Bobby Williamson
Robert Williamson (yazaalibwa 13 August 1961) Musajja asibuka mu ggwanga lwa Scotland. Ono yali muzannyi wa mupiira era nga mutendesi wagwo.
Williamson yazannyirako nga kiraabu nga Clydebank, Rangers, West Bromwich Albion, Rotherham United ne Kilmarnock . Oluvannyuma lw'okunnyuka omupiira Williamson yafuuka omutendesi mu kiraabu ya Kilmarnock, n'awangula ekikopo kya Scottish cup mu mwaka 1996–97 . Yava awo nagenda mu Hibernian mu mwaka 2002 naye eno teyafunayo buwanguzi buli awo bwatyo mu 2004 kwekugenda ku kiraabu Plymouth Argyle nga omutendesi kyokka nga n'eno teyawangaalirayo era nagobwa oluvanyuma lw'omwaka gumu nga atendeka. Oluvannyuma lw'okumala akaseera katono mu Chester City, Williamson yafuuka omutendesi wa ttiimu y'eggwanga ey'omupiira eya Uganda. Wano weyava okwegatta ku kiraabu ya Gor Mahia mu liigi ya Kenya eyokuntikko gyeyasobola okutendeka newangula ekikopo kya liigi mu ggwanga eryo era oluvannyuma Williamson yalondeddwa okubeera omutendesi wa ttiimu y’eggwanga lya Kenya ey’omupiira [1][2].[3]
Nga omuzannyi
kyusaMu biseera nga azannya Williamson yali muteebi . Omupiira yagutandikira mu Clydebank n’ateeba ggoolo 35 mu mipiira 85. nagulwa pawundi za Bungereza emitwalo 100,000 bwe yali yaggata ku Rangers mu sizoni ya 1983–84. [4] [5]Oluvannyuma lw'emyezi etaano nga yegasse ku Rangers, Williamson yamenyeka okugulu okwa ddyo bwe baali batalaaga Australia nga sizoni ewumuddemu. [6] Obuvune buno mu kusooka bwali busuubirwa okuwona wakati wemyezi ebiri oba esatu, [7]kyokka gyebyagweera nga Williamson tezzeemu kutendekebwa mu bujjuvu okutuusa mu December wa 1984.[8] Oluvannyuma lw’okutaataganyizibwa obuvune mu Rangers, Williamson yegatta ku West Bromwich Albion mu 1986 olwo Jimmy Nicholl neyegatta ku Rangers. [9] Williamson era yazannyirako mu liigi y'omupiira eyali eyokuntikko e Bungereza mu biseera ebyo mu kiraabu ya Rotherham United . Yaddayo e Scotland mu 1990 okwegatta ku kiraabu gye yasemba okuzannyira eya Kilmarnock.
Nga Omutendesi
kyusaKilmarnock
kyusaWilliamson yafuuka omutendesi wa Kilmarnock oluvannyuma lwa Alex Totten okugenda . Mu sizoni ye esooka ng’omutendesi, kiraabu eno yawangula ekikopo kya Scottish Cup mu 1997 bwe yakuba Falkirk ggoolo 1-0 ku kisaawe kya Ibrox . [10] Kilmarnock yamalira mu bifo ebisooka mu liigi ya Scotland era bwetyo neyeetaba mu mpaka za Bulaaya okumala sizoni ssatu n'omugatte gwa mipiira munaana. Ono era yasikiriza abazannyi ab’amaanyi omuli eyali omuzannyi wa Scotland Ally McCoist ne Ian Durrant, n’eyali omuzannyi wa Bufalansa Christophe Cocard .
Hibernian
kyusaWilliamson yakwata omulimu gwa Hibernian mu February wa 2002, era nga ttiimu yali emaze emipiira 18 mu liigi nga tewangudde.[11] Mu mupiira gwa Williams ogwasooka yawangula St Johnstone era bwetyo kiraabu ye neva mu katyabaga ak'okusalwako.[12] Olw'obuzibu bw'ensimbi mu kiraabu eno, Williamson yalina okuta abamu ku bazannyi abamaanyi mu kirabu eno.[13]Kino kyamuviirako obutaganja nnyo mu bawagizi ba kiraabu eno.[14][15] Yadde kyali kityo, Hibs yafulumya abazannyi abato abawerako abalungi ennyo, omuli Scott Brown, Derek Riordan, Garry O’Connor, Kevin Thomson ne Steven Whittaker . Williamson yakulemberamu ttiimu ye eno eyaba musaayi muto okutuuka ku fayinolo y'ekikopo kya Scottish league 2004, kyokka n'ekubwa Livingston ggoolo 2-0[16] .
Plymouth
kyusaWilliamson yagenda e Plymouth Argyle nga 20 April 2004.[17] Bwe yawangula omupiira gwe ogwasooka ng’omutendesi, kiraabu eno yassuumusibwa okujja mu Football League Championship . Yadde yasobola okukuumira ttiimu eno mu kibinja ekyo ate ku ntandikwa ya sizoni ya 2005–06 kiraabu yatandika okukola obubi ekyamuviirako okugobwa nga 6 September 2005. Era nga bino byonna byava ku bbula lya nsimbi eryavaako okutundibwa kwabazannyi nga Taribo West . Yasikizibwa Tony Pulis eyali agobeddwa mu Stoke City
Chester
kyusaWilliamson yakolanga omutapusi wensonga ku pulogulaamu ya BBC Radio Scotland eya Sportsound nga tannalondebwa kubeera mutendesi wa Chester City nga 11 May 2007. [18] Omupiira gwa Williamson ogwasooka mu Football League ng’atendeka Chester gwaggwa mu maliri ne Chesterfield ggoolo 0-0 nga 11 August 2007 era nabafuula abamu kubaali ku mwanjo gw'okusuumusibwa mu myezi egyasooka mu sizoni. Wabula mu makkati ga sizoni, ffoomu / omutindo gwa Chester gwatandika okukka era nga yawangula emupiira gumu gwokka ku 14 okuva ku lunaku lwa Boxing Day bwatyo Williamson nagobwa nga 2 March 2008. [19]
Uganda
kyusaNga 19 August 2008, Williamson yalondebwa FUFA okubeera omutendesi wa ttiimu y'eggwanga eya Uganda [20]. Williamson yadda mu bigere bya Csaba László eyalekulira mu July wa 2008 n'agenda mu Hearts eya Scotland eya Premier . [21] Williamson nga alondeddwa, yaweebwa akakwakkulizo ek’okuwangula emipiira ebiri egisooka okwali Niger ne Benin olwo alyooke aweebwe endagaano empanvu. [22]Kino yakituukiriza, era ensengeka ya Uganda mu nsi yonna okusinziira ku FIFA yeeyongera okutereera mu myaka ebiri egyasooka egya Bobby. [23] Williamson yakulembera ttiimu ya Uganda mu mpaka za CECAFA Cup eza 2011 . [24]
Uganda yalemerwa watono nnyo okukiika mu mpaka za Afrika eza 2013, bwe yakubwa mu kusimulagana peneti mu mupiira gwayo ne Zambia ogw'okusunsulamu abalizannya . [25] Uganda yatandika bubi mu z’okusunsulamu abanazannya World Cup ya 2014, oluvannyuma lw'okungaanya obubonero bubiri bwokka mu mipiira esatu. Nabwekityo nga 8 April 2013 Williamson yagobwa ku butendesi bwa Uganda. [26][27]
Gor Mahia
kyusaNga 5 July 2013, kyalangirirwa nti Williamson yali akkiriziganya ne Gor Mahia eya Kenya Premier League okwegatta ku ttiimu eno ng’omutendesi waayo omukulu omuggya era yadda mu bigere bya Zdravko Logarusić, eyali agobeddwa ennaku 9 emabega, nga 25 June.[28] Williamson yakulembera Gor Mahia okuwangula ekikopo kya liigi y’eggwanga lya ekyasooka mu myaka 18. [29]
Kenya
kyusaMu August wa 2014, Williamson yalondebwa okubeera maneja wa ttiimu y’eggwanga eya Kenya . [30] [31] Omulimu guno yagufuna oluvannyuma lw’omupiira gwe yasembyeyo okutendeka Gor Mahia mu mupiira gwa liigi era nga gwali wakati wa tiimu ye ne Sony Sugar nga 24 August.[32] Yasikizibwa eyali omutendesi wa Mathare United, Stanley Okumbi mu February wa 2016. [33]
Byeyawangula
kyusaNga omuzannyi
kyusa- Rotherham
- Kilmarnock
- Okusuumuusibwa mu kibinja ekisooka mu Scotland : 1992–93
Nga omuntu ssekinnomu
Nga omutendesi
kyusa- Kilmarnock
- Scottish Cup : 1996–97
- Ayrshire Cup : 1998 [34]
- Ekifo ekyokubiri Scottish League Cup : 2000–01
- Hibernian
- Yakwata kyakubiri mu Scottish League Cup : 2003–04
- Plymouth Argyle
- Uganda
- Ekikopo kya CECAFA : 2008, 2009, 2011, 2012
- Gor Mahia
- Liigi ya Kenya : 2013
- Nnamba bbiri mu President's Cup : 2013
- kyakubiri Kenya Super Cup : 2013
Obulamu bwe obwabulijjo
kyusaOkuva lwe yawummula, Williamson abeera Kenya ne mukyala we Michelle ne muwala we Saoirse. [35]
Yazuulibwa okuba ne kookolo w'enyindo mu mwaka 2017. [36] kyokka July 2018 we yatuukira nga Williamson asuuse kookolo. [37]
Ebiwandiiko ebikozesebwa
kyusa- ↑ https://www.besoccer.com/coach/career-path/bobby-williamson-3220
- ↑ https://www.newvision.co.ug/news/1306251/bobby-williamson-named-harambee-stars-coach
- ↑ https://kawowo.com/2013/07/05/williamson-is-new-gor-mahia-coach/
- ↑ McCallum, Andrew (30 May 1984). "Broken leg adds to Rangers' miseries". The Herald. Herald & Times Group. Retrieved 17 October 2012.
- ↑ https://news.google.com/newspapers?nid=1301&dat=19840530&id=oddQAAAAIBAJ&pg=2280,7595661
- ↑
{{cite news}}
: Empty citation (help) - ↑ Reynolds, Jim (19 December 1984). "Williamson may solve Ibrox problem". The Herald. Herald & Times Group. Retrieved 17 October 2012.
- ↑ Reynolds, Jim (19 December 1984). "Williamson may solve Ibrox problem". The Herald. Herald & Times Group. Retrieved 17 October 2012.
- ↑ Traynor, Jim (8 August 1986). "Second time around for so lucky Nicholl". The Herald. Herald & Times Group. Retrieved 17 October 2012.
- ↑ Alexander, Douglas (14 March 2004). "Hibs manager tackles critics". The Sunday Times. Retrieved 10 October 2010.
- ↑ "Hibs kill off St Johnstone". BBC Sport. 1 March 2002.
- ↑ "Hibs kill off St Johnstone". BBC Sport. 1 March 2002.
- ↑ Moore, Richard (27 July 2003). "Hibernian: Moving Forward". Sunday Herald.
- ↑ Bell, Ian (13 April 2003). "Hibs manager the wrong man in the wrong job". Sunday Herald. Retrieved 10 October 2010.
- ↑ Moffat, Colin (20 April 2004). "Few Hibees will mourn Williamson". BBC Sport. Retrieved 10 October 2010.
- ↑ Alexander, Douglas (14 March 2004). "Hibs manager tackles critics". The Sunday Times. Retrieved 10 October 2010.
- ↑ Moffat, Colin (20 April 2004). "Few Hibees will mourn Williamson". BBC Sport. Retrieved 10 October 2010.
- ↑ "Bobby is the new Blue for City". Chester City FC. 11 May 2007. Archived from the original on 19 May 2007. Retrieved 2007-05-11.
- ↑ "Chester manager Williamson sacked". BBC Sport. 2 March 2008. Retrieved 10 October 2010.
- ↑ Oryada, Andrew Jackson (19 August 2008). "Uganda name new coach". BBC Sport. Retrieved 10 October 2010.
- ↑ Oryada, Andrew Jackson (19 August 2008). "Uganda name new coach". BBC Sport. Retrieved 10 October 2010.
- ↑ Walker, Mark (21 August 2008). "Williamson gets two-game chance". The Scotsman. Retrieved 10 October 2010.
- ↑ Baguma, Raymond (9 October 2010). "Bobby Williamson working wonders as Uganda eye promised land". The Scotsman. Retrieved 10 October 2010.
- ↑ Ugasa, Mohammed (12 December 2011). "Uganda cranes savour supremacy". IPP Media. Retrieved 3 June 2013.
- ↑ "Football in brief: Williamson won't quit after cup agony". The Scotsman. Johnston Publishing. 16 October 2012. Retrieved 17 October 2012.
- ↑ "Uganda sack Scottish coach Bobby Williamson". BBC Sport. 8 April 2013. Retrieved 8 April 2013.
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/cranes-coach-bobby-sacked-1539870
- ↑ Kenya Television Network (25 June 2013). "Gor Mahia fire coach Logarusic". Archived from the original on 26 June 2013. Retrieved 7 July 2013 – via YouTube.
{{cite web}}
: CS1 maint: bot: original URL status unknown (link) - ↑ "Williamson named new Kenya coach". FIFA. 5 August 2014. Archived from the original on 17 August 2014. Retrieved 5 August 2014.
- ↑ Bobby Williamson appointed Kenya coach, BBC Sport
- ↑ Bobby Williamson signs contract to become Kenya coach, BBC Sport
- ↑ Vincent Opiyo (22 August 2014). "Bobby to aid in selecting Gor's next coach". Futaa.com. Archived from the original on 26 August 2014. Retrieved 24 August 2014.
- ↑ "New Stars coach Okumbi equal to task". Nation. 20 February 2016.
- ↑ "Killie (0) 4 - (2) 2 Ayr Utd". KillieFC.com. 13 May 1998. Retrieved 21 March 2021.
- ↑ "Former Chester boss Bobby Williamson on beating cancer and why Blues collapse happened". www.cheshire-live.co.uk/. 8 February 2019.
- ↑ Patrick McPartlin (21 December 2017). "Bobby Williamson, ex-Hibs and Kilmarnock boss, reveals cancer fight". scotsman.com. Johnston Press. Retrieved 13 August 2018.
- ↑ "Ex-Hibs boss Bobby Williamson reveals he's cancer free". www.scotsman.com/. 22 July 2018. Retrieved 29 August 2022.