Abakulembeze ba Uganda

(Oleetedwa wano okuva ku Pulezidenti wa Uganda)

Pulezidenti (Omukulembeze w'eggwanga) wa Uganda

kyusa
Ekifaananyi Erinnya Ekiseera ky'obukulembeze Ekibiina ky'ebyobufuzi Ebirala
Frederick Edward Mutesa II 9 October 1963 2 March 1966 Kabaka Yekka Yawangangukira e Bungereza oluvannyuma lw'obulumbaganyi obwakolebwa ku lubiri lwe e Mengo. Yafa mu mwaka 1969
  Milton Obote 2 March 1966 25 January 1971 Uganda People's Congress Yawambibwa amajje mu mwaka 1971 bwatyo nawangangukira e Tanzania okutuusa lwe yakomawo mu mwaka 1980
Idi Amin 25 January 1971 11 April 1979 Military Yawangangusibwa oluvannyuma lw'okumeggebwa mu lutalo wakati wa Uganda ne Tanzania yasaba obubudamu eSaudi Arabia era gyeyafiira mu mwaka 2003
Yusuf Lule 13 April 1979 20 June 1979 Independent (UNLF) Yajjibwa ku bukulu buno mu 1979, era nafa mu 1985
Godfrey Binaisa 20 June 1979 12 May 1980 Uganda People's Congress (UNFL) Yajjibwa ku bukulu mu 1980, nafa mu mwaka 2010
Paulo Muwanga 12 May 1980 22 May 1980 Uganda People's Congress (UNFL) Yawaayo obuyinza eri akakiiko ka Presidential Commission mu mwaka 1980
Presidential Commission (Saulo Musoke, Polycarp Nyamuchoncho, Joel Wacha-Olwol) 22 May 1980 15 December 1980 Independent akakiiko kano Kassattululwa oluvannyuma lw'okulonda kwa bonna mu 1980
  Milton Obote 17 December 1980 27 July 1985 Uganda People's Congress Yawambibwa amajje mu mwaka 1985 nawangangukira eZambia oluvannyuma yafiira mu ggwanga lya South Africa mu mwaka 2005
Bazilio Olara-Okello 27 July 1985 29 July 1985 Military Yawaayo obuyinza
Tito Okello 29 July 1985 26 January 1986 Military Yameggebwa mu lutalo olwekiyeekera mu mwaka 1986
  Yoweri Museveni 26 January 1986 Present National Resistance Movement Yakwata obuyinza oluvannyuma lw'okukulembera olutalo olw'ekiyekeera olwatandika mu mwaka 1980