Yusuf Lule
Yusuf Kironde Lule yazaalibwa nga 10 Ogwokuna mu 1912 n'afa 21 Ogusooka 1985, nga yali Munayuganda omukenkufu era munabyabufuzi eyawereza nga pulezidenti wa Uganda ow'okuna wakati wa 13 Ogwokuna ne 20 Ogwomukaaga 1979.
Obulamu bwe
kyusaYusuf Lule yazaalibwa nga 10 Ogwokuna mu 1912 mu Kampala.[1] Yasomera ku Kings College Budo okuva mu 1929 okutuuka mu 1934, gyeyava okugenda ku Makerere University College nga nalyo lisinganibwa mu Kampala nga yaliyo okuva mu 1934 okutuuka mu 1936, n'agenda kutendekero lya Fort Hare University mu kibuga Alice nga kino kiri mu South Afrika okuva mu 1936 okutuuka mu 1939 wamu n'etendekero lya University of Edinburgh.[2] Mu kusooka yali wanzikiriza ya Buyisiraamu, wabula oluvannyuma n'akyuka n'agenda munzikiriza Y'obukatuliki, bweyali asomera ku King's College Budo.[3]
Mu 1947, Lule yawasa Hannah Namuli Wamala ku Klezia ya Kings College Budo, ng'eno gyeyali nga omusomesa ng'ate mukyala we yaliyo nga omuwala eyali akulira abayizi.[4]
Mu 1959, ekibiina ky'eby'obufuzi ekiyitibwa Democratic Party (DP) kyalonda Lule okubeera Kattikiro w'obwa Kabaka bwa Buganda. Wabula abaali abantu abasinga kubaali badukanya emirimu ky'obwakaba buno tebakiteekamu bwesige sinakindi nebagaana okuwagira ekya Lule olw'okubeera nga yali alina emirandira ky'okubeera Omuyisiraamu wadde nga yali yakyusibwa n'adda munzikiriza y'Obukatuliki, ng'era Michael Kintu yeeyawangula akalulu kano[5]. Oluvannyuma lwa Uganda okufuna obwetwaaze mu 1962, yafuuka ssentebe w'ekitongole ekyali kivunaanyizibwa ku kuwereza, n'emirimu gy'abantu.[6]
Lule yawerezaako nga omudugavu eyasooka[7] nga y'akulira esomero lya Makerere University College okuva mu 1964 okutuuka mu 1970, ng'era yeeyali ayamba ku saabawandiisi w'ekibiina ekigatta yunivasite z'okusemazinga wa Afrika ekimannyikiddwa nga Association of African Universities, nga kisinganibwa mu kibuga Accra, mu ggwanga lya Ghana, wakati wa 1973 n 1978.[1] Lule yawerezaako nga minista mu gavumenti eyali efugibwa Abangereza, ng'ate oluvannyuma nga omuyambi wa ssaabawandiisi w'ekitongole ky'amawanga agali muluse olumu n'eggwanga lya Bungereza ekya Commonwealth Secretariat. Yagenda u buwangaguse oluvannyuma lwa Idi Amin okujja mu buyinza.[8]
Ssentebe w'ekibiina ky'abayeekera ekya Uganda National Liberation Front
kyusaOluvannyuma lw'okubalukawo kw'olutalo wakati wa Uganda ne Tanzania, Abayeekera okuva mu Uganda n'abaali mu buwangaguse baatandika okukola entegeka okutandikawo gavumenti empya okugoberera obufuzi bwa Idi Amina. Oluvannyuma lw'amaggye okuva e Tanzania agayitibwa Tanzania People's Defence Force (TPDF) okubeera nga gaali gamazze okuwamba ebitundu ebisinga, Eyali Pulezidenti wa Tanzania ebiseera ebyo Omugenzi Julius Nyerere yalagira okuyimiriza, okuwa abayeekera ba Uganda okusisinkana baddemu beetereze. Abayeekera okuva mu Uganda batandika okwetegeka, nga bakulembeddwamu eyaliko pulezidenti Milton Obote wamu ne Dani Wadada Nabudere eyali ategeera ensonga z'eby'obufuzi mungeri ye ey'enjawulo.[9] Nga abatanzania batandise okwagala okutandika olukungaana lw'abayeekera wamu n'abaali mu buwangaguse, Nyerere yali ayagala kuteeka esira ku mulimu gwa Obote mu kisinde kino. Yali tayagala kuwa bantu ndowooza nti Tanzania yali egenda kuteekawo gavumenti yaayo mu Uganda nga eyambako ku Obote okuwamba obukulembezze bw'ekisinde ekyali akyabayeekera, nga wano wewaali obutabanguko eri Obote nga buva mu bantu b'obwa Kabaka bwa Buganda mu bukiika kkono bwa Uganda, wamu n'amawanga amalala gamba nga Kenya as well as other countries such as Kenya.[10] Nyerere yalina okutya nti Obote yali tagya kukaanya na nkolagana mu mulkiiko era nga kiyinza okuvirako enjawukana nga tewali awangudde oba aganyuddwamu.[11] Yagezaako okumatiza Obote obutajja kwetaba mu lukungaana luno. Mu kifo kya Obote, Bannayuganda bangi baatandika okugenda mu buwangaguse nga kino kyayamba Lule, eyali Omuganda eyalina okukiriza kw'okubeera munabyabufuzi ow'amaanyi[12] ssaako n'okubeera omukozi wa gavumenti nga erinya lye teritataganyizibwa butabanguko oba buli bwanguzi mu gavumenti za Uganda ezizze zibeerawo mu biseera ebyayita.[13]
Olukungaana lw'e Moshi lwakulwawo nga 24 Ogwokusatu mu 1979 mu tawuni ye Tanzania eyitibwa Moshi, oluvannyuma lw'okukubaganya ebirowoozo okwali okwamaanyi ng'era abantu baali baweebwa ebifo.[14] Akawungeezi ako, abakungu baalangirira okutandikibwaawo kw'ekibiina ky'abayeekera ekyaali kiyitibwa Uganda National Liberation Front (UNLF), ekyali kirina okudukanyizibwa akakiiko akakola ku by'okuwabula nga kaliko abantu 30 nga kano kayitibwa National Consultative Committee (NCC) ssaako n'akakiiko k'abakirimaanyi 11 akayitibwa National Executive Committee, obulala kwaliko busatu obw'enjawulo nga akavunaanyizibwa ku by'ensiimbi n'enzirukanya y'emirimu, eby'obufuzi n'ensonga z'abakungu, wamu n'ensonga z'amagye.[15] Enaku ebbiri ezaddako baazimala bali mu kukubaganya birowoozo kungeri gyebayinza okugabanyamu obuyinza wakati w'ebitongole bya gavumenti, wamu n'okulonda ssentebe w'ebitongole bino, nga wano waliwo okuvuganya okw'amaanyi wakati wa Lule ne Paulo Muwanga, eyali omuwagizi wa Obote. Oluvannyuma lw'enkaayana ezaali ez'amaanyi entegeregana yatukibwaako nga Lule yali wakuweebwa eky'okubeera ssentebe, ate Muwanga n'afulibwa eyali akulira akakiiko akavunaanyizibwa ensonga z'amaggye.[16]
Pulezidneti wa Uganda
kyusaOkumuteeka mu ofiisi
kyusaYasinganibwa teyeetegese oluvannyuma lwa Kampala okutabanguka, Lule mu bwangu ddala yakola olukalala lw'abaminisita abaali balina okukiikirira obutebengevu bw'embeera y'abantu ba Uganda.[17] Nga 12 Ogwokuna mu 1979, Lule ne kabineeti ye baalinya ennyonyi okuva mu kibuga ky'e Dar es Salaam okugenda Entebbe webaali bagenda okutekebwa mu ofiisi. Ennyonyi bweyayimirizibwa mu Mwanza, akakungu b'e Tanzanian baasalawo okugikereya awo okutuusa nga waliwo eby'okwerinda ebinywevu era ebimala ku mukolo ogwo ogwali mu Kampala. Olunaku olwaddako Lule ne baminisita bbe baatuuka Entebbe ng'era baaletebwa mu Kampala oluseregende lw'emmotoka g'amaggye ga Tanzania aga TPDF obudde nga bugenderedde ekawungeezi. Lule oluvannyuma baamulayiza nga Pulezidenti wa Uganda mu maaso g'ekizimbe kya Paalamenti, era n'ayogera ebigambo ebitaali bingi nga yeeyama okukomyawo amateeka n'obutebenkevu. Lule yawunzika nga agamba mu Luganda nti, kati keekaseera kaffe.[18] Nga akyawulira Kampala teyali mukono mituufu, abakungu okuva e Tanzania baatwala Lule okuva mu Paalamenti nebamuteeka mu nnyumba ya Pulezidenti esinganibwa Entebbe.[19]
Okunyweza n'okubeera mu ofiisi
kyusaLule yayingira ofiisi mu kaseera ebitongole bya Uganda webyaali tebikyakolera nga eggwanga lijudde obutali butebenkevu n'obumennyi bw'amateeka; yagenda mu buyinza bw'okufuga eggwanga eryali lyalemererwa.[20] Lule yagaana okukaanya n'ebyaali busaliddwaawo mu lukungaana olwaali mu kibuga Moshi ng'asuubira obuyinza bw'obukulembezze n'agezaako okukozesa obuyinza bwe okukolera wansi w'obuyinza ng'akozesa amaanyi agaali gamuwereddwa semateeka eyali akozesebwa mu Uganda nga Amin tanaba kuwamba buyinza.[21] Ng'amaliriza okuyingira of Lule ng'ali n'abwabuzi bbe, baatandika okukola kusalawo nga tebeebuzizza ku kakiiko kakola ku byakuwabula aka NCC. Yeewala n'abatuula mu kakiiko kano bweyasooka obutabeerawo kulunaku webaali bagenda okuyingizibwa mu ofiisi, era omukolo guno negukyusibwa olunaku okuva ku olwo kwegwali gulina okubeera nga baagala asobole okubeerawo, yayogerako eri abantu abaaliwo wabula n'agenda nga bano tebanaba kubalayiza, ekintu kyebatakiriziganya nakyo era nga kyabayisa bubi nnyo era tebakisanyukira. Lule oluvannyuma yaleeta ba minisita ne ba ssaabaminisita mu kabineeti ye nga tafunye lukusa kuva mu kakiiko keebuzibwaako. Bamemba abaali ku kabineeti beegata ku kakiiko ak'ebuzibwaako ng'akikola asinziira ku buyinza n'ekifo kyeyali ali nga omukulembezze, ebifo byeyawa ba minista byali 24 wamu n'ababamuyuka 20, nga bano baali basinga ku bakasala abaaliwo mu kusooka. Wadde waliwo okwemulugunya okuva eri akakiiko akawabuzi oba akebuzibwaako, Lule yasigala akyagaba ebifo wamu n'okwetegereza engeri gy'ayinza okutegekamu n'okukola enkyuka kyuka mu kabineeti ye.[22] Yasalawo n'enzirukanya ya Uganda eddemu eterezebwe, nga kino kyavirako okwawulamu eggwanga ebitundu bya mirundu enna nga buli kimu kkidukanyizibwa kamisoma. [23]
Lule yayongera okunyiiza akakiiko akakola ku by'okuwabula kabineti ye bweyawa bamemba 5,000 eza ssente za ddoola za Amerika nga akasiimo k'okwedabulula, nga wadde omuwanika yali alina ssente ntono. Lule yayanukula ba kansala abaalina obusungu nga abawala akasiimo kekamu, wabula bano nebazigaana.[24] Yagyamu obwesige aba UNLA, gyeyali agamba nti yali erinamu abantu abaali abeesiimbu eri Obote ne Yoweri Museveni ng'era babawagira. Gavumenti ya Lule yagaanira ssente ezaali zirina okuweebwa amaggye olw'ensonga eno, nga kino kyazannya kinene nnyo mu kulaba nga bawangula amanye ga Amin.[25] Yakola entegeka y'okulaba nga asatulula ekibiina ky'abayekera ekyali kiyitibwa UNLA, ng'ayagala kibeere nga bakisikiza n'amaggye amapya, ekintu ekyanyiiza abaali abakulembezze abaasooka.[13] Amaggye gaali gakukiikirirwa nga basinziira ku bungi bw'ago era mu bitundu bya Uganda ngakuno kwekuli n'okusaba empapula z'obuyigirize nga ebimu ku bisanyizo eri oyo yenna eyali asaba okugegatako.[26]
Lule yafuna obuyambi bwa bukadde 100 obwa ssente za pawuundi za Bungereza nga zino zaali ziva mu mawanga g'omubugwanjuba, n'aleka abo abaali balina obumannyirivu mu by'obufuzi nga batidde nti ono yali ayinza okutunda eggwanga olw'okuba yalina byeyali yeegwanyiza nadala mu bikwatagana ne bizineensi z'ensi yonna.[27] Amaanyi ga gavumenti ye okugezaako okukomya n'okuyimiriza ebeeyi y'ebintu eyali erinye n'okusigala mu katale akaali katundu ebintu ebyali tebigendera ku mateeka byali bitono ng'ate tebakuganyurwamu, nga mu kaseera keyamala mu ofiisi nga omukulembezze, embeera y'ebyenfuna bya Uganda yeeyongera okuseebengerera okuva ku bukulemezze bwa Amin.[28]
Abaganda bangi baali basanyufu ebyensuso olw'okubeera nga Lule yali alinyisiddwa ku ky'okubeera pulezidenti w'eggwanga, nga basuubira nti yali agenda kukuuma ebintu bya Buganda nga bitebenkevu, era n'okulemesa Oboto obutakomawo mu buyinza. Lule yakola kyonna ekyali kyetagisibwa okusannyusa Abaganda, gamba nga okukomyawo obumu munzirukanya y'emirimu mu Buganda okwongera amaanyi n'okukiriza okukubanga ebirowoozo mu gavumenti ya Buganda, ng'era bweyali nga ayogerayo eri abantu yakikola nga u lulimu Luganda, okusembezze Abaganda mu ofiisi ye abaalina enzikiriza nti eggwanga litekeddwa okubeera n'obukulembezze bwa Kabaka wamu ne Nnaabagereka,n'okukiriza endagaano z'eggwanga eri abasuubuzi nga Baganda.[29] Mu kugaba n'okudiza ebintu Amin byeyali yawamba n'abigabira beyali akwatagana nabo ng'akyali mu buyinza, gavumenti ya Lule yagabira nga ebintu ebinene eri Abaganda wamu n'abo abaali bamusemberedde ennyo.[30] Abantu abaali basibuka mu mawanga amala mu Uganda baali tebeesiga Lule oba okumuwa ekitiibwa ekimala nga balowooza yali ayagala kututumula Baganda okusinga ebitundu ebirala.[31] Banayuganda abamu baafuna okutya nti enteekateeka z'amaggye zaali zigya kusiinga kuberamu Baganda, engeri gyekyali nti Buganda yali erina abantu bangi okusinga ebintu by'eggwangwa.[32] Abaali bamuwakanya baali bagamba nti ono yali awagira obukulembezze bw'obwakabaka ne Nnaabagereka nga kuno kw'oteeka n'okubeera nga yali ayagala gavumenti efugibwa amaggye.[33]
Okumugoba n'okumugya mu ofiisi
kyusaEngeri Lule gyeyali akwataka kabineti ye kyannyiinza akakiiko akakola ku by'okuwabula, nadala bweyagoba Muwanga okuva mu ofiisi. Pulezidenti Nyerere ow'e Tanzania yategeeza Lule nti Tazania yali tegenda kubeera nanzikiriganya zeekuusa ku byabuyinza mu bitongole bya Uganda nadala ebyakolebwa webaali e Moshi.[34] Lule yawulira nga Tanzania yali esobodde okuwa obuwagizi eri abbo abaali bamuvuganya mu by'obufuzi, nga yasalawo okukendeeza obuyinza bwekyali kiyina mu ggwanga, nga awakanya n'engeri amaggye ga Tanzania agayitibwa TPDF, agaali gaasigala ookukuuma eddembe oluvannyuma lw'okugobwa kw'amagye ga Amin. Yakubiriza amawulire ga Uganda okuvumirira amaggye ga Tanzania, ekintu ekyanyiiza Bannayuganda wamu n'ekibiina kya UNLA abaali bagamba tekyali kya bwenkanya okulumba amaggye gano agaali gaanunula eggwanga.[35] Nga 8 Ogwomukaaga ba memba b'akakiiko akakola ku by'okuwabula abaali abannyiivu ng'era sibamativu baakungaanira mu Kampala nebayisa ekiwandiiko ekyali kisaba Lule okuwaayo buli kimu kyeyali akozesa okugaba ebifo mu by'obufuzi babiyiseemu amaaso. Wabula Lule teyabaanukula, era nga 12 Ogw'omukaaga, akakiiko kano kaakungaana nekasalawo nti yali asigazza enaku musanvu okuddamu ebyo ebyali bimusabiddwa. Pulezidenti neera yagaana okubaddamu, era ku kawungeezi k'enaku z'omwezi nga 19 Ogwomukaaga akaiiko kano kaasisinkana mu maka ga pulezidenti agali Entebbe nga eno Lule yaliwo. Eyali ssentebe w'akakiiko kano Edward Rugumayo yatandika olukungaana ng'ajukiza abaalulimu ebintu byebataali bimativu nabyo eri Pulezidenti, nga era baagala okubawa ebiwandiiko byeyali akozesa okuteeka abantu mu ofiisi bakiteeke mu lujjudde. Lule yabaddamu ng'agamba nti yali teyeetegese kwenyigira munsonga eno eyali yeekuusa kunsonga z'omugaso ku semateeka, nga akiriza okuwaayo ebikwatagana kungeri gyeyali ateeka abantu mu ofiisi eri akakiiko akavunaanyizibwa ku by'okuwabulwa. Yyayongerako ng'agamba nti engeri gyeyalo agabamu ebifo mu kabineti ye yali emannyikiddwa mu lujjudde, ng'era akaiiko kano kaali ka ddembe okutwala engeri gyeyali alondamu abantu nga bwekaali kaagala.[36]
Engeri Lule gyeyayogeramu yagobererwa esaawa z'okukubaganya ebirowoozo eri akakiiko akakola ku by'okuwabula nga bino byaali byekuusa kungeri gyebaali bayinza okwawulamu obuyinza nga bwekyali kyakiriziganyizibwaako mu Moshi. Oluvannyuma, Lule yayimira n'agamba nti yali takiriziganga nansalawo yali yakolebwa mu Moshi era n'agamba nti yali teyafuna ndagiriro nambulukufu okuva eri akakiiko akavunaanyizibwa ku by'okuwabula. Rugumayo yamuddamu ng'amugamba nti obubaka obwali mu kibuuzo kyali kyaweebwa omuwandiisi wa Pulezidenti mu buntu. Mu kaseera katono oluvannyuma lw'okuwanyiziganya ebigamba, kansala Paulo Wangoola yayimira n'asoma ekiwandiiko ekyali ekiwaanvu ennyo. Yakawangamula nga Lule bweyali tayagala kikiriza nti ekibiina kya UNLF ky'alina obuyinza mu kubukanya, era n'awunkiza n'omulamwa ogwali gugamba oba Pulezidenti yali akyasobola okubeera mu ofiisi kuba baali bamugyemu obwesige.KIno kyagobererwa okukubaganya ebirowoozo okw'amaanyi nga muno ba kansala ab'enjawulo baali tebawangira ssaako n'okubeera nga baali bavumirira Lule.[37] Ku saawa 1:00 nga 20 Ogwomukaaga, akakiiko akavunaanyizibwa ku by'okuwabula kaalonda ku mulamwa guno nga kayita ku kalulu akaali ak'ekyama. Ebyava mu kulonda kuno byalangirirwa edakiika 35 oluvannyuma nga ba kansala 18 balonze nga bakiriganya n'omulawa, ate 14 nga bakiwakanya. Lule oluvannyuma yagibwa muntebbe y'okubeera pulezidenti, era n'afuluma okuva mu kasenge ne bakasala abalala mwenda, Rugumayo bweyagamba nti okugobwa kwe kwali kiviriddeko n'okugibwaako okwa kabineti ye.[38]
Lule yali ku bukulembezze bwa Uganda okumala enaku 68 zokka, akaseera akatono Pulezidenti yenna owa Uganda keyali amazze mu buyinza.[39] Godfrey Binaisa, eyali ssaabalamuzi wa Uganda wansi wa Obote eyali yajja okuwakanya ye wau ne Amin nga teyalina mulimu gwa nkala kalira mu kakiiko, yalondebwa okubeera pulezidenti.[40] Binaisa yasigaza abamu ku baali baminisita ba Lule, wabula n'agya abaali basinga okumuwagira okuva mu kabineti ye era n'akokola enkyuka kyuka munzirukanya y'emirimu mu Buganda.[41][42]
Abaganda abasinga baali bawulira nti Lule yali agiddwa mu buyinza olw'okuba yali akuumye eneeyisa, enono n'enzikiriza za Buganda.[43] Mukugezaako okujja n'okufulumya abaali bamuwakanya mu Kampala nga kino kyali kiva mu baali beekalakaasa nga bagugulana wakati w'abantu n'amaggye ga Tanzania agaali gagezaako okukuuma obutebenkevu.[44] Abaganda abaali bawakanya baatandika okuziba amakubo n'enguudo neboonoona emmotoka, nga abakozi abaali batambuzibwa baatandika okwekalakaasa nga n'abasuubuzi baalinyisa emiwendo gy'eby'amaguzi. Ebibinja by'Abaganda ebyalina eby'okulwanyisa byamerukawo oluvannyuma lwa Lule okulekulira nebalumba poliisi n'abajaasi, ekyali kiraga nti Buganda yali teyafugika.[45] Nga 21 Ogwekumi 1980, ekooti ya Uganda ejulirwaamu yasalawo nti okugibwawo kwa Lule tekwali mumateeka, nga bagamba nti Lule yalina obuyinza okulonda minisita yenna nga talina kusooka kwebuuza oba kufuna lukusa kuva eri kakiiko kavunaanyizibwa ku bya kuwabulwa. Wadde nga eby'ekikugu mu by'obukulembezze byali biraga nga Lule bweyali akyasobola okubeera Pulezidenti wa Uganda, banaansi abasinga baalonda okwewala okusalawo kuno, engeri gyekyali nti embeera y'eby'obufuzi mu ggwanga yali ekulakulanye okuva Lule bweyagibwa mubuyinza.[46]
Obulamu bwe oluvannyuma
kyusaNg'ali wabweeru wa ofiisi, Lule yatwalibwa e Tanzania gyebamusibira ng'akumibwa abakuumi abaalina eby'okulwanyisa eby'amaanyi nga tanaba kukirizibwa kulinya nnyonyi yamutwala London.[6] Oluvannyuma y'agenda e Nairobi. Mu 1980, Uganda yategeka okulonda kwa bonna okulonda gavumenti empya.[47] Mu kutebereza kwokuvuganya, Abaganda abasinga baatandika okuwagira ekibiina ky'eby'obufuzi ekya DP mungeri y'okuvuganya Obote ne UPC. Lule yategeka okubeera mu lukungaana lwa DP mu Gwomukaaga, nga ekibiina kyali kigenda kulonda abakulembezze baakyo abapya. Abakulembezze abaaliko baali mukutya nti Abaganda abaali bawagira baali bagya kumusindikiriza okudukanya ekibiina kyabwe kibavireko okugubwawo,ekyabavirako okuziyiza okukomawo kwe mu Uganda.[48] Wadde nga waliwo ensonga z'okubulankanya ensiimbi n'ebyali tebiteredde bulungi UPC baagirangirira okubeera nga yeeyali ewangudde era Oboto n'afuuka Pulezidenti wa Uganda.[42] Mukutya nti Obote yali agya ku lemera mu buyinza, Lule ng'ali wamu n'abala okwali Bernard Kibuuka Musoke baatandikawo ekibiina ky'abayekera ekyali kiyitibwa Uganda Freedom Fighters (UFF). Nga 8 Ogomukaaga mu 1981 UFF yeegata ku kibiina kya Museveni ekyali kimannyikiddwa ennyo nga kino kyali ky'amaggye okutandikawo ekyali kiyitibwa National Resistance Movement (NRM).[43] Lule yafuuka ssentebe w'ekibiina kya NRM, ate Museveni n'abeera omumyuka wa ssentebe ng'ate ye ssentebe akulira amaggye agayitibwa National Resistance Army, ekibinja ky'amaggye mu kibiina kino. Okwegata kuno kwayamba nnyo okuwagira n'okukwasizaako abayeekera abaali tebawagira Obote nga bali mu Buganda.[45] Lule yafuuka omu kubaali bakulembedde mu kuvumirira n'okuwakanya Obote[6] era n'awandiika akatabo akaali kakwata ku Obote[49] okubeera nga yali atyobool eddembe ly'abantu nga kano kayitibwa ''Human Rights Violations in Uganda under Obote'', nga kano kaasasanyizibwa nnyo ebibiina ekitadukanyizibwa gavumenti.
Mukmyaka omukaaga egyasembayo mu bulamu bwe Lule yafuna okujanjabibwa mu ddwaliro lya Hammersmith e London. Yafa nga 21 Ogusooka mu 1985 oluvannyuma lw'ensigo okulemererwa nga bamazze okumulongoosa.[6] Yazaakibwa mu kibuga London mu Bungereza.[50] NRM yafulumya ekiwandiiko oluvannyuma lw'okufa kwe ekyali kigamba nti, " twagala okukakasa abali mu kibiina kyafe, abakiwagira, abakisaasira ne Bannayuganda abasitaana nga Omukenkufu Lule beyayimira nabo ajja kusigala nga ajukirwa."[6] NRM yawangula olutalo lwa Uganda olwali munsiko, nebawamba Kampala mu Gusooka 1986.[48] Oluvannyuma lwa Museveni okuwamba obuyinza, gavumenti ye yasaba omulambo gwa Lule okukomezebwaawo mu ggwanga lye. Ebyasigalira by'omubiri gwe byasimibwa ne bitekebwa ku nnyonyi eyatukira kisaawe ky'Entebbe nga 22 Gusooka mu 1987. Namungi w'omuntu yamwaniriza ku kisaawe ky'ennyonyi, omulambo gwa Lule gwatwalibwa e Kampala gyegwatekebwatekebwa okumala enaku bbiri, abantu basobole okugulaba nga tegunaddamu ku zikibwa Kampala, ng'eno bendera y'eggwanga lya Uganda gyeyawanikibwa ku lunaku lweyafunira obwetwaze.[50]
Omukululo
kyusaMunnabyafaayo Phares Mukasa Mutibwa yanyonyola emirimu gya Lule bweyali pulezidenti nga bweyali talina bumannyirivu.[49]
Mutabani bbe, Wasswa Lule, yafuuka omubaka wa Paalamenti eyali akiikirira Rubaga North.[7]
Ebijuliziddwaamu
kyusa- ↑ 1.0 1.1 "Lule, K. Yusufu", Africa Who's Who, London: Africa Journal for Africa Books Ltd, 1981, p. 636.
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2023-09-21. Retrieved 2024-09-07.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2021-08-15. Retrieved 2024-09-07.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://www.monitor.co.ug/News/National/688334-1174668-am0ra6z/index.html
- ↑ Template:Sfn
- ↑ 6.0 6.1 6.2 6.3 6.4 https://www.nytimes.com/1985/01/23/world/yusufu-lulu-dies-ex-uganda-leader.html
- ↑ 7.0 7.1 https://web.archive.org/web/20140210014820/http://statehouse.go.ug/past-presidents/president-yusuf-kironde-lule
- ↑ https://news.google.com/newspapers?id=_W4xAAAAIBAJ&pg=6774,6472405&dq=yusuf+lule&hl=en
- ↑ Template:Sfn
- ↑ Template:Sfn
- ↑ Template:Sfn
- ↑ Template:Sfn
- ↑ 13.0 13.1 https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1299060/lule-president-68-days
- ↑ Template:Sfn
- ↑ Template:Sfn
- ↑ Template:Sfn
- ↑ Template:Sfn
- ↑ Template:Sfn
- ↑ Template:Sfn
- ↑ Template:Sfn
- ↑ Template:Sfn
- ↑ Template:Sfn
- ↑ Template:Sfn
- ↑ Template:Sfn
- ↑ Template:Sfn
- ↑ Template:Sfn
- ↑ Template:Sfn
- ↑ Template:Sfn
- ↑ Template:Sfn
- ↑ Template:Sfn
- ↑ Template:Sfn
- ↑ Template:Sfn
- ↑ Template:Sfn
- ↑ Template:Sfn
- ↑ Template:Sfn
- ↑ Template:Sfn
- ↑ Template:Sfn
- ↑ Template:Sfn
- ↑ https://www.statehouse.go.ug/past-presidents/president-yusuf-kironde-lule
- ↑ Template:Sfn
- ↑ Template:Sfn
- ↑ 42.0 42.1 Template:Sfn
- ↑ 43.0 43.1 Template:Sfn
- ↑ Template:Sfn
- ↑ 45.0 45.1 Template:Sfn
- ↑ https://books.google.com/books?id=DHsEAQAAIAAJ
- ↑ Template:Sfn
- ↑ 48.0 48.1 Template:Sfn
- ↑ 49.0 49.1 https://www.nytimes.com/1985/01/23/world/yusufu-lulu-dies-ex-uganda-leader.html
- ↑ 50.0 50.1 https://books.google.com/books?id=CCsuAQAAIAAJ
Ebyafulumizibwa by'oyinza okukebera
kyusa