Asan Kasingye
Asan Kasingye yaliko omuserikale wa Uganda Police Force ku ddaala lya Assistant Inspector General of Police (lino ly'eddaala ery'okusatu mu bukulu mu poliisi ya Uganda). Kasingye Weyabeera mu Poliisi yaweereza mu bifo ebyenjawulo nga eky'obwa Political Commissar oba muyite atwala ensonga z'ebyobufuzi mu poliisi, yaliko omwogezi wa poliisi yeggwanga oluvanyuma lw'okutemulwa kwa Felix Kaweesi, era nga yaliko omukulu wa Poliisi y'ensi yonna mu Uganda eyitibwa Interpol, ono era yaliko ssentebe wa kiraabu y'omupiira eyekitongole kya poliisi eyitibwa Police Fc. Ono oluvannyuma yannyuka emirimu gya Poliisi mu mwaka 2022 era nga mu kiseera kino ye mwogezi wa kiraabu SC Villa era nga mu ngeri yemu era yakulira emirimu mu kampuni enkuumi eya Tayari Security Company[1] [2] [3] [4] [5] [6] [7] [8]
Obuto bwe n’emisomo
kyusaAsan Kasingye yazaalibwa omukyala n'omwami Robinah ne John Kairukabi nga March 23, 1964 kyalo Kibingo mu disitulikiti y’e Sheema mu bugwanjuba bwa Uganda. Ono yasomera ku Kibingo Primary School, St. Kaggwa Bushenyi High School oluvannyuma neyegatta ku yunivasite y’e Makerere gye yasomera ebyenfuna neby'obufuzi. Kasingye yeegatta ku Poliisi ya Uganda mu 1980 okutuusa lwe yannyuka obuweereza buno mu mwaka 2022.[9][10] [11] [12]
Emirimu
kyusaKasingye yaweereza okumala emyaka 33 mu poliisi ya Uganda. Ono yaliko buvunaanyizibwa obw'enjawulo nga okukulira poliisi y'ensi yonna mu Uganda eyitibwa Interpol ,kuno kwossa okubeera omwogezi wa poliisi wamu nokukolanga omulungamya w’ebyobufuzi mu Poliisi. [13] [14] [15] [16] [17] [18] [19] Mu January wa 2020, Kasingye n’abakungu abalala 11 abaali ku madaala agawaggulu mu poliisi baanenyezebwa nnyo banna Uganda bwekyazuuka nti bali mu bifo bino mu ngeri eyali tegoberera mateeka olwobutaba na ndagaano ntongole. Kyokka oluvannyuma Pulezidenti Museveni yazza buggya endagaano ye. [20] [21] [22] [23] Kasingye yaliko Ssentebe wa Uganda Police FC. [24] [25] [26] [27] Mu biseera bya ssenyiga omukambwe owa COVID-19, Kasingye yali omu bakungu ba gavumenti abaakeberebwa era nekikasibwa nti baali balwadde . Kasingye bwatyo yakozesa omutimbagano ku mukutu gwa Twitter (kati eyitibwa X) nategeeza ensi nti yali mulwadde . [28] [29] [30] Kasingye y'omu ku banna Uganda abaagala ennyo okukozesa omukutu gwa Twitter oba X era akola nga Pulezidenti wa Bannayuganda ku mukutu guno era nga Waliwo kko n'okubaganya ebiroowo ku mukutu gwe ogwa Twitter onga abantu beebuuza oba gugwe nga omuntu oba gwali gwa ofiisi zeyakoleranga. [31] [32] [33] [34] [35] [36]
Soma ne bino
kyusaEbijuliziddwa
kyusa- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2022-05-04. Retrieved 2024-09-05.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://thetowerpost.com/2020/03/31/museveni-renews-contracts-of-aigps/
- ↑ https://www.monitor.co.ughttps//www.monitor.co.ug/uganda/news/national/hotels-lodges-asked-to-reveal-clients-names-to-police-daily-1855974
- ↑ https://www.pmldaily.com/news/2020/08/just-in-aigp-kasingye-tests-positive-for-covid-19.html
- ↑ https://www.independent.co.ug/positive-kasingye-shares-his-covid-19-results/
- ↑ https://observer.ug/news/headlines/55404-police-stuck-with-body-of-murdered-woman
- ↑ https://www.newvision.co.ug/category/sports/sc-villa-seeks-fan-unity-amid-caf-ticket-pric-NV_193870
- ↑ https://www.newvision.co.ug/category/sports/sc-villa-fans-meet-clubs-executive-ahead-of-n-NV_142861
- ↑ https://www.youtube.com/watch?v=vyCHUm3Z5ug
- ↑ https://www.independent.co.ug/retired-list-of-38-senior-police-officers-sent-off-officially/
- ↑ https://observer.ug/lifestyle/64270-asan-kasingye-has-thrived-in-an-arranged-marriage
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/asan-kasingye-on-his-love-for-twitter-1838444
- ↑ https://www.newvision.co.ug/news/1499681/interpol-boss-kasingye-flees-social-media-cyberbullying
- ↑ https://www.newvision.co.ug/news/1504567/kasingye-narrates-helped-woman-birth-kampala-street
- ↑ https://nilepost.co.ug/2020/10/20/police-apologise-to-buganda-catholic-church-for-firing-teargas-during-clan-meeting/
- ↑ https://observer.ug/news/headlines/67023-police-apologize-to-buganda-catholic-church-over-mbogo-clan-fracas
- ↑ https://www.independent.co.ug/police-apologize-to-buganda-catholic-church-over-mityana-mbogo-clan-teargas/
- ↑ https://catholicherald.co.uk/ugandan-police-apologise-for-firing-tear-gas-at-massgoers/
- ↑ https://www.aciafrica.org/news/2193/police-boss-in-uganda-sends-delegation-to-apologize-to-bishop-following-teargas-episode
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/12-police-chiefs-in-office-illegally--1869378
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/are-top-officers-driven-to-exit-police-early--1908718
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/museveni-renews-contracts-for-five-police-chiefs-1883162
- ↑ https://thetowerpost.com/2020/03/31/museveni-renews-contracts-of-aigps/
- ↑ https://www.independent.co.ug/tumwesigye-zaga-will-shine-at-police-fc-kasingye/
- ↑ https://www.independent.co.ug/star-times-uganda-premier-league-returns-to-action/
- ↑ https://chimpreports.com/we-must-remain-focused-kasingye-to-police-fc-players/
- ↑ https://www.goal.com/en-ug/news/mawejje-is-my-son-we-have-come-a-long-way-police-fc-chairman/1ic72efcd5lfa1966f6zy2kmqt
- ↑ https://www.independent.co.ug/positive-kasingye-shares-his-covid-19-results/
- ↑ https://www.newvision.co.ug/news/1525498/stop-stigmatizing-victims-covid-19-kasingye
- ↑ https://www.newvision.co.ug/news/1526568/senior-police-officer-recovers-covid-19-treatment
- ↑ https://mbu.ug/2019/07/28/aigp-asan-kasingye-voted-new-president-of-ugandans-on-twitter/
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/asan-kasingye-on-his-love-for-twitter-1838444
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/museveni-wins-twitter-case-1891216
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/harvard-student-petitions-east-african-court-over-museveni-twitter-case--1901348
- ↑ https://mbu.ug/2020/06/07/kasingye-faces-severe-backlash-for-validating-nbs-tvs-use-of-all-lives-matter-theme/
- ↑ https://mbu.ug/2020/02/21/aigp-kasingye-asks-ykee-to-record-a-song-about-gender-based-violence/