Joy Atim
Atim Joy Ongom, (yazaalibwa 15 Ogwomwenda 1968) mukyala musuubuzi mu Uganda era munnabyabufuzi eyaweerezaako ng'omubaka wa paalamenti ng'akiikirira abakyala ba distulikiti ya Lira District Women Constituency mu paalamenti ey'ekkumi (2016 okutuuka 2021).[1]
Obuvo n'okusoma
kyusaYazaalibwa Joy Atim, nga 15 Ogwomwenda 1968, mu Lira District, mu kitundu ky'obukiikakkono bwa Uganda. yasomera ku masomero g'omu kitundu ekyo okutuusa lwe yeeyongerayo ku yinivaasite. Mu mwaka gwa 1989 yeegatta ku ttendekero lya Uganda College of Commerce Aduku, mu Aduku, Apac District, era n'atikkirwa oluvannyuma lw'emyaka ebiri oluvannyuma lw'okufuna dipulooma mu byobusuubuzi Diploma in Business Studies (DipBS). Oluvannyuma mu mwaka gwa 2011, yatikkirwa ku ssettendekro ya Kampala International University nga yafuna Bachelor of Public Administration (BPA).[2]
Emirimu gy'akozeeko
kyusaMu mwaka gwa 1993 yapangisibwa firimu ekolebwa "Riclen Printers", ng'akolayo ng'omubazi era omukwasi wa ssente okumala emyaka mukaaga okutuuka mu mwaka gwa 1999. Oluvannyuma yagenda okukola emirimu emirala mu kitongole ekiyitibwa "Jocent Enterprises", gye yali akola nga ssenkulu w'ekitongole kino okutuuka mu mwaka gwa 2011. Oluvannyuma mu mwaka gwa 2005, ye ssenkulu wa bisinensi eyitibwa "Hillside Annex", ekifo ky'akyalimu ne mu kiseera w'abeeredde omubaka wa paalamenti.[3]
Ekisaawe ky'ebyobufuzi
kyusaMu kunoonya akalulu ka 2006 – 2011, Joy Atim yalondebwa nga kkansala ku disitulikiti ya Lira District. Mu mwaka gwa 2011, yeesimbawo okuvuganya ku kifo ky'omubaka omukyala owa paalamenti akiikirira disitulikiti ya Lira mu paalamenti eyoomwenda (2011 okutuusa 2016).[4] Mu kiseera kino, yali yeesimbyewo ku bwannamunigina era n'awangula.[5][6]
Mu kalulu ka 2016, yeesimbirawo ku kkaadi y'ekibiin aekiri ku ludda oluvuganya ekya Uganda People's Congress (UPC), era n'adamu okulondebwa ku kifo kino kye yalimu. Y'omu ku babaka ba paalameni abaawakanya okukola ennongoosereza mu ssemateeka okuggya ekkomo ku myaka omuntu kwalina okwesimbirawo ku bwapulezidenti.[7] Kakuyege we ng'anoonya akalulu yasumbuyibwa nnyo poliisi ya Uganda, ekyaviiramu okulumya abantu wamu n'abamu okutwalibwa ku malwaliro.[8] Wabula, mu mwaka gwa 2021, mu kulonda kwa bonna, yawangulwa minisita Dr. Jane Ruth Aceng.
Amaka
kyusaMukyala Joy Atim Ongom mufumbo eri mwami Ongom Innocent.[9]
Eby'okufaako ebirala
kyusaMu paalamenti ey'ekkumi, Joy Atim yali mmemba era ng'atuula ku bukiiko bubiri okwali: (a) akakiiko ka paalamenti akasunsula abantu ababeera balondeddwa pulezidenti (b) akakiiko akakola embalirira y'eggwanga.[10]
Laba ne
kyusa- Angelline Osegge
- Winnie Kiiza
- Cecilia Ogwal
- Olukalala lw'ababaka ba paalamenti ya Uganda eyekkumi.
- Olukalala lw'ababaka ba paalamenti ya Uganda eyoomwenda
- Lira District
Ebiliziddwa
kyusa- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2019-11-06. Retrieved 2022-12-12.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2019-11-06. Retrieved 2022-12-12.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2019-11-06. Retrieved 2022-12-12.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2019-11-06. Retrieved 2022-12-12.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ http://www.adwarping.co.ug/lira-woman-member-of-parliament-in-car-accident/
- ↑ http://www.monitor.co.ug/News/National/Lira-Woman-MP-in-road-accident/688334-2997498-78p960/index.html
- ↑ http://allafrica.com/stories/201710230106.html
- ↑ http://www.monitor.co.ug/News/National/Age-limit-MP-Cecelia-Ogwal-hospitalized-police-fired-bullets/688334-4154118-qinu5t/index.html
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2019-11-06. Retrieved 2022-12-12.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2019-11-06. Retrieved 2022-12-12.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link)