondawo okuzigattira mu

limu ku masa ago mwe ziri n'azeesigaliza nga zize ddala. Okwo kwe bayita `okugatta empiki.' Bw'aba tayagadde kuzeesigaliza ayinza okulagira azisse okuzitwala, nga bw'amugamba nti, "Toleka bafu mabega." Olwo azisse aba ateekwa buteekwa okuzitwala.

Okutebuka kyusa

Ayesa bw'alaba empiki za munne empeerere z'ayinza okutta ng'adda emabega akkirizibwa okuzitta ng'asinziira mu limu ku masa ge ana agasembayo ku kkono we. Essa mw'asobola okuggya empiki n'ezitta eza munne, ly'asinziiramu n'ayesa ng'adda emabega. Bw'aba ayinza okuttayo empiki emirundi ebiri oba n'okusingawo, akkirizibwa okuzitta mu ngeri eyo ey'okutebuka, nga buli mulundi empiki agenda azisuula emabega mu masa ge, nga bw'akola mu kutta okw'okugenda mu maaso. Empiki z'asembyayo okutta ng'adda ennyuma z'ayesa ng'agenda mu maaso, ng'asinziira mu ssa eriddirira eryo lye yavuddemu okudda emabega. Okwesa ng'odda emabega olw'okutta empiki kwe bayita 'okutebuka.' Empiki omuntu gy'asooka okusuula ng'atebuka gye bayita `buteba.' Empiki omuntu z'ayinza okuyoola ng'atebuka teziyinza kusukka ku 9. Tewali akkirizibwa kwesa ng'adda emabega bw'aba nga talina mpiki z'agenda okutta mu kutebuka

Okubala Empiki mu Kwesa kyusa

Waliwo okubala kwa ngeri bbiri:

A. Okw'Okugenda mu Maaso kyusa

Empiki omuntu z'ayesa n'ayalika mu ssa mwe yaziggye ziba 16, ziyitibwa `nkaaga.' Empiki ezigenda mu maaso essa erimu okuva we zaavudde ziba 17; ezo ziyitibwa 'nsanve.' Ezigenda mu maaso amasa abiri okuva we zaavudde ziba, 18; ezo ziyitibwa 'nnaana.' Ezigenda mu maaso amasa asatu okuva we zaavudde ziba 19; ezo ziyitibwa 'nnyenda.' Empiki ezibalibwa ng'ogenda mu maaso, ezirina amannya amakakafu zikoma awo. Ezeeyongerayo

okuwera nga 20, 21 n'okusingawo tezirina mannya era mu kwesa tezitera kuwera nnyingi bwe zityo.

B. Okw'okudda Mabega kyusa

Empiki ezeesebwa ne zirekayo essa limu okutuuka we zaavudde ziba 15; ezo ziyitibwa 'ntaanwe.' Ezirekayo amasa abiri okutuuka we zaavudde ziba 14; ziyitibwa Ezirekayo amasa asatu okutuuka we zaavudde ziba 13; ziyitibwa 'nsatwe.' Ezirekayo amasa ana okutuuka we zaavudde ziba 12; ziyitibwa 'mbirye.' Ezirekayo amasa ataano okutuuka we zaavudde ziba 11; ziyitibwa 'kkumi n'omu.' Ezirekayo amasa omukaaga okutuuka we zaavudde ziba 10; ziyitibwa 'kkumi.' Ezirekayo amasa omusanvu okutuuka we zaavudde ziba 9; ezo ziyitibwa 'lwanga.' Okubala ng'odda emabega awo we kukoma. Embala eyo omuntu agikozesa ng'ayagala okumanya empiki z'ayagala okwesa gye zinaamutuusa, n'empiki z'anaasobola okutta. Kyokka omuntu bw'aba abala, ebigambo ebyo ayongera okubisalako n'alekawo bino by'owulira ng'abala: tta, nnya, ssatu, bbiri, omu, kkumi, I wang a. Empiki emu bw'eweererwa endala emu, zombi wamu ziyitibwa 'kayiki' .

ENGERI Y'OKUGOBA EKYESO

Okugoba kuba kwa ngeri nnya:

(a) OKWA BULIJJO

Okugoba okwa bulijjo kwe kw'okutta empiki z'omulala ennyingi n'aba ng'asigazizza empiki z'atayinza kwesa n'agoba. Kyokka okusigaza empiki entono si kwe kugobwa; okugobwa mu ngeri eya bulijjo kusinziira mu ngeri empiki gye zirimu mu masa gaazo. Omuntu ne bw'aba ng'akyasigazza empiki eziwerako naye bw'aba nga mu buli ssa alinamu empiki emu era aba agobeddwa kuba empiki emu teggibwa mu ssa n'eyesebwa nga temaze kuleeterwako mpiki ndala. Ekyeso ekigobe mu ngeri ya bulijjo kibalwa nga kyeso kimu. Abeesa bayinza okumala okwesa nga beesezza ebyeso byonna bye baagala.

(b) OKUTEMA (okw'edda)

Ayesa bw'awubwa oba bw'akigenderera n'aweerera empiki mu masa ge abiri agasemba erudda n'erudda, ekyeso kye kigambibwa nti kiriko 'emitwe ebiri.' Empiki zonna eziri mu masa ago ana munne bw'azitta mu lwesa olumu oyo gwe bazisseeko aba 'atemeddwa' (agobeddwa mu kye bayita 'okutema'). Agenda okutema olusuula empiki envannyuma mu ssa n'alayira mu ngeri yonna gy'ayagala, okugeza, "Nnannyinimu ali ku bbali," "Jjajjange Nnamuguzi e Kasagga," n'ebirala. Okutema kubalibwa ng'okugoba ebyeso ebibiri. Kyokka atema ekyeso bw'atalayira okutema kwe tekubalibwa era talina kyeso ky'abalirwa nti agobye.

(c) OKUGOBA AKAWUMBI

Omuntu bw'aweerera empiki ze zonna mu kyeso, munne n'azitta n' azimalamu mu kwesa olumu, oyo gwe bazisseeko baba bamugobye kye bayita `akawumbi.' Akawumbi bakabalamu ebyeso kkumi na bibiri. Ebyeso ekkumi n'ebibiri bye bayita `akagoba.' Agobye akawumbi olumala okwesa n'avuunika omweso, empiki zonna ne ziyiika wansi, ate n'alagira gw'agobye okuvuunula omweso n'amannyo n'okulonda empiki zonna n'amannyo ng'azizza mu mweso. Kyokka gwe bagobye ekyo takikola era okwesa okw'omulundi ogwo awo we kuggweera. Okugoba akawumbi si kya bulijjo.

(d) OKUTEMA (okuggya)

Mu kugoba Ekyekitema (ekiggya) oludda olumu bwe lutta empiki emirundi ebiri ng'oludda olulala temmnattayo ku mpiki, oludda olwo lwe baba basseeko empiki emirundi ebiri luba lugobeddwa mu ngeri gye bayita `okutema' okw'engeri ey'okubiri.

Atemye abalirwa okugoba ebyeso bibiri nga mu (b). Waliwo ebintu bitaano ebiteekwa okutuukirizibwa omuntu alyoke akkirizibwe nti atemye mu ngeri ntuufu: 1. Abeesa bamala kukkiriziganya nti beesa kya Kitema. 2. Olwesa olutema terukkirizibwa kuba lwa kutebuka. 3. Gw'otema oteekwa okuba nga wamuwadde empiki ne zimulema okutta. 4. Olwesa olutema luteekwa okutuukira ku mpiki zennyini ezittibwa okutema. Ayesa okutema bw'ayoola empiki n'azeesa ne zikwata ku ndala ate n'ayoola ezo okutta munne omulundi ogw'okubiri, 5. Nga bwe kiri mu kugoba Ekyekitema ekiri mu (b) ne mu kino atema ateekwa okulayira.

ENGERI Y'OKWESA

Kaakano waliwo okwesa kwa ngeri ssatu:

(a) OKW'OKUBALA (oba Eky'okubala)

Mu kwesa okw'okubala buli ludda lukkirizibwa okubalirira empiki nga terunnayoola mpiki kwesa, lusobole okulondawo ezinaasinga okwesa obulungi oba okutta ennyo ez'oludda olulala oba okwalika nga teruweeredde mpiki zaalwo ez'omugaso. Kyokka era oludda oluba lubala bwe lulwawo ennyo nga lubalirira oludda olulala luyinza okwetamwa ne lugamba, nga bwe luseetulaseetula n'omweso, nti, "Omweso enkuyege zigulya." Okwo kuba ng'okulabula oludda olwo lwese mangu.

(b) EKISIBE

Mu kyeso kye bayita Ekisibe abagenda okwesa basooka kuwaanyisa mpiki. Buli omu aggya empiki emu ku ludda lwe ng'agiwa munne n'agissa mu zize. Okwo kwe kuba `okusiba' ekyeso. Mu kyeso ekisibe buli aba ayesa bw'ayoola empiki ze mu ssa n'asuulako emu mu ssa aba takyakkirizibwa kuzizza mu ssa mw'aziggye okutwala endala z'aba alabye nga ze zinaasinga okumugasa. Ateekwa kutwala ezo z'aba asoose okusitula.

(c) EKY'OBUTABALA

Mu kyeso ekiyitibwa eky'obutabala, buli ludda lusitula busituzi mpiki ze lulaba amangu nga zigasa, ne lwesa, awatali kumala kuzibalirira. Mu kyeso eky'engeri eyo ayesa omu bw'alwawo okwesa munne ayinza okusitula empiki ezize n'ayesa newankubadde ng'aba amaze oluwalo lwe. Bw'ayesa bw'atyo nga munne tannayesa mu luwalo lwe aba akola kye bayita `okutanza.' Okwesa Eky'obutabala kuggya nnyo naye kaakano kwe kusinga okwagalibwa, naddala mu bibuga, era kunyumisa nnyo omweso ate nga kugwanguya okuggwa, kyokka kwetaaga okulaba amangu empiki ezisaana okwesa.

EBIRALA EBIFA KU KWESA

1. OKUBBIRA

Mu kwesa mulimu okukozesa obukujjukujju n'obukodyo omuntu asobole okugoba, nga bwe kiri mu mizannyo emirala. Bino wammanga bye bimu ku by'obukujjukujju ebitera okukolebwa mu kwesa: (a) Okukweka empiki mu nnasswi omuntu aleme okwaliika mu ssa ly'abadde agenda okwalikamu. (b) Okutoola oba okwongera empiki endala, mu bubba, ku ezo z'ogenda okwesa, zisobole okukugasa nga bw'oyagala. (c) Okutoola oba okwongera empiki ku za munno nga talabayo, ezizo zeeyongere okuba ez'omugaso ng'ozeesa. (d) Okubuuka essa oba okulisuulamu empiki ebbiri osobole okutuuka w'oyagala. (e) Okusuula empiki mu ssa lya munno ng'olinga awubiddwa, osobole okuggyamu empiki z'oyagala. Eby'obukujjukujju ebikolebwa mu kwesa bye biyitibwa `okubbira.' Omuntu bw'alaba nga munne amubbira amuyimiriza n'amulagira okugolola ensobi gy'akoze nga tanneeyongera kwesa mpiki ezo z'aba nazo mu ngalo. Mu byeso eby'empaka kaakano mubaamu abalamuzi be bayita `abasazi.'

2. EBITI

Okubayamba okubala ebyeso n'obugoba, abeesa abamu baba n'ebitundu by'emiti bye bayita `ebiti.' Byonna wamu biba amakumi abiri mu bina. Buli agoba ekyeso mu ngeri eya bulijjo awa munne gw'agobye ekiti kimu. Gwe batemye gamuwa ebiti bibiri. Bwe bamala okwesa ebyeso bye baba baagadde ne balyoka babala ebiti buli omu by'alina. Asinga okuba n'ebiti ebingi nga gwe bagobye mu kwesa kwonna. Aba n'ebiti ekkumi n'ebibiri aba agobeddwa `akagoba' kamu. Ate abeesa abamu bagabana ebiti nga batandika okwesa. Buli agoba munne ku biti bye aggyako kimu n'akissa mu kifo kyakyo. Asinza ebiti ebingi ku nkomerero nga y'agobeddwa mu kwesa.

Bya wandiikibwa Omugenzi Michael Bazzebulala Nsimbi bikutuusiddwako Kajubi James Omuseenene