Lydia Oile, omuyimbi
Lydia Oile, Munnayuganda omusuubuzi era omukungu nga yeeyatandika eddwaliro lya Le Mémorial Medical Services Hospital, erisangibwa e Kigo mu Disitulikiti y'eWakiso mu Masekkati ga Uganda.[1]
Obuto bwe n'okusoma kwe
kyusaYazaaalibwa mu myaka Gyenkaaga nga kitaawe ye Reverend Yosiya Kabugombe owookukyalo Nyabiteete,ekisanginwa mu Disitulikiti y'eRukungiri, mu Kitundu Ky'obugwanjuba bwa Uganda era nga ye mwana ow'omwenda ku baana kkumi.[1]
Yasomera ku masomero omwali Nyabiteete Primary School ne Bweranyangi Girls' Senior Secondary School bwe yali ku ddaala lya pulayimale ne siniya. Oluvannyuma yagenda ku Ttendekero lya Mulago Paramedical School, nga ly'abasawo era nga eno yatikkirwa nga omuyambi w'abakola eddagala erisannyalaza mu myaka Gy'ekinaana nga gitandika.[1]
Omulimu gwe
kyusaYakola nga Omumyuka Waakulira okukola eddagala erisannyalaza okumala emyaka mitono oluvannyuma lw'okutikkirwa ku Ttendekero lya Mulago Paramedical School. Mu 1991 yafuuka akulira kkampuni ya Lawsam Chemicals (Uganda) Limited, nga eno ekola ssabbuuni waabuwunga nga okusinga baali babaze akatale okuva mu ma woteeri, naabakola mu eby'okunywa. Omwami we yali munnaKenya era y'eyatandika kkampuni eno naye naagiwa mukazi we, bweyamala naddayo e Kenya nga yali alina ekifo mu by'obufuzi kyeyalina okuddukanya. Mu Gw'okusatu gwa 2019, Mukyala Oile yeeyaali akulira kkampuni ng'omu era nga woofiisi zabwe zaalli zisangibwa mu Industrial Area mu Kampala, ekibuga ekisinga obugazi mu Uganda.[1][2]
Mu Gw'oluberyeberye gwa 2015, yaggulawo eddwaliro lya Le Memorial Hospital, nga lino lya bwanannyini era nga likola ssente private. Mu Gw'omukaaga gwa 2017, eddwaliro lyakula era ne ligaziwa.[1][2]
Era akola nga addukanya kkampuni ya Tausi Décor Limited, nga eno ekola ku kutereeza bya munda mu mayumba, nga muno yoomu ku bannanyini.[3]
Obufumnbo bwe
kyusaYali mukazi wa Mw.Oile, nga ono nzaalwa y'eKenya okumala emyaka kkumi. Bano baazaala abaana basatu naye omwami naafa mu mwaka gwa 1999.[3]
Ebirala ebimwogerwako
kyusaLydia Oile yeeyawangula engule mu kugaba engule okwa MTN zzewa Abakazi abeenyigira mu by'ensimbi nga yafuna yaamu bakazi abasinga obukozi, nga yafuna Yaakuba Mulungi nnyo mu kuddukanya ebyensimbi. Eno yagifunira ku mukolo ogwaliwo nga 17 Ogw'okusatu,2017.[1][3]
Laba na bino
kyusaEbijuliziddwa
kyusa- ↑ 1.0 1.1 1.2 1.3 1.4 1.5 https://www.monitor.co.ug/Magazines/Full-Woman/Oile-quest-heal-sick/689842-4037646-vq5mr3/index.html
- ↑ 2.0 2.1 https://www.linkedin.com/in/lydia-oile-a4a63795
- ↑ 3.0 3.1 3.2 "Archive copy" (PDF). Archived from the original (PDF) on 2019-04-04. Retrieved 2024-04-03.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link)