Uganda Revenue Authority Football Club (mu bumpi bagiwandiika nga URA FC) ttiimu ya Uganda ey'omupiira gw'ebigere esingabibwa mu Kampala. Kiraabu eno ezannyira mu Liigi ya Uganda ey'ababinywera era nga yatandikibwawo mu 1997.[1] Ewangudde liigi ya Uganda ey'ababinywera emirundi 4 ne Uganda Cup emirundi 3.[2] Ku semazinga wa Afrika, URA ekiikiridde Uganda emirundi 7, 6 kugino mu kikopo ekyetabibwamu kiraabu empanguzi n'ogumu mu CAF confederations cup.[3]

URA centre

Eby'afaayo bya Liigi eno

kyusa

URA yegatta ne Lyantonde FC mu 2001. URA yali yagyibwa mu liigi y'omubuggwanjuba.[4]Lyantonde, abaatuuka ku fayinolo za Uganda Cup mu 2000, tebaasobola kungaanya ssente okweyongera yo mu kibinja kya Buganda Super mini-league. Bakkiriziganya nti URA eyali ey'okusasula ssente z'okwewandiisa batwale n'ekifo kya Lyantonde mu liigi.[5] Oluvannyuma lw'okusumusibwa, ttiimu y'atwala erinnya lya URA era netandika okuzannya mu kibinja kya Buganda mini-league.[6]

Sizoni ya kiraabu eno yasooka okwetaba mu kibinja kyababinywera mu 2002. Ebadde emu ku ttiimu ezibadde zisinga okubeera epanguzi mu liigi okuva lwe yasumusibwa nga temalirangako mu kifo ky'awansi ku kimeeza.

Ekisaawe

URA FC yakozesa nga kisaawe kya Mehta e Lugazi ng'amaka gaabwe gyebakyaliza ng'emipiira okuva mu 2011 okutuusa mu 2017, gyebava okudda mu kisaawe ky'eggwanga kyabakazaako erya Mandela National Stadium, anasinga kyebamannyi nga Namboole okuva mu 2019 okutuusa mu 2020.[7] Kiraabu eno ey'omupiira yakozesaako n'ekisaawe kya Nakisunga Saza Grounds e Mukono ng'amaka gaabwe paka emabegako awo bwebaddayo ku kisaawe kya Mehta e Lugazi ng'amaka gaabwe gyebakyaliza emipiira.[8] Kiraabu y'omupiira era yakyalizaako ku kisaawe kya Arena of Visions ku Ndejje University nga kino kyali kituuza abantu 40,000

Obuwanguzi bwe yatuukako

kyusa
Liigi ya Uganda ey'ababinywera
  • Abawanguzi (4): 2006, 2006–07, 2008–09, 2010–11
  • Ow'okubiri: 2012–13
Uganda Cup
  • Abawanguzi (3): 2005, 2011–12, 2013–14
  • Ow'okubiri: 2000,[lower-alpha 1] 2008–09, 2010–11
Kagame Interclub Cup
  • Ow'okubiri: 2007, 2008

Empaka z'okulukalu lwa Africa

kyusa

Abasambi abali ku ttiimu kati

kyusa
2022
No. Pos. Eggwanga Omuzannyi
GK   UGA Alionzi Nafian Legason
GK   UGA Ssebalunyo Hannightgn
GK   UGA Alitho James
DF   UGA Nyakoojo Benjamin
DF   UGA Mbowa Paul Patrick
DF   UGA Mutyaba Julius
DF   UGA Mugalu Allan Lyazi
DF   UGA Kigongo Ronald
DF   UGA Munaaba Allan
DF   UGA Waibi Yeseri
DF   UGA Nyanzi Abdullah
MF   UGA Mulikyi Hudu
MF   UGA Ssentamu Siraje
MF   UGA Kagimu Shafiq
No. Pos. Nation Player
MF   UGA Munguchi Steven
MF   UGA Saidi Kyeyune
MF   UGA Musana Ronald
MF   UGA Sseruyidde Moses
MF   UGA Mukoghotya Robert
MF   UGA Odongo Mathew Tayo
MF   UGA Abdul Malik Vitalis Tabu
MF   UGA Omonuk Robert
FW   UGA Kawandwa Joshau
FW   UGA Joackim Ojera
FW   UGA Lwasa Peter
FW   UGA Sempa Charles

Ebijuliziddwamu

kyusa
  1. https://www.kawowo.com/2018/10/29/kakembo-takes-over-ura-football-club-ceo-mantle/
  2. https://en.wikipedia.org/wiki/Uganda_Revenue_Authority_SC#cite_note-3
  3. https://en.wikipedia.org/wiki/Uganda_Revenue_Authority_SC#cite_note-3
  4. http://allafrica.com/stories/200110300404.html
  5. "Archive copy". Archived from the original on 2018-06-24. Retrieved 2022-11-26.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  6. https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1023575/lyantonde-ura-favourites-nssl
  7. https://en.wikipedia.org/wiki/Uganda_Revenue_Authority_SC#cite_note-7
  8. https://en.wikipedia.org/wiki/Uganda_Revenue_Authority_SC#cite_note-8

Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya

kyusa
  • Omukutu gwa Webusayiti omutongole