Pallaso

Munnayuganda omuyimbi

  Pius Mayanja ng'erinya lye ery'okusiteegi bamumannyi nga Pallaso munayuganda omuymbi, awandiika enyimba, okuzifulumya n'okukwata vidiyo. Ayimba mu luganda n'atabulamu n'oluzungu, nga n'ebiseera ebimu atekamu oluswayiri. Asinga kukuba nyimba ekika kya Afrobeats, Hip hop, Dancehall, Afropop, ne RnB.[1] Olugendo lwe olw'okuyimba lwatandika mu 2000 bweyatandikira mu Leone Island, ekibiina ky'abayimbi ekyali kidukanyizibwa mukulu we, Dr. Jose Chameleone. Oluvannyuma yagenda mu Amerika gyeyabeera okumala emyaka 10 n'akomawo mu Uganda mu 2014. Ng'akomyewo, yatandika okuzimba olugendo lwe mu kuyimba lweyenyumirizaamu kati, n'atondawo ekibiinka kya "Team Good Music" ekikola obulungi mu kisaawe kya miziki wa Uganda.

Pallaso

Obulamu bwe obwasooka

kyusa

Pallaso yazaalibwa nga 5 mu Gwomwenda mu 1987 mu ddwaliro ly'e Mulago nga taata we ye mwami Gerald Mayanja ne maama we mukyala Prossy Mayanja. Y'omu kubaana omusanvu abaazalibwa abafumbo abo. Famire yamala obulamu bwayo obusinga mu Kawempe obumu kubwalo bw'omu Kampala. Pallaso ava mu famire y'abayimbi nga ne baganda bbe abalala basatu okulu Chameleon, Weasel n'omugenzi AK47 Mayanja nga balina ebyafaayo ebirungi mu kisaawe ky'okuyimba mu Uganda.[2]

Omuli gw'okuyimba

kyusa

Pallaso yatandika okuyimba wansi w'ekibiina ky'abayimbi ekiyitibwa, Leone Island, ng'ebiseera ebyo yali akozesa linya lya Lizard ku siteegi. Oluyimba lweyasooka okukuba baali baluyita Mudigidde mu 2003 nga lwafulumizibwa muganda we Dr. Jose Chameleone. Oluyimba luno baalukuba nnyo ku mikutu egy'enjawulo wamu n'okubeera n'abawagizi abangi kuba Bobo King n'Omulangira Ndawusi beebasooka okuluzannya ku mukutu gwa Radio Simba .[3]

Mu 2006, Pallaso yalekulira Uganda n'atandika okukolera mu Amerika ng'eno yasigala akyayimba. Bweyali mu Amerika yegyako erinya lya Lizard neyeetuuma Pallaso. Ng'abeera mu Lewiston, Maine, yakola oluyimba n'omu kubayimbi abafubutuka ebigambo eyali ow'omukitundu gwebayita The Mess. Nga bali wamu, baafulumya olutaambi olwaliko ennyimba eziwerako mu 2013 lwebaali bayita enkyuka oba Change .[4]

Mu 2014, Pallaso yeegata ne Shaggy wamu ne DJ Hidrro nebafulumya oluyimba oluyitibwa sigala mu mitima gwaffe "Remain in Our Hearts" olwali lukubiddwa nga bajukira abayimbi abaali baafa nga Michael Jackson, Bob Marley ne The Notorious B.I.G.[5]

Oluvannyuma mu mwaka ogwo, Pallaso yakomawo mu Uganda n'atandika olugendo lwe mu muziki nga yeegata ku kibiina kya Goodlyfe Crew nebafulumya oluyimba lwebaali bayita "Amaaso".Oluyimba luno lwalinya ku mikutu egy'enjawulo nga baalukuba ku ttivi ez'enjawulo ne leediyo okumala wiiki eziwerako.[6] Pallaso oluvannyuma yakola ku nyimba ng'ali yekka nga "Wekoledewo kaki", "Omugongo" n'endala nyingi.[7]

Oluvannyuma, yeegata ne Sheebah Karungi omuyimba w'e Uganda nebatandikawo ekibiina ky'abayimbi kyebayita ''Team No Sleep'', nga kidukanyizibwa maneja wa muziki amannyikiddwa ennyo, Jeff Kiwa eyakyegatako nga y'akidukanya. Ekibiina kino ekya ''Team No Sleep'' oluvannyuma kyegatibwako abayimbi okuli; King Saha, Ak47 n'abayimbi abalala abaali batandika obutandise okuyimba.[8]

Nga bali wamu ne Sheebah, ababiri bano baafulumya oluyimba lwabwe olwasooka lwebayita "Mundongo", nebalugobereza "Go Down Low" olwa wangula ekirabo kya HiPipo Music Awards ng'oluyimba olwali lusinga mu 2015 'Best Afro Pop Song'. Pallaso oluvannyuma yaliko ku baafulumya oluyimba lwebayita "Tamale Mirundi" ng'ali ne King Saha n'abayimbi abalala nga kwekuli n'enyimba endala nga "Kilabe embaliga" ne "Sanyu lyange", wabula nga luno lwali lukadde nga lwayimbwa Sweet Kid nga naye yali muyimba munayuganda wabula oluyimba lwe luno nebaluddamu..[9]

Mu 2014 Ogwekuminoogumu, yatandika okukola ku luyimba ng'ali wamu n'omuyimbi Davido okuva e Nigeria lwebaali bayita "Twatoba", lwebafulumya mu 2015 Ogwolubereberye. Yalufulumya nga kuliko ennyimba endala zeyayimba mu 2015 okwali "Ffe tuliko", "Tiwa Savage", "Mubambazanga", "Tebakusobolola" n'endala nyingi.[10] Nga 19 Ogwokutaano mu 2015, Pallaso yalekulira ekibiina kya ''Team No Sleep'' okutandikawo ekikye ekyetongodde kyebayita, ''Team Good Music''.[11]

Obulamu bwe

kyusa

Ye muto wa Jose Chameleone. Pallaso taata w'abaana babiri okuli; omuwala Maisha Mayanja n'omulenzi Dinari Mayanja[12].Yali ayigibwa poliisi olw'ekigambibwa nti yali abaduseeko, nga bamutekeko empiingu oluvannyuma lw'okukwatibwa nga tagoberera mateeka agaali gatereddwawo okutandika abantu obutakwatibwa kirwadde kya COVID 19 ag'okubeera nga tewali kweriranagana.[13]

Pallaso yalumbibwa abantu abaali banyiize mu Johannesburg, mu South Afrika. Kigambibwa nti baamukuba amayinja nebamutema nga bakozesa amajambiya. Yali yagenda kukwata vidiyo ye empya ey'olumu kuyimba zze.[14]

Awaadi

kyusa
Erinya ly'ekirabo Etuluba mweyagwa Omwaka
HiPipo Awards-Best Artiste in the Diaspora Yagiwangula 2014
Buzz Teeniez Awards –Flyest Music Video ("Amaaso") Yagiwangula
Buzz Teeniez Awards-Hottest Riddim Yagiwangula
Awaadi ya Buzz Teenies- oluyimba olwasinga okwokya nerukwata abavubuka omubabiro oluyitibwa Amaaso Yagiwangula
Awaadi y'omuyimbi atandika-omuyimbi omusajja eyali asinga yagiwangula 2014
HiHipo Awards-Omuyimbi omusajja eyali asinga Yalondebwa 2015
HiHipo Award- oluyimba olwakubibwa abayimbi ababiri olwali lusinga yagiwangula
Zinna Awards-Omuyimbi omusajja eyali asinga Yalondebwa 2015
Zzina Award- oluyimba olwa kubibwa abayimbi olawali lusinga Yalondebwa 2015
Zzina Award-Oluyimba olwali lusikiriza oluyitibwa '' Mama' Yagiwangula 2016
Zinna Awards-Oluyimba lw'omwaka olwali lusikiriza lwebayita 'Soma' Yagiwangula 2016
Zinna Awards-Oluyimba lw'omwaka olwali lusikiriza lwebayita 'Soma' Yagiwangula
MTV Africa Music Award- eyalondebwa abawuwuliza Ekyali 2021
Janzi Awards-Omuyimbi omusajja eyali asinga mu mwaka Yagiwangula 2021
Zzina Awards- Omuyimbi w'omwaka Yagiwangula 2021
Zzina Award-Oluyimba lw'omwaka Yagiwangula 2021
Zzina Award- Ouyimbi omusajja eyali asinga Yagiwangula 2021
Zziina Award-Omuyimbi w'omwaka Yagiwangula 2022
Zzina Award- Omuyimbi omusajja eyali asinga mu mwaka Yagiwangula 2022
Awaadi ya MTN, ey'omusajja eyalondebwa abantu Yagiwangula 2022

Enyimba zze

kyusa

Ebiberawo obutereevu

kyusa
  • Ekivulu kye ekiyitibwa 'Pallaso Live Club Beats' ekibeera ku mikutu gya yintaneeti nga (21 Ogwekumineebiri mu 2020)

Olutaambi

kyusa
  • "Mama" (mu Gwomunaana nga 28, 2016)

Ng'ali yekka

kyusa
  • "Move Your Body" (Nga 14 Ogwokuna mu 2013)
  • "Change" (ng'ali ne The Mess) (nga 17 Ogwokutano mu 2013)
  • '"No More" (with Dirty Boy Raw) (mu 2013 Ogwokutaano)
  • "It's Cold" – (nga bajukira Ayla Reynolds (nga 3 Ogwomwenda 2013)
  • "Follow Me" ( ng'ali ne The Mess) (nga 26 Ogwomwenda mu 2013)
  • "Amaaso" (Radio & Weasel feat. Pallaso & The Mess) (nga 23, Ogwomwenda mu 2013)
  • "Home" (ng'ali ne The Mess) (nga 21, Ogwekumineebiri mu 2013)
  • "Mundongo" (ng'ali ne Sheebah) (nga 28 Ogwokusatu mu 2014)
  • "Wekoledewo Kaki" (nga 13 Ogwomukaaga MU 2014)
  • "Go Down Low" (ng'ali ne Sheebah) (nga 12 Ogwomunaana mu 2014)
  • "Pray For Me" (nga 7 Ogwomwenda mu 2014)
  • "Tamale" (ng'ali ne King Saha) ( nga 16 Ogwomwenda mu 2014)
  • "Ntwala" (ng'ali ne Spilla) (nga 17 Ogwomwenda mu 2014)
  • "Sanyu Lyange" (nga 13 Ogwekuminoogumu mu 2014)
  • "Very Sorry" (nga 4 Ogwekumineebiri mu 2014)
  • "Twatoba" (ng'ali ne Davido) (nga 25 Ogwokubiri muV 2015)
  • "Koona" (ngali ne Spice Diana) (nga 14 Ogwomukaaga mu 2015)
  • "Malamu" (2020)
  • "Ani Oyo" (2020)
  • "Nalonda Nemala" (2021)
  • "Mpa Love" (2021)
  • "Bega Bega" (2022)
Endala
  • "Mudigidde"
  • "Omugongo"
  • "Nyola"
  • "Tebakusobola"
  • "Mubambazanga"
  • "AKOLO"
  • "Tiwa Savage"
  • "Ffe Tuliko"
  • "Nze Ani"
  • "Sweet Love"
  • "Sipiyo"
  • "Onfitinya"
  • "Kirabe embaliga"
  • "Yes We Can"
  • "My Gurly Gurly"
  • "Move Ya Body"
  • "African Tears"
  • "No Answers"
  • "Birthday"
  • "Ready For You"
  • "Never Came Clean"
  • "My Girl"
  • "Believe in Me"
  • "Omusawo"
  • "Ndikuwaki" (2021)
  • "Bareke Abo" (2022)
  • "Katonda" (2022)
  • "Sherry" (2022)
  • "Zari" (2022)

Ebijuliziddwamu

kyusa
  1. "Archive copy". Archived from the original on 2015-08-01. Retrieved 2022-11-28.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  2. https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1316556/-believe-polygamy-pallaso
  3. http://www.sqoop.co.ug/201605/features/sheebah-and-pallaso-why-they-dont-see-eye-to-eye.html
  4. USM Free Press: Local Review: Change by Pallaso and The Mess
  5. "MTN Uganda Boosts Pallaso's Up Coming Concert". Archived from the original on 2017-08-21. Retrieved 2023-07-12.
  6. "Archive copy". Archived from the original on 2022-10-04. Retrieved 2022-11-28.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  7. "Archive copy". Archived from the original on 2022-11-28. Retrieved 2022-11-28.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  8. "Archive copy". Archived from the original on 2022-11-28. Retrieved 2022-11-28.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  9. https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1424369/sheebah-pallaso-kiss
  10. "Archive copy". Archived from the original on 2019-06-19. Retrieved 2022-11-28.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  11. https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1467291/pallaso-stages-mature-performance-soma-concert
  12. http://www.ghafla.com/ug/celebrities-half-caste-children/
  13. https://nilepost.co.ug/2020/07/30/security-hunts-for-singer-palaso-for-running-away-with-police-handcuffs-during-arrest/
  14. Xenophobia is real, cries out Ugandan singer Pallaso as he is attacked in South Africa.

Ewalala w'oyinza okubigya

kyusa