Police FC (Uganda) .
Police FC kiraabu ezannya omupiira ogw'ebigere mu ggwanga Uganda[1]
Kiraabu eno yatandikibwawo mu mwaka gwa 1965 n'ekigendererwa eky'okubeera kiraabu y'omupiira essa ekitiibwa mu nnono z'ekitundu awamu n'okukulakulanya ebitone mu ngeri y'okwongera ku nkolagana wakata wa poliisi n'omuntu wabulijjo okusobola okulwanyisa obumenyi bwamateeka mu bitundu ebyenjawulo. Obwannanyini bwa Kiraabu eno buli mu mikono gyekitongole ki Uganda Police era kyekyajitandikawo.[2]
Ebyafaayo
kyusaPolice Fc yawagula ekikopo kya liigi ya Uganda ekyasooka mu 2005.[3] Mu mwaka 2006 Police Fc yasitukira mu kikopo kya kiraabu empanguzi mu kitundu kya CECAFA ekya CECAFA Club Cup obudde buno ekiyitibwa Kagame Interclub Cup[4]. Obuwanguzi Poliisi Fc mu myaka egyasooka bwesigamizibwa nnyo ku mwami Denis Obua ng’omuzannyi ate oluvannyuma ng’omutendesi. Mu myaka gya Obua, yasobola okukozesa abalenzi abato okubajjamu omupiira omukwafu ogwayamba kiraabu eno okufuuka eyamaanyi. Obua bwe yafuuka pulezidenti w’ekibiina ekitaba ebibiina by'omupiira mu ggwanga ki FUFA obuvunaanyizibwa bwa Police Fc yabukwasa Steven Mulinde. Police Fc bwetyo yeyongera okukulakulana n'okwetaba mu mpaka eziri ku mitendera gyamawanga agenjawulo. [5]
Ekisaawe
kyusaMu kiseera kino Police FC eri mu kuzimba ekisaawe ekyayo ku luguudo Kiira Road mu Kampala era esuubira okutandika okukikozesa mu sizoni ya 2024/2025. Ekisaawe kino era kyakubaako nekifo awaddukirwa emisinde [6]
Obuwanguzi obutuukiddwaako
kyusa- Liigi ya Uganda eya Premier : 1 (2005).
- Ekikopo kya kiraabu za CECAFA : 1 (2006)
- Fufa Big League : 1 (2024)
- CAF Champions League : Omulundi gumu
- 2006 – Laawundi/ omwetoloolo ogwokusunsulamu
- CAF Winners' Cup : Omulundi gumu
- 2003. Omutendera ogusooka
Olukalala lwabazannyi ba Police Fc
kyusaLuno lwe lukalala lwabazannyi ba Police Fc abazannya mu sizoni ya 2023/2024[7] Ku bbo, bano bebazanya ne Kiraabu ya Kataka nga 02-06-2024
|
Abo abatali bazannyi
kyusaEnsengeka ya ttiimu ez’abakugu
kyusa- Omutendesi : Simon Peter Mugerwa
- Omuyambi w'omutendesi asooka: Robert Sekweyama
- Omuyambi w'omutendesi ow'okubiri: Nestroy Kizito
- Omutendesi wa bakwasi ba ggoolo: Ben Kalama
- Avunaanyizibwa ku dduyiro: Fazil Ibrahim
- Omusawo: Kennedy Kukundakwe
- Omusawo w’amagumba: Senyondo Muhamood[8]
Enzirukanya y’emirimu
kyusa- Ssentebe: Kaminsona wa Poliisi (SCP) Timothy Halango
- Omumyuka wa ssentebe: Livingstone Lajan
- Akulira emirimu (CEO): PK Arinaitwe
- Abakiise ku lukiiko olufuzi: Omuyambi wa Kaminsona wa Poliisi (ACP) Abu Kalule, ACP Hilary Kulayigye, ACP Claire Nabakka, Sandra Nsaire
- Akulira eby'amawulire: Abdusalam Kigozi
- Akulira enkolagana n’abantu (PRO): Omuyambi wa Kaminsona wa Poliisi (ACP) Claire Nabakka
Laba ne
kyusa- Express FC
- Ekitongole kya Kampala Capital City Authority FC
- SC Villa ya Uganda
- Ekitongole ekisolooza omusolo mu Uganda SC
- Vipers SC
- BUL Jinja FC
- Busoga United FC
- Ekisaawe kya Muteesa II Wankulukuku
- Liigi ya Uganda eya Premier
- ↑ https://www.upf.go.ug/police-fc-adds-14-new-faces-to-2022-23-fufa-big-league-roster/
- ↑ https://www.upf.go.ug/police-fc-adds-14-new-faces-to-2022-23-fufa-big-league-roster/
- ↑ https://www.observer.ug/sports/72654-police-fc-won-2005-league-title-who-were-the-stars
- ↑ https://www.newvision.co.ug/news/1147799/police-grab-cecafa-title
- ↑ https://kawowo.com/2020/05/03/were-police-fc-the-best-in-the-2005-uganda-super-league/
- ↑ https://www.pulsesports.ug/football/story/police-fc-set-timeline-on-completion-of-kiira-rd-stadium-2023090113113496262
- ↑ https://www.aiscore.com/team-uganda-police-fc/69759iydjnsnk23/squad
- ↑ https://kawowo.com/2023/09/20/police-fc-name-new-coaching-unit/#:~:text=FUFA%20Big%20League%20entity%2C%20Police,as%20the%20new%20head%20coach.