Sophia Namutebi
Sophia Namutebi, amanyiddwa nga Sofia Namutebi, Sylvia Namutebi ne Maama Fiina, munnayuganda omusuubuzi ,omusawo ajanjabisa eby'obuwangwa, era omukulembeze mu kitundu. Mu 2013 yateekebwa ku lukalala lw'abasinga obugagga mu ggwanga.
Ebyafaayo
kyusaNamutebi yazaalibwa mu disitulikiti eye Mukono awo nga mu 1979 mu maka agali amanaku.[1] Yava mu ssomero ku myaaka emito ddala era bweyali akyali muvubuka, yazaala omuwala Safina (ayitibwa Fiina). Yakola ng'omukozi ow'awaka okusobola okwebezaawo n'okulabirira muwala we. Ku myaka 16, yasenguka n'adda e Kampala, ekibuga ekikulu eky'eggwanga, gye yatandikira okutunda ebyamaguzi ku nguudo.
Mu 1995, yeewola UGX:38,000 yasuubula ensawo z'akaveera ng'abutembeeya ku nguudo. Yakulaakulana ensimbi ze okutuuka ku bukadde bwa Uganda 3 mu kaseera katono. Yagula takisi (matatu oba kamunye), olwo amagoba gaayo n'agagulamu emotoka ey'okubiri n'ey'okusatu.
Mu 1998, yatandika okusuubula engoye okuva e Dubai okukola engoye z'abakyala eza gomesi oba busuuti, ezambalwa mu Uganda. Namutebi ajjukira nti mu 1999, yalina emmotoka za takisi nnya ezaali zikolera ku luguudo olwa Kampala-Jinja, buli emu nga ebalibwamu miliyoni 8.5, bw'ozigeraageranya ne sente zeyeewola mu 1995.
Bizineesi ze
kyusaOlw'okuba emmotoka za takisi n'obusuubuzi bwa gomesi byeyongera okuyingiza ensimbi, yatandikawo bizineesi ya pikipiki. Yagulanga pikipiki ku UGX:720,000 buli emu olwo n'agisinga ng'emuwa UGX:1,400,000 ku nkomerero y'okugigula. Yatandika n'obu pikipiki 20, olwo bizinensi ye n'ekula okutuuka ku mmotoka 500.
Ebirala mweyasiga ensimbi mwe muli amaduuka g'engoye mu Kampala, Masaka, ne Mityana. Alina amasomero ga sekendule mu Mukono ne Mityana. Alsiga ensimbi mu kuzimba ebizimbe ebisulwamu n'ebikolebwamu emirimu egivaamu sente mu bitundu by'eggwanga eby'enjawulo. Era, yenyigira mu kusuuubula emmotokaezikozeeko okuva ebweru munsi nga Japan z'addamu n'atunza abantu. Maama Fiina agamba tafuna sente nyingi mu bizinensi ze nga bw'afuna mu busawo obw'ekinansi.
Amaka
kyusaMu Ogw'omwenda 2017, Namutebi yafumbirwa Omusuubuzi Ismail Ssegujja. Omukolo gw'embaga ku muzikiti ogwe Kololo. Yafumbirwako omugenzi Major Muhammad Kiggundu eyakubwa amasasi mu Ogw'ekkuminagumu 2016. Yasooka kufumbirwa Ali Kyonjo, eyali omwami we mu 2014.
Laba era
kyusaEbyawandiikibwa
kyusa- ↑ Cite error: Invalid
<ref>
tag; no text was provided for refs namedBeg