Gulu University (GU) Ssetendekero mu Uganda. Y'emu ku Ssetendekero za Gavumenti omwenda mu ggwanga bwe gwatuukira mu Ogwomwenda 2016.[1]

Gy'esangibwa kyusa

Okuva mu Gwekkumi 2016, Ssetendekero wa Gulu yaggulawo amatabi asatu.

(a) Ettabi ekkulu lisangibwa okumpi n'ekkubi mu buwanvu bwa kkilomita 5 ze mmayiro ssatu n'akatundu kamu mu Bukiika kkono bw'obuva njuba okuliraana ttawuni esinga okukolebwamu eby'obusuubuzi mu Disitulikiti y'e Gulu ekibuga ekisinga obunene mu kitundu ky'obukiika kkono kya Yuganda. Kino kitegeeza nti okuva e Kampala waliwo obuwanvu bwa kkiro mmita 333 ng'oyise ku luguudo ze mmayiro 207.[2]

(b) Ettabi eryokubiri sigangibwa mu ttawuni y'e Kitgum, kkiromita 104, mmayiro 65, ng'okozesa oluguudo okuva mu bukiika kkono w'obuva njuba bw'ekibuga Gulu,[3] okuliraana Booda y'e ggwanga lya South Sudan. Ettabi lino lyatandika okkola omwaka 2011.[4]

(c) Oluvannyuma lw'okusaba kw'obwaka bwa Bunyoro, Ssetendekero ono yatandikayo ettabi mu kibuga Hoima, nga basomesa eby'obulimi, eby'obulungululo, ebya Kompyuta, Tekinologiya, ebyenfuna, okubala ebitabo ne by'enjigiriza.[4]

Ebyafaayo kyusa

GU yatandikibwa akawaayiro 7 ka ssemateeka w'eggwanga mu 2001 eya sseteesezo wa Uganda. Akawaayiro kano kaakyusibwamu ne n'akawaayiro 3, 2006. Ssetendekero yatandika okusomesa abayizi abaasooka mu Gwomwenda 2002 era okusomesa ne kutandikirawo.[5]

Okugenda mu maaso kyusa

Nga 23 omwezi ogusooka 2010, ku matikkira g'omulundi ogw'okutaano, Ssettendekero ono yawa abayizi abasoba mu 1,050 ddiguli zaabwe ezisooka nga mulimu n'abasawo 40, eesomero ly'abasawo eryasooka okutikkirwa mu Ssetendekero ono nga eyambibwako, University of Naples Federico II).[6] Abaatikkirwa kwaliko n'abayizi 13 abaafuna ddiguli ey'okubiri mu by'enfuna.[7]

Ekibiina ky'enkolaga kye baalina ne Ssettendekero wa Lira kyusa

Mu 2009, GU yatandikawo essomero mu kibuga Lira,[8] nga kkiromita 100 ze mayiro(62) okuva Bukiika ddyo bw'obuva njuba bw'ekibuga Gulu.[9] Ettabi lino lyatuumibwa Lira University College,[10] era lyayingiza abayizi abaasooka mu Gwomunaana 2012 era baali 100.[11] Lyayongera okukola mu ttuluba lino okutuusa Ssetteesezo wa Gavumenti bwe mu kawaayiro 35 mu Gwomusanvu 2016 bwe yalifuula Ssenttendekero wa Gavumenti ajjudde. Okuva nga 1 Ogwomunaana 2016, ebadde eyitibwa Ssettendekero wa Lira.[8][12]

Amasomo agasomesebwa kyusa

Amasomo ku ddiguli esooka kyusa

Okuva mu mwezi ogusooka 2016, gano wammanga ge masomo agasomesebwa ku ddiguli esooka ku GU nga bwe galangibwa Ssettendekero ez'enjawulo mu lupapula lwa New Vision.

Essomero ly'ebyobulimi n'obulunzi n'obwekulungulo kyusa

Essomero ly'ebyenfuna n'enkulakulana y'abantu kyusa

Essomero ly'amateeka kyusa

Essomero ly'ebyenjigiriza n'ebyobuntu kyusa

  • Ddiguli mu by'enjigiriza mu masomo agatali ga sayansi
  • Ddiguli mu by'enjigiriza bya Bizinesi

Essomero y'eddagala kyusa

Essomero lya Ssaayansi kyusa

  • Ddiguli mu by'okusomesa Ssaayansi w'ebirina obulamu
  • Ddiguli mu by'okusomesa Ssaayansi n'obwoleke
  • Ddiguli mu by'okusomesa Ssaayansi mu by'enfuna
  • Ddiguli mu by'okusomesa Ssaayansi mu by'emizannyo
  • Ddiguli mu bya Ssaayansi ne Kompyuta
  • Ddiguli mu bya Ssaayansi ne Tekinologiya

Dipulooma eyookubiri kyusa

Bino wammanga ge masomo agasomesebwa mu dipulooma eyookubiri mu GU okuva 2016 omwezi ogusooka.

Essomero ly'ebyeddagala kyusa

  • Ddiguli eyookubiri mu by'eddagala n'okulongoosa
  • Ddiguli eyookubiri mu mbeera z'obuntu

Essomero ly'ebyenfuna n'enkulaakulana kyusa

Essomero lya Ssaayansi kyusa

  • Ddiguli eyookubiri mu by'ebisolo
  • Ddiguli eyookubiri mu by'obulimu n'obulunzi obw'okutondawo emirimu
  • Ddiguli eyookubiri mu by'endya n'emmere

Abayizi kyusa

Mu gw'omusanvu 2014, GU yayingiza abayizi abasoba 2,500 nga beewerera bokka n'abalala 250 abayambibwako Gavumenti. Omugatte gw'abayizi okutuuka mu 2014 gwali 5,000, nga kuliko abakola dipuloma, Ddiguli esooka, okwongerako ddipulooma.[14]

Abasomesa kyusa

Okutuuka mu mwezi ogusooka 2013, GU yalina abasomesa ababeerawo akaseera konna 421, nga 241 baali basomesa mu bibiina ate abalala 180 nga si baabibiina.[4] Bwe gwatuukira mu gwomunaana 2013, Ssettendekero ono alina ebbula ly'abasomesa 73, okusinziira ku myuka wa ccansala waayo Jack Nyeko Pen-Mogi.[15]

Laba na bino kyusa

Ebijuliziddwa kyusa

  1. Editorial (10 September 2016).
  2. https://www.google.com/maps/dir/Gulu/Kampala/@1.5599835,31.174661,8z/data=!3m1!4b1!4m14!4m13!1m5!1m1!1s0x1771a65c0fc42a27:0xce6ef3d1c3d80e06!2m2!1d32.2880726!2d2.7724038!1m5!1m1!1s0x177dbc0f9d74b39b:0x4538903dd96b6fec!2m2!1d32.5825197!2d0.3475964!3e0
  3. Google (26 December 2020).
  4. 4.0 4.1 4.2 Advertisement (9 January 2016).
  5. David Tash Lumu (28 January 2009)
  6. Amoru, Paul (22 January 2010).
  7. Chris Ocowun (24 January 2010).
  8. 8.0 8.1 http://lirauni.ac.ug/academic-registrar/
  9. Google (26 December 2020).
  10. John Otim, and Ekkehard Doehring (November 2013).
  11. Okino, Patrick.
  12. Okello, Dickens (26 June 2015).
  13. Ocungi, Julius (4 June 2016).
  14. Innocent Anguyo, and Conan Businge (31 July 2014).
  15. Kashaka, Umaru (5 August 2013).

External links kyusa

Lua error: Invalid configuration file.Template:Universities in Uganda