Wandegeya kitundu ekiri mu kibuga Kampala, ekibuga ekikulu ekya Uganda era nga kye kisinga obunene. Erinnya lino lyava ku binyonyi ebiyitibwa endegeya , ( Endegeya mu Luganda ), ebyabeeranga mu kitundu kino nga emyaka gya 1990 teginnatuuka.

Wandegeya

Ekifo wekisangibwa

kyusa

Wandegeya esangibwa mu Division y'eKawempe, emu ku divizoni ettaano eziddukanya emirimu mu kibuga Kampala. Luli ku nsalo ya Bombo Road/Gayaza Road Roundabout mu bukiikakkono, olusozi Mulago mu bukiikakkono bw’obuvanjuba, Kamwookya mu buvanjuba, olusozi Nakasero mu maserengetta obw’obuvanjuba n’obugwanjuba, ne Yunivasite y’e Makerere mu maserengeta n’obukiikakkono bw’amaserengeta. Kino kikunukiriza kilometres 2.5(1.6 mi), ku luguudo, mu bukiikakkono bw’ekitundu kya Kampala eky’ebyobusuubuzi wakati. [1] Ensengeka za Wandegeya ku maapu ziri 0°19'52.0"N, 32°34'25.0"E (Latitude:0.331112; Longitude:32.573600). [2]

Okulambika okutwaliza awamu

kyusa

  Wandegeya osobola okujawulamu ebitundu bisatu ebikulu:

(a) Ekitundu A
  • Ekitundu ekiri mu buvanjuba bwa Bombo Road, naye mu bukiikaddyo bwa Haji Musa Kasule Road . Kino kitundu ku Nakasero Hill, endagiriro ya Kampala esinga okubeera ey’omulembe mu byensula n’ebyobusuubuzi. Ekitundu kino kirimu minisitule za gavumenti, ebitongole by’abakugu ne poliisi station.
(b) Ekitundu B
  • Ekitundu ekiriko ensalo ya Bombo Road mu buvanjuba, Makerere Hill Road mu bugwanjuba ate Jjunju Road mu maserengeta n’obukiikakkono. Kino kitundu kya bya busuubuzi. Mulimu akatale ka Wandegeya akaakazimbibwa, amaduuka amangi ku luguudo lwa Bombo ne ku mabbali g’okasozi Makerere, wamu newooteri eziwerako ezirimu emmere ya wano n’ey’ensi yonna, Hotloaf, ATMs, Internet Cafe. Naye waliwo ebizimbe by’amayumba ebiwerako eby’amayumba amawanvu [3] n’ebizimbe ebimu eby’okupangisa eby’omutindo ogwa wansi mu kitundu kino. Omuzikiti gw’e Wandegeya nagwo gusangibwa mu kitundu kino.
(c) Ekitundu C
  • Ekitundu ekisangibwa ku luguudo lwa Haji Musa Kasule mu bukiikaddyo, oluguudo lwa Bombo mu maserengeta n’oluguudo lwa Yusuf Lule mu buvanjuba. Nga emyaka gya 1990 teginnatuuka ekitundu kino okusinga kyalimu omugotteko mungi . Ng’omuwendo gw’abayizi abayingizibwa mu yunivasite y’e Makerere gweyongera, bamusigansimbi baatandika okumenya amayumba g’omugotteko ne bazimba ebisulo by’abayizi ebiwanvu mu kitundu kino(hostels). Olwaleero, ebyebusubuzi eby’ekitiibwa nga Post Office e Wandegeya, banka z’ebyobusuubuzi eziwerako ne ofiisi y’amagye g’obulokozi, basengukidde mu kitundu kino.

Ebintu ebikwata ku nsonga eno

kyusa
  • Ofiisi n’ebikozesebwa bya YMCA kampala
  • Ofiisi ya Posita e Wandegeya
  • Poliisi y'e Wandegeya - Station ya Poliisi y'eggwanga eya Uganda
  • Eddwaaliro lya ABII
  • Akatale k'abalimi e Wandegeya [4]
  • Omuzikiti gw'e Wandegeya - Ekifo eky'okusinzizaamu ekyegattira mu nzikiriza y'Obusiraamu
  • Ekitebe kya minisitule ya Uganda evunaanyizibwa ku bakozi ba gavumenti
  • Ofiisi za Uganda National Council for Science and Technology
  • Omulimu gw'ekitongole ekivunaanyizibwa ku by'emmere n'ebyobulimi mu Uganda
  • Ekitebe kya minisitule y'ebyobulamu mu Uganda
  • Ofiisi za Uganda Government Analytical Chemist [5]
  • Sure Travel Ofiisi y'ensi yonna
  • Africell Outlet ku luguudo lw’oku lusozi Makerere nga terunnatuuka ku ssundiro ly’amafuta erya Total.

Laba nabino

kyusa

Ebiwandiiko ebikozesebwa

kyusa

Ebiyungo eby’ebweru

kyusa

Template:Kampala DistrictKampala District

00°19′52″N 32°34′25″E / 0.33111°N 32.57361°E / 0.33111; 32.57361