Kampala–Jinja Highway
Oluguudo lwa Kampala–Jinja Highway oluguudo mu Uganda, olugatta ebibuga Kampala ne Jinja . Oluusi eyitibwa Kampala–Jinja Road, oluguudo luno lujjudde abantu, nga luliko ebibuga ebiwerako, ebifo eby’obusuubuzi n’ebifo ebirala eby’enjawulo mu kkubo. We bwazibidde mu Ogwekkumi 2016, oluguudo olupya, olugazi, olulina emirongooti ena, oluguudo lwa Kampala–Jinja Expressway, luteeseddwa okuzimbibwa mu bukiikaddyo bw’oluguudo oluliwo kati okuwummuza entambula n’okujjuliza entambula eziriwo wakati wa Kampala ne Jinja. [1]
Ekifo welusangibwa
kyusaOluguudo luno luva e Kampala, ekibuga ekikulu ekya Uganda era ekibuga ekisinga obunene, okutuuka e Jinja, ekifo ekyokubiri mu bunene mu ggwanga mu byobusuubuzi, nga luli kiro mmita 80 (50 mi) . [2] Endagiriro y'oluguudo luno olukulu okumpi n'ekibuga Lugazi eri :0°22'27.0"N, 32°54'56.0"E (obukiika:0.374175; obusimba:32.915550). [3]
Okulambika
kyusaOluguudo luno lwa kkoolaasi olukozesebwa mu mbeera z’obudde zonna nga luli mu mbeera nnungi. Oluguudo luno lukola ekitundu ku Northern Corridor, enkola y'enguudo ezigatta ebibuga by'obuvanjuba bwa Afrika okuli Bujumbura, mu Burundi, Kigali, mu Rwanda ne Kampala, mu Uganda okutuuka e Nairobi, mu Kenya n'okukkakkana nga zituuse ku mwalo gw'e Mombasa e Kenya . Oluguudo luno lukulu nnyo mu by’obusuubuzi n’ensi ey’ebweru eri amawanga asatu agatalina myalo ku semazinga. Era luguudo lukulu nnyo oluyunga ku semayanja, mu bitundu bingi eby’obuvanjuba bwa Democratic Republic of the Congo . [4]
Ebintu ebikwata ku nsonga eno
kyusaEbifo bino wammanga eby’enjawulo biri ku mabbali oba okumpi n’oluguudo lwa Kampala–Jinja Highway: (1) Uganda Management Institute ; mu masekkati ga Kampala. [5] (2)Makerere_University_Business_School esangibwa Nakawa, Kampala. [6] (3) Kyambogo University e Kyambogo, mu Kampala. [7] (4) Olusozi lwa Banda ; luno lusozi luliko ne Kyambogo University. Erinnya lino era litegeeza ebitundu by’abatuuze n’eby’obusuubuzi ebiri ku lusozi olwo n’okwetooloola. [8] (5) Kireka nga ; ye kabuga akasangibwa mu Munisipaali y'e Kira . (6) Bweyogerere ; ye kabuga akalala mu Munisipaali y’e Kira. (7) Ekisaawe ky'eggwanga ekya Mandela National Stadium ; kye kisaawe ky’emizannyo ekisinga obunene mu Uganda, nga kituuza abantu 45,202. [9]
(8) Namilyango College; ; ye ssomero lya siniya ery’ekisulo eririmu abalenzi bokka nga lisangibwa kilomita 4 (2 mi), mu bukiikaddyo bw’oluguudo olukulu, e Seeta mu Mukono Town . [10] (9) Ekibuga Mukono ; nga wono wewali oluguudo lwa Mukono–Kayunga–Njeru n’oluguudo lwa Mukono–Kyetume–Katosi–Nyenga wezaawukanira ku luguudo lwa Kampala–Jinja Highway. Zombi ziddamu okugiyunga ku Njeru, kilomita 55 (34 mi) ebuvanjuba bwa Mukono. [11] (10) Ebiyiririro bya Sezibwa ; ezisangibwa mu kiro mmita 1.5 (0.93 mi), mu bukiikaddyo bw’oluguudo olukulu e Kayanja, mu Disitulikiti y’e Mukono . (11) Mount St Mary's College Namagunga essomero lya siniya ey’ekisulo eri abawala bokka e Namagunga mu Disitulikiti y’e Buikwe . (12). Ekibuga Lugazi ; esangibwa mu Disitulikiti y'e Buikwe, kye kitebe kya Sugar Corporation of Uganda Limited . [12]
(13) University of Military Science and Technology Lugazi, kitongole kya Uganda People's Defence Force . [13] (14) Ekibira kya Mabira ; kibira kya butonde eky’enkuba mu bitundu eby’obutiti mu masekkati ga Uganda. Oluguudo luno luyita mu kibira kino okumala kiro mmita 30 (19 mi) wakati wa Lugazi ne Njeru. (15) Ekibuga Njeru ; kye kibuga ekisinga obunene mu Disitulikiti y'e Buikwe . (16) Essundiro ly'amasannyalaze e Nalubaale ; Essundiro ly’amasannyalaze erya gavumenti erisinga obukadde mu Uganda lyatandikibwawo mu 1954. Oluguudo olukulu luyita ku ddaamu eno. [14] (17) Essundiro ly'amasannyalaze erya Kiira ; eryatandikibwawo mu 2003. Oluguudo luno luyita mu kiro mmita2(1.2 mi) ya ddaamu n’essundiro ly’amasannyalaze g’amazzi. (18) Nile Breweries Limited ; ye kkampuni ya Anheuser-Busch InBev . Oluguudo luno luyita okumpi n’ekkolero lino e Njeru. (19) Ensibuko y’omugga Kiyira eri ku kiro mmita 3.6 (2.2 mi) mu bukiikaddyo bw’oluguudo olukulu e Njeru. [15]
Laba nabino
kyusa- Oluguudo lwa Kampala Northern Bypass Highway
- Olukalala lw'enguudo mu Uganda
- Olukalala lw'ebibuga n'obubuga mu Uganda
Ebijuliziddwa
kyusa- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2022-04-07. Retrieved 2024-09-13.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ http://distancecalculator.globefeed.com/Uganda_Distance_Result.asp?fromplace=Kampala%20Capital%20City%20Authority%20Head%20Quarters%2C%20Sir%20Apollo%20Kaggwa%20Road%2C%20Kampala%2C%20Uganda&toplace=JINJA%20TOWN%20HALL%2C%20Gokhale%20Road%2C%20Jinja%2C%20Uganda%2C&dt1=ChIJI7vobX-8fRcRcmKd7KT9fqo&dt2=ChIJYa_kCHh7fhcRZV0i9xy0jTQ
- ↑ https://www.google.com/maps/place/0%C2%B022'27.0%22N+32%C2%B054'56.0%22E/@0.3741804,32.9133667,17z/data=!3m1!4b1!4m5!3m4!1s0x0:0x0!8m2!3d0.374175!4d32.91555
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2016-10-22. Retrieved 2024-09-13.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://www.google.com/maps/place/Uganda+Management+Institute(UMI)/@0.32082,32.5952432,629m/data=!3m1!1e3!4m5!3m4!1s0x177dbb8e62db2ebf:0xebfb5726c2be23c6!8m2!3d0.3209968!4d32.5977149
- ↑ https://www.google.com/maps/place/Makerere+University+Business+School/@0.3282954,32.6147465,16.75z/data=!4m5!3m4!1s0x177dbbe6fabc442f:0x897fb573bcbbeba6!8m2!3d0.328149!4d32.6171582
- ↑ https://www.google.com/maps/place/Kyambogo+University/@0.3503564,32.6299223,14.42z/data=!4m5!3m4!1s0x177db987217a1c5b:0x5d51c8f289ef68da!8m2!3d0.3493944!4d32.6305715
- ↑ https://www.google.com/maps/place/Banda,+Kampala,+Uganda/@0.3452746,32.6302861,15.25z/data=!4m5!3m4!1s0x177db985b5f6b027:0x241b1da96f270722!8m2!3d0.357311!4d32.6362231
- ↑ http://stadiumdb.com/stadiums/uga/nelson_mandela_national_stadium
- ↑ http://distancecalculator.globefeed.com/Uganda_Distance_Result.asp?fromplace=Seeta%2C%20Central%20Region%2C%20Uganda&toplace=Namilyango%20College%20School%2C%20Namilyango%2C%20Central%20Region%2C%20Uganda%2C&dt1=ChIJp1GB0Ai4fRcRBvHTioEdYLY&dt2=ChIJKbP8M524fRcRWbRm35y7ouo
- ↑ http://distancecalculator.globefeed.com/Uganda_Distance_Result.asp?fromplace=Mukono%2C%20Central%20Region%2C%20Uganda&toplace=Njeru%20Mosque%2C%20Buikwe%2C%20Central%20Region%2C%20Uganda%2C&dt1=ChIJpbAJFLfHfRcRcMWeVCv42t0&dt2=ChIJsSYz2Qd8fhcRk5T1rqL5rAQ
- ↑ https://www.google.com/maps/place/Sugar+Corporation+of+Ugada+Limited+Lugazi+Office/@0.3840112,32.9288772,3548m/data=!3m1!1e3!4m5!3m4!1s0x177dd080ec2c58c1:0x27ad2048d620867e!8m2!3d0.3804417!4d32.9454982
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2017-03-05. Retrieved 2024-09-13.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1299372/owen-falls-dam-powering-uganda-decades
- ↑ http://distancecalculator.globefeed.com/Uganda_Distance_Result.asp?fromplace=Njeru%20Mosque%2C%20Buikwe%2C%20Central%20Region%2C%20Uganda&toplace=Source%20of%20the%20Nile%2C%20Jinja%20Municipality%2C%20Eastern%20Region%2C%20Uganda%2C&dt1=ChIJsSYz2Qd8fhcRk5T1rqL5rAQ&dt2=ChIJt6h09bl7fhcRjpWu1r45H9E