Adolf Mwesige

Adolf Kasaija Mwesige (yazaalibwa 4 Ogwokuna 1966) munnamateeka, munnabyabufuzi, era yomu ku bakozi ba paalamenti ya Uganda. Mwesige aweerezaako mu bifo ebyenjawulo mu gavumenti ya Uganda era nga yaliko Minisita avunaanyizibwa ku byokwerinda nensonga z'abaazirwanako mu kabineti ya Uganda okuva nga 6 Ogwomukaaga 2016 okutuuka nga 8 Ogwomukaaga 2021. [1] Adolf Mwesige era yaliko Minisita wa Gavumenti ez’ebitundu okuva nga 18 Ogwokubiri 2009 okutuuka nga 6 Ogwomukaaga 2016 sso nga ne mu paalamenti ya Uganda yatuulangayo okuva mu 1996 nga omubaka wa Palamenti owa Bunyangabu County mu budde obwo eyali mu disitulikiti ya Kabarole. [2] Mu July 2017, Bunyangabu County yakutulwa ku Disitulikiti y’e Kabarole okukola Disitulikiti y’e Bunyangabu . [3]

Ensibuko n’obuyigirize

kyusa

Adolof Mwesige yasomera ku ssomero lya Nyakasura e Fort Portal gyeyava okugenda e Makerere ku Yunivasite okusoma amateeka era natikkirwa diguli eya Bachelor of Laws . Ono era ne dipulooma mu by'amateeka okuva mu ttendekero lya bannamateeka erya Law Development Centre mu Kampala . Alina dipulooma mu mateeka agali ku mutendera gwensi yonna okuva mu kitongole ki Public Administration Promotion Center e Berlin mu Germany ne dipulooma mu mateeka agakwata ku ddembe ly’obuntu okuva mu kitongole ky’amawanga amagatte ekivunaanyizibwa ku ddembe ly’obuntu e Geneva mu Switzerland .

Obumanyirivu

kyusa

Mwesige yafuuka puliida mu Uganda mu mwaka 1994 era nga ali kuddaala erimukkiriza okuwoza kkooti enkulu mu Uganda. Mwesige wakati w'omwaka 1992 ne 1996, yali mukozi mu minisitule y’ensonga z’ebweru ng’omukungu avunaanyizibwa ku nsonga z’amateeka ne n'ebitebe byamawanga amalala. Wakati wa 1996 ne 2001, yali akola mu kkampuni ya eyabannamateeka eya Mwesige, Egunyu & Company Advocates .[4]

Mwesige yasooka okuyingira Palamenti ya Uganda mu mwaka 1996, nga akiikiriira Bunyangabu County mu Disitulikiti y’e Kabarole. Adolf Mwesige yaliko Minisita w’emirimu egy’enjawulo mu ofiisi ya ssabaminisita. Okuva mu Gwokubiri gwa 2009 Mwesige yalondebwa okuba minisita avunaanyizibwa ku gavumenti ez’ebitundu. [5] Yakola ng’omumyuka wa ssentebe w’olukiiko oluvunaanyizibwa ku nsonga za gavumenti ez'ebitundu mu mawanga agali mu luse olumu ne Bugengereza oluyitibwa Commonwealth Local Government Forum obuvunaanyizibwa buno yabukola okutuusa lweyalondebwa ku bwa Minisita w’ebyokwerinda nga 6 Ogwomukaaga 2016 nga wano yasikira Crispus Kiyonga.[6] Ekifo kino Mwesige yakimalamu ekisanja kimu era bwatyo nasikizibwa Vincent Ssempijja nga 8 Ogwomukaaga 2021. [7]

Mwesige yalondebwa omukulembeze wa Uganda Yoweri Museveni okukola nga Kalaani wa Palamenti ya Uganda mu lungereza ayitibwa Clerk to Parliament era nga wano yasikira Jane Kibirige era natandika okukola emirimu gye mu butongole nga 18 Ogwomunaana 2021. Pulezidenti yazza bugya endagaano ye nga kalaani wa palamenti mu mwaka 2024[8][9][10][11][12][13]

Amaka

kyusa

Adolf Mwesige musajja mufumbo era alina abaana.

Laba ne

kyusa
  1. https://web.archive.org/web/20161007121926/http://www.monitor.co.ug/blob/view/-/3235304/data/1345443/-/3o16hn/-/Museveni%27s+cabinet.pdf
  2. http://www.parliament.go.ug/mp_database/profile.php?mid=324
  3. https://web.archive.org/web/20170812213653/http://www.monitor.co.ug/News/National/Kabarole-budgets-Shs12b-for-new-Bunyangabu-District/688334-3834108-10hon2mz/index.html
  4. https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1099893/attorney
  5. https://web.archive.org/web/20141211124001/http://www.newvision.co.ug/D/8/12/755941
  6. https://web.archive.org/web/20161007121926/http://www.monitor.co.ug/blob/view/-/3235304/data/1345443/-/3o16hn/-/Museveni%27s+cabinet.pdf
  7. https://www.newvision.co.ug/articledetails/105545
  8. https://spyreports.co.ug/museveni-reappoints-adolf-mwesige-clerk-to-parliament-despite-court-ruling-on-serviceawardscandal
  9. http://www.homelandmedia.co.ug/news/adolf-mwesige-assumes-office-as-clerk-to-parliament/
  10. https://trumpetnews.co.ug/2021/08/18/adolf-mwesige-takes-over-office-as-clerk-to-parliament/
  11. https://www.parliament.go.ug/news/5484/clerk-parliament-tips-new-staff-discipline-innovativeness
  12. https://asgp.co/members/adolf-mwesige-kasaija-english/
  13. https://www.pmldaily.com/news/2021/07/ex-minister-mwesige-who-recently-cried-out-for-a-job-named-clerk-to-parliament.html