Susan Nakawuki Nsambu (Yazaalibwa mu 1984) Munnayuganda, Munnamateeka, Munnabyabufuzi era Abaga amateeka eyaweereza mu Paalamenti ya Uganda ey'omunaana ng'omubaka omukyala akiikirira Essaza ly'Obuvanjuba wa Busiiro mu Disitulikiti y'e Wakiso.[1][2][3] Yali mmemba mu kakiiko ak'okusatu n'akokuna aka East African Legislative Assemblies.[4]

Omubto bwe n'emisomo gyen kyusa

Nakawuki yazaalibwa eri omwami Henry Kasirye mu kyalo ky'e Nakabago mu Disitulikiti y'e Mukono.[5]

Nakawuki yatikkirwa okuva ku Yunivasite y'e Makerere ne Diguli mu mateeka mu 1998.[6][7] Amateeka yagasomera ku Law Development Center.

Emirimu gye kyusa

Emirimu gye mu kisaawe ky'ebyobufuzi kyusa

Mu Paalamenti ya Uganda kyusa

Nakawuki yaweereza nga mmemba mu Paalamenti ya Uganda ng'akiikirira Konsityuwensi y'oBuvanjuba bwa Bukoto okuv mu 2006 okutuusa 2011 nga mmemba mu kibiina kya Forum for Democratic Change.[6][8] Yawangula n'obululu 24,660 nga yawangula Ddungu Henry Matovu (obululu 463), lubega Samuel .W.M. (obululu 2,357 Nabukeera Sophia Kizza (obululu 540) ne Sebalu Mike Kennedy(obululu 17,860).[9]

Nakawuki yaweereza ku bukiiko busatu mu Paalamenti ya Uganda era nga mulimu; Akakiiko akakwasaganya amateeka n'ensonga za Paalamenti, akakiiko akakwasaganya ensonga z'ekikula ky'abantu ne ku kakiiko akakwasaganya ensonga z'ebulaaya.

Nakawuki yesimbaw mu kalulu ka bonna aka 2021 okubeera mmemba mu Paalamenti akiikirira Obukiikaddyo bwa Mawokota wansi w'ekibiina kya National Resistance Movement wabula yawangulwa Nsibambi Yusuf ow'ekibiina kya Forum for Democratic Change.[10]

Paalamenti y'Obuvanjuba bwa East Africa kyusa

Nakawuki yaweereza mu Paalamenti ey'okusatu eya (2012 - 2017) East African Legislative Assembly (EALA) ng'akyali mmemba mu kibiina ky'ebyobufuzi ekya Forum for Democratic Change.[11] Mu 2017, Nakawuki yaweereza mu Paalamenti ey'okuna eya (18 Ogwekkuminebiri2017- 18 Ogwekkuminebiri 2022) East African Legislative Assembly naye mu kaseera ako teyalina kibiina ky'abyabufuzi kyonna ky'eyali avaamu.[4][12][13][14][15][16][17] Ng'ali mu EALA, yaweereza ku kakiiko ka General Purpose Committee, akakiiko k'ebyensimbi, akakiiko k'ebyannamateeka, n'akakiiko ka Rules and Privileges Committee. Era yaweereza ne ku kakiiko k'ebyobulimi, obulambuzi n'ebyobugagga eby'ensibo.

Emirimu gye nga munnamateeka kyusa

Nakawuki munnamateeka omutendeke. mu 2012, yali aweereza ne kampuni ya Ochieng and company advocates.[1] Mu 2015, yaweereza nga munnamateeka era ey'ebuuzibwako ku nsonga z'ebyamateeka mu Kampala Associated Advocates (KAA).

Ebimukwatako eby'omunda kyusa

Nakawuki yali mufumbo eri Emmanuel Matthew Matovu gwalinamu abaana. Mu 2014, yafumbiriganwa ne Alintuma Nsambu oluvanyuma lw'okwawukana ne Emmanuel Matovu.[18]

Obukuubagano kyusa

Nakawuki ayenda ku bbawe kyusa

Nga 30 Ogwomukaaga 2006, Nakawuki yavunaanibwa okwenda ku bba we bweyali mu kusirika lwa FDC olw'ali ku Lake hotel, kigo. Nga 01 Ogwomusanvu 2006, Nakawuki yatuuza olukiiko lw'abannamawulire ne bbawe ku resort beach hotel e Entebbe ng'eno gyeyategereza bannamawulire nti yali agenze kulaba mupiira gw'ensi yonna ogwali wakati wa Germany ne Brazil mu kisenge ky'abannakibiina banne abasajja babiri. Bbawe yagamba nti mukyalawe yali amwesiga okubeera omwesimbu gyali era nti yali yamukyalirako mu kakwungeezi okukebera ku Nakawuki.[3]

Emmanuel Matovu yali mufumbo nga tannaba kusisinkana Nakawuki kyusa

Mu 2007, Oluvanyuma lwa Nakawuki lw'okumwanjula Emmanuel Matthew Matovu, ebiwandiiko ebikwata ku Emmanuel Matovu byali biraga nti yali akyali mufumbo eri Maureen Namawejje nga baali bafumbiriganwa nga 13 Ogwekkuminebiri 2003 ku Luttiko e Namirembe era Satifikeeti y'abwe ey'obufumbo Omulabirizi Balagadde Sekadde ye yagisaako omukono. Matovu yali agamba nti Maureen yamusuulawo mu 2005 olw'okusuubiriza kweyali alina nti Matovu yali ayenda. Emmanuel ne Maureen baali bazaala omwana n'olwekyo yagaana okussa omukono ku mpapula z'okwawukana kubanga yali tannaba kuwandiika kwewaayo nti ajja kulabirira mutabani we.[5]

Laba na bino kyusa

Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya kyusa

Ebijuliziddwamu kyusa

  1. 1.0 1.1 https://www.newvision.co.ug/articledetails/undefined
  2. https://www.newvision.co.ug/articledetails/undefined
  3. 3.0 3.1 https://www.newvision.co.ug/articledetails/undefined
  4. 4.0 4.1 https://www.eala.org/members/view/nakawuki-susan
  5. 5.0 5.1 https://www.newvision.co.ug/news/1169878/mp-nakawuki-eur-fiance-married
  6. 6.0 6.1 https://www.newvision.co.ug/news/1191828/sengas-eur-mp-nakawuki Cite error: Invalid <ref> tag; name ":2" defined multiple times with different content
  7. https://carleton.ca/africanstudies/wp-content/uploads/AGENDA-Agenda-2063-conference-FINAL.pdf
  8. https://www.newvision.co.ug/articledetails/undefined
  9. https://www.ec.or.ug/pub/General%20election%20Report%202005-2006.pdf
  10. https://visiblepolls.org/ug/2021-general-election/candidates/nakawuki-susan-nsambu-8212/
  11. https://www.monitor.co.ug/uganda/special-reports/elections/incumbent-mp-sseggona-fighting-to-break-busiro-east-one-term-cycle-1639386
  12. https://www.monitor.co.ug/uganda/oped/editorial/eala-election-rules-need-to-be-rethought-1690694
  13. https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/intrigue-tribalism-cited-in-eala-speaker-election-1518276
  14. https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/uganda-bitter-after-eala-clerk-job-goes-to-tanzania--3583136
  15. https://www.thecitizen.co.tz/tanzania/oped/eala-elections-have-now-exposed-uganda-s-political-battle-lines-2580532
  16. https://www.eac.int/eac-press-releases?start=432
  17. https://www.independent.co.ug/democratic-party-starts-search-for-eala-candidates/
  18. https://chimpreports.com/photos-nsambu-marries-mp-nakawuki/