Rhoda Kalema

munnabyabufuzi eyawummula nga amanyiddwa

Rhoda Nakibuuka Nsibirwa Kalema (yazaalibwa mu Ogwokutaano 1929) munnabyabufuzi eyawummula nga amanyiddwa nga "Maama w'olukiiko lw'eggwanga".

Obulamu bwe obwasooka

kyusa

Rhoda Kalema yali omu ku baana 24 aba Martin Luther Nsibirwa, eyalondebwa Ssabaminisita (Prime Minister) emirundi ebiri mu bwakabaka bwa Buganda mu Uganda. Yazaalibwa mu Ogwokutaano 1929 mu Butikkiro, ekifo ekikakafu Katikkiro w'asula, mu kitundu ky'e Mengo okuliraana Kampala.[1]

Kalema yagenda mu ssomero lya Gayaza Junior School okumala omwaka gumu, n'oluvannyuma mu King's College Budo mu ssomero lye eryasigaddeyo erya pulayimale ne sekendule. Yayingira emisomo gy'eby'obusuubuzi mu kutendekebwa kw'omuwandiisi, era n'akola ng'omuwandiisi n'e baasa mu ssomero lya Gayaza High School okutuusa mu 1949. Mu 1950, yafumbirwa William Kalema, omusomesa mu King's College Budo oluvannyuma eyafuuka munnabyabufuzi omwatiikirivu era Minisita w'eby'obusuubuzi mu gavumenti. Mu 1955 yatandika okusoma omwaka gumu mu Social Work and Social Administration mu Newbattle Abbey, Adult Education College mu Bungereza, n'agoberezaako Diploma mu Social Studies mu University of Edinburgh.

Emirimu mu byobufuzi

kyusa

Mu 1961, Grace Ibingira ne Adoko Nyekon baayingiza Rhoda Kalema mu kibiina kya Uganda People's Congress. Yali minisita omuto ow'ebyobuwangwa n'enkulaakulana mu mulembe ogwa Binaisa. Kyokka, oluvannyuma lw'okufa kw'omwami we mu 1972 - eyawambibwa n'attibwa ku mulembe gwa Idi Amin, yasalawo okukoma okwenyigira mu by'obufuzi okutuusa mu 1979, gavumenti ya Idd Amin lweyagyibwako, yeegatta ku National Consultative Council (NCC) eyatandikibwawo ekibiina kya Uganda National Liberation Front wansi wa Edward Rugumayo, ng'omu ku bakyala babiri abakikiikirira.[2] Mu 1980 yali omu ku bantu abaatandikawo ekibiina kya Uganda Patriotic Movement (UPM).[3]

Yakwatibwa emirundi esatu ekitongole kya State Research Bureau: nga 23 Ogusooka 1979; nga 21 Ogwokubiri, 1981 (ng'ali wamu ne bannabyabufuzi abalala bwebakwatibwa oluvannyuma lw'okulumba ebifo bya poliisi enfunda eziwera) ne nga 4 Ogwokubiri, 1983.

Yafuuka omumyuka wa minisita w'emirimu gy'abantu okuva mu 1989 okutuuka mu 1991 wansi wa Pulezidenti Yoweri Museveni. Mu 1994, yesimbawo mu kulonda kw'olukiiko lwa ssemateeka ng'omubaka wa Kiboga, era n'awangula abasajja 8 oluvannyuma lw'okufuna ebitundu bibiri ku bisatu eby'okulonda kwonna. Oluvannyuma yawummula eby'obufuzi ng'amaze okutendeka abantu bangi eby'obufuzi okuli Ruth Nankabirwa, nnampala mu Kabineeti ya Uganda.

Rhoda Kalema yaweebwa ekitiibwa mu 1996 ekibiina kya Uganda's Forum for Women in Democracy "ng'omukulembeze ow'enkyukakyuka". Nga 13 Ogwokusatu 2018, yafuna awaadi okuva mu kitongole ekya Sudreau Global Justice Lifetime Achievement Award okuva mu Pepperdine University School of Law ne Uganda Judiciary.

Laba era

kyusa

Enkolagana ez'ebweru

kyusa

Ebyawandiikibwa

kyusa
  1. Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named URN
  2. Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named mon
  3. . ISBN Aili M. Tripp. {{cite book}}: Check |isbn= value: invalid character (help); Missing or empty |title= (help)