Joyce Nanjobe Kawooya
EDDAGALA ERIFUUYIRA EBIRIME NGA LIVA MU BINTU EBITWETOOLODDE[edit source] Okimanyi ng’eddagala ezzungu erifuuyira ebirime lyabbeeyi nnenne, gwe omulimi ow’enfuuna entono tosobola kulisasulira, ng’ate sikukoma mu butasasula kwoka nga waliwo n’ebizibu ebirengeddwa ebyakabi ku mbeera y’Obutonde bw’Ensi yaffe ne ku bulamu bwaffe bweriyinza okututusaako. N’olw’kyo kati mulimo gwaffe okugezaako okunoonya amagezi g’okuvvunuka ebizibu bino ebiyinza okuvaamu ebirangiddwa waggulu. Amagezi agatandiise okunoonyezebwa ku nsonga eno kwekugezaako okukola eddagala eryaffe nga tulijja mu bikoola by’emiti, omuddo, n’ebyo byetusobola okwefuunira ebitali biragirize bunaayira. EBYETAAGISA OKUKOLA EDDAGALA LINO ERA EBIGEREZEDDWAKO 1. Ebikoola by’omuti oguyitibwa Melia Aza (lira) oba {Neem] (Muttankuyege) 2. Ekinu 3. Amazzi 4. Omusulo gw’ente oba embuzi. 5. Evvu (lyanu) 6. Kaamulali (abalagala) 7. Ekitabulirwamu (kidomola oba drum) ENKOLA N’ENTABULA YALYO 1. Sekula ebikoola by’omuti guno Melia Aza (lira) oba Neem ( Muttan kuyege) owezeemu obuzito bwa kilo 3. 2. Ffuna amazzi amayonjo litres 20 ( jerican emu) gateeke mu kidomola oba (ppipa) oba ekimu kyosobola okufuna. Ssaamu kilo 3 ez’ebikoola byewasekudde. 3. Mwebyo ogattemu omusulo ge’ente oba embuzi ebikopo by’gama 8. Ekitegeeza nti buli ebikopo bibbiri bitabula ebikopo by’amazzi 10 be ddu. 4. Ffuna ebikopo by’evvu bisatu bya kikopo bisse mu kintu mwosobola okulikologera osseemu amazzi ekikopo kimu okologe okumala eddakiika 30, bwomala ligatte wamu n’ebyo byona ebimenyeddwa waggulu mu 1,2,3 ne 4. 5. Ffuna kaamulali (piripiri) gulamu 225 omugatte mw’ebyo bye wasoose okutabula obisaanikire oba mu bbinika obutayitamu mpewo, linda ennaku 2 otabulemu oba osuukunde okumala ekiseera, oddemu obikke era ennaku 2 oddemu okutabula, oba okutabula, oba okusuukundamu ng’umulundi ogwasooka, olwo ziba ngaziweze ennaku nnya (4) ; mu kseera kino liba lituuse okukozesebwa ku birime, lisengejje bulungi otandike okussa ku birime. 6. Ekyokwekkanya: eddagala lino ligezesedwa mu kasooli akutta kigabi ate era ne mu birime ebirara.