Buddu limu ku masaza ekkuminomunaana(18) agakola Obwakabaka bwa Buganda obusangibwa mu masekkati g'eggwanga Uganda. Omwami afuga essaza lino kulwa Kabaka wa Buganda aweebwa ekitiibwa ekya 'Pookino'. Embuga enkulu ey'esaza Buddu esangibwa mu kibuga Masaka mu kifo ewayitibwa ku saza era wewali n'enyumba Buddukiro nga eno y'enyumba entongole ey'omwami w'esaza Buddu.[1]

Endagiriro

kyusa

Essaza Buddu lisangibwa kumpi n'ennyanja Nnalubaale mu masekkati ga Uganda. Lino lisalagana ensalo namasaza ga Buganda amalala okuli Ssese, Kooki, Kabula, Mawogola, Gomba, Mawokota, ne Butambala. Mu ngabanya yebifo by'obukulembeze egobererwa gavumenti ya Uganda eyawakati, Buddu erimu disitulikiti n'ekibuga kimu era byebino, mwaka gwa 2010, Bukomansimbi, Kalungu, Lwengo , Kyotera Masaka disitulikiti, kwossa n'ekibuga Masaka.

Engeri gyeryegatta ku Buganda

kyusa

Buddu yadde nga ebadde kitundu kya Buganda okuviira ddala mu kyasa eky'ekkuminoomunaana, ssi limu ku masaza asatu (3) okwazimbirwa Obwakabaka bwa Buganda.[2] Essaza lino lyagattibwa ku Buganda oluvanyuma lwamaje ga Buganda okulwanagana nago ag'Obukama bwa Bunyoro era Buganda nemegga Bunyoro eyali nannyini kitundu kino. Bino byaliwo mu biseera Kabaka Jjunju weyafugira Buganda (1780 - 1797).[3] Bannabyafaayo abawerako bagamba nti Buddu ly'essaza eryasembayo okuwambibwa Buganda ngeyita mu lutaabalo nga abazungu abafuzi bamatwale tebannajja kutwala buyinza kufuga Buganda n'ebitundu ebiriraanyewo oluvannyuma byebagatta okukola ensi Uganda mu mwaka 1894 ate oluvannyuma neweebwa obwetwaaze mu mwaka 1962.[4][5][6] Omwaka gwa 1892 wegwatuukira Buddu ly'essaza mu bwakabaka bwa Buganda eryali likira ku masaza amalala mu byenkulaakulana.

Ebyenkizo ku ssaza Buddu

kyusa
 
Enseenene kimu ku bintu ebyettunzi ebiva e Buddu

Buddu ssaza lya Buganda erimanyiddwa ennyo olw'ebyobulimi naddala obwekirime ky'emwanyi kwossa namatooke. Buddu naddala ekitundu Masaka kimanyiddwa nnyo olw'okugwamu enseenene eziribwa banna Uganda mu mwezi gwokutaano n'ogwekuminogumu.Tiimu y'omupiira eyesaza Buddu nayo emanyiddwa nnyo mu mpaka z'omupiira ogwamasaza ga Buganda era yakawangula empaka zino emirundi 3.[7] Buddu era erimu ebifo ebyebyafaayo kwossa n'ebyobulambuzi ebiwera nga mu bino mulimu;

 
Emwanyi kimu kubirime ebirimibwa e Buddu

Abantu abamanyifu abava e Buddu

kyusa

Enzikiriza y'Obukatuliki

kyusa

Amangu ddala ng'olutalo luwedde mu 1892, omuminsani omu ku ludda lw'abakatuliki amanyiddwa nga Henri Streicher yatandikawo ekitebe ky'e Villa Maria mu Buddu okusobola okubunyisa enzikiriza y'ekikatuliki.[4] Ku nkomerero y'Ogwokutaano 1892 Antonin Guillermain n'abaminsani abalala babiri baatandikawo ekitebe ekirala ekimanyiddwa nga Notre-Dame de l'Equateur mu Buddu, ekitunuuliraganye n'ekizinga Ssese mu bukiikakkono bw'ennyanja Nalubaale.[8] Mu mwezi Gwokubiri 1897, Streicher yafuulibwa vviika w'omu bukiikakkono bw'e Nyanza (Vicar Apostolic of Northern Victoria Nyanza).[9] Ekitebe kye ekikulu yakissa e Villa Maria.[4] Abakungu bonna abaali bakyuse ne badda mu bukatuliki badda mu Buddu, olwo Streicher n'aba nga ye mukulembeze eyali abatwala. Ekyambalo kya Streicher kyaliko amabala agafaanana n'ago agabeera ku kyambalo ky'abaana b'eŋŋoma. Abakungu baaweerezanga abaana baabwe ne baweereza ng'abambowa mu kkooti ye.[4]

Mu mwaka gwa 1902, ekibiina ky'abasiisita kyatandika omulimu gwakyo mu Buddu. Omwaka gwa 1907 gugenda okutuuka ng'abawala 140 bamaze okukyusibwa era ng'abamu baagala na kufuuka banaani. Ekigo kyazimbibwa mu mwaka gwa 1908 ate mu 1910 ne tufuna abakazi abasatu abaasooka okufuuka abanaani. Omwaka gwa 1926 gugenda okutuuka ng'ekigo ekyo (ekyalina ekitebe ekikulu mu Buddu) kikuleberwa munnayuganda, Mama Cecilia Nalube (Mother Ursula.) era nga ye munnayuganda eyasookera ddala okufuna ekifo ekyo [10] Buddu yafuuka entabiro y'obukatuliki mu Africa. Ssaabasumba omuddugavu eyasookera ddala era eyatikkirwa mu mwaka gwa 1939, yali w'e Buddu.[11]

Ebijuliziddwa

kyusa